Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
31 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
leka nneme kuswazibwa.
Ndokola mu butuukirivu bwo.
2 (A)Ontegere okutu kwo
oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
3 (B)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
4 (C)Omponye mu mutego gwe banteze;
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
5 (D)Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.
6 (E)Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;
nze nneesiga Mukama.
7 (F)Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,
kubanga olabye okubonaabona kwange
era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
8 (G)Tompaddeeyo mu balabe bange,
naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.
9 (H)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
amaaso gange gakooye olw’ennaku;
omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (I)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
n’amagumba ganafuye.
11 (J)Abalabe bange bonna bansekerera,
banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (K)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (L)Buli ludda mpulirayo obwama
nga bangeya;
bye banteesaako
nga basala olukwe okunzita.
14 (M)Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
15 (N)Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
ondokole mu mikono gy’abalabe bange
n’abangigganya.
16 (O)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
17 (P)Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,
kubanga nkukoowoola;
leka abo ababi baswale,
era bagalamire emagombe nga basirise.
18 (Q)Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba
kasirisibwe,
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,
nga babyogeza amalala n’okunyooma.
19 (R)Obulungi bwo,
bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,
n’obuwa mu lwatu
abo abaddukira gy’oli.
20 (S)Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,
n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,
n’ennyombo z’abantu
ne zitabatuukako.
Zabbuli ya Dawudi.
35 (A)Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya,
lwanyisa abo abannwanyisa.
2 (B)Golokoka okwate engabo,
n’akagabo onziruukirire.
3 Galula effumu,
abangigganya obazibire ekkubo;
otegeeze omwoyo gwange nti,
“Nze bulokozi bwo.”
4 (C)Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe
era baswazibwe;
abo abateesa okunsanyaawo
bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
5 (D)Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,
malayika wa Mukama ng’abagoba.
6 Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.
7 Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,
ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
8 (E)bazikirizibwe nga tebategedde,
n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
9 (F)Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,
ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
10 (G)Amagumba gange galyogera nti,
“Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama?
Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi,
n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”
11 (H)Abajulizi abakambwe bagolokoka
ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 (I)Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 (J)So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14 ne mbeera mu nnaku
ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
ng’akaabira nnyina.
15 (K)Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
ne bannumba nga simanyi,
ne bampayiriza obutata.
16 (L)Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
ne bannumira obujiji.
17 (M)Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 (N)Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 (O)Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
tobakkiriza kunziimuula.
20 Teboogera bya mirembe,
wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 (P)Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
“Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”
22 (Q)Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 (R)Golokoka ojje onnyambe;
nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
tobaganya kunneeyagalirako.
25 (S)Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”
26 (T)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
baswazibwe era banyoomebwe.
27 (U)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”
28 (V)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.
Amateeka Ekkumi
5 Awo Musa n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’abagamba nti, Wulira, Ayi Isirayiri, amateeka n’ebiragiro bye nkutegeeza ng’owulira ku lunaku lwa leero.
Mubiyige era mubigobererenga n’obwegendereza. 2 (A)Mukama Katonda waffe yakola naffe endagaano nga tuli e Kolebu. 3 (B)Endagaano eyo Mukama Katonda teyagikola ne bazadde baffe, naye yagikola naffe abali wano era abalamu ku lunaku lwa leero. 4 (C)Mukama Katonda yayogera nammwe nga mwolekaganye naye, ye ng’asinziira mu muliro ku lusozi olunene. 5 (D)Mu kaseera ako nze nnali nnyimiridde wakati wa Mukama nammwe okubatuusaako ekigambo kya Mukama Katonda, kubanga mmwe mwali mutidde omuliro, noolwekyo ne mutalinnya ku lusozi olunene.
N’abagamba nti:
6 “Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.
7 “Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.
8 Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. 9 (E)Ebyo tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. 10 (F)Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.
11 (G)Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa: kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
12 (H)Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira. 13 Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 14 (I)naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, oba ente yo eya sseddume, oba endogoyi yo, oba ku nte zo endala zonna, oba omugenyi ali omumwo, abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, nabo balyoke bawummuleko nga ggwe. 15 (J)Ojjukiranga nga wali muweereza mu nsi ey’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akuggyayo n’omukono gwe omuwanvu era ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okuumenga olunaku olwa Ssabbiiti.
16 (K)Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale, era obeerenga n’emirembe, mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
17 (L)Tottanga.
18 (M)Toyendanga.
19 Tobbanga.
20 Towaayirizanga muntu munno.
21 (N)Teweegombanga mukyala wa muntu munno. So teweegombanga nnyumba ya muntu munno, newaakubadde ennimiro ye, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
Katonda ne Musa ku Lusozi Sinaayi
22 (O)Ago ge mateeka Mukama ge yalangirira eri ekibiina kyammwe kyonna, nga muli wansi w’olusozi Sinaayi, ng’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka eryava mu muliro, n’ekire, n’ekizikiza ekikutte ennyo; teyayongerako birala. Bw’atyo n’agawandiika ku bipande bibiri eby’amayinja, n’abinkwasa.
Eby’obugagga eby’omuwendo mu bibya eby’ebbumba
4 (A)Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olw’okusaasirwa, tuleme kuddirira. 2 (B)Twaleka ebikisibwa eby’ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza y’omuntu mu maaso ga Katonda. 3 (C)Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. 4 (D)Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. 5 (E)Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. 6 (F)Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.
7 (G)Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe. 8 Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. 9 (H)Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, 10 nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. 11 Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe. 12 Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.
10 (A)Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; n’oyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa. 11 (B)Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obw’amazima? 12 Obanga toli mwesigwa ku by’omulala, kale ani alikwesiga n’akukwasa ebibyo?
13 (C)“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala, oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”
Amateeka ga Musa n’Obwakabaka bwa Katonda
14 (D)Awo Abafalisaayo, abaali abaluvu b’ensimbi, bwe baawulira ebigambo ebyo ne banyooma Yesu. 15 (E)N’abagamba nti, “Mmwe mweraga mu bantu, naye Katonda amanyi emitima gyammwe. Okwerimbalimba kwammwe kubaweesa ekitiibwa mu maaso g’abantu, naye nga kya muzizo eri Katonda.
16 (F)“Yokaana Omubatiza bwe yali nga tannabuulira, amateeka n’obubaka bwa bannabbi byabuulirwa. Naye okuva olwo obwakabaka bwa Katonda bubuulirwa, ne buli muntu ayitibwa abuyingiremu mu bwangu ddala. 17 (G)Naye kyangu eggulu n’ensi okuggwaawo okusinga n’akatundu k’ennukuta emu ey’amateeka okuggwaawo.
18 (H)“Omusajja yenna agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze; n’oyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.