Add parallel Print Page Options

13 (A)“Lino ly’etteeka erinaakwatanga ku Munnazaalayiti ebbanga lye ery’obweyamo obw’okweyawula bwe linaggwangako. Anaaleetebwanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 14 (B)Anaawangayo ebirabo bye eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, bye bino: omwana gw’endiga omulume ogw’omwaka ogumu ogw’obukulu ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; n’omwana gw’endiga omuluusi ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi; n’endiga ennume etaliiko kamogo nga ye y’ekiweebwayo olw’emirembe; 15 (C)n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; ne kkeeke ezikoleddwa mu buwunga obulungi obutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agafumba; n’obusukuuti obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo eby’ebyokunywa.

16 “Kabona anaabireetanga awali Mukama Katonda, n’awaayo ekiweebwayo kye olw’ekibi n’ekiweebwayo kye ekyokebwa. 17 Anaawangayo endiga ennume nga ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda awamu n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; era kabona anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa.

18 (D)“Omunnazaalayiti anaamweranga omutwe gwe ogw’obuwonge bwe ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; anaddiranga enviiri ezivudde ku mutwe ogw’obuwonge bwe n’azissa ku muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe.

19 “Omunnazaalayiti bw’anaamalanga okumwa omutwe gwe ogw’obuwonge bwe, kabona anaddiranga omukono gw’endiga omufumbe, n’aggya ne kkeeke etali nzimbulukuse emu mu kibbo, n’akasukuuti ak’oluwewere akatali kazimbulukuse kamu, n’abimukwasa mu ngalo ze. 20 (E)Kabona anaabiwuubanga nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama Katonda. Binaabanga bitukuvu era nga bya kabona awamu n’ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekinaaweebwangayo. Ebyo bwe binaggwanga, Omunnazaalayiti anaayinzanga okunywa envinnyo.

Read full chapter

18 (A)Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo.

Read full chapter