Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 72

Zabbuli ya Sulemaani.

72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
    ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
(A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
    n’abaavu abalamulenga mu mazima.

Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
    n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
(B)Anaalwaniriranga abaavu,
    n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
    n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
    okwaka mu mirembe gyonna.
(C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
    afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
(D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
    n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

(E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
    n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
    n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
    bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
    bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
    amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
    n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
    n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
    kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

15 (H)Awangaale!
    Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
    era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
    ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
    n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
    n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.

Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
    era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
    oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
    Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!

20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

Zabbuli 119:73-96

י Yoodi

73 (A)Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
    mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 (B)Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,
    kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 (C)Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
    era wali mutuufu okumbonereza.
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
    nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 (D)Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
    kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 (E)Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
    Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79 Abo abakutya bajje gye ndi,
    abategeera amateeka go.
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
    nneme kuswazibwa!

כ Kaafu

81 (F)Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
82 (G)Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;
    ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
83 Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka[a],
    naye seerabira bye walagira.
84 (H)Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi
    nga tonnabonereza abo abanjigganya?
85 (I)Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;
    be bo abatagondera mateeka go.
86 (J)Amateeka go gonna geesigibwa;
    abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
87 (K)Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;
    naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
88 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,
    ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.

ל Lamedi

89 (L)Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,
    kya mirembe gyonna.
90 (M)Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
    watonda ensi era enyweredde ddala.
91 (N)Amateeka go na buli kati manywevu;
    kubanga ebintu byonna bikuweereza.
92 Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,
    nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
93 Siyinza kwerabira biragiro byo;
    kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
94 Ndi wuwo, ndokola,
    kubanga neekuumye bye walagira.
95 Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;
    naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
96 Ebintu byonna biriko we bikoma
    naye amateeka go tegakugirwa.

Error: Book name not found: Wis for the version: Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abaruumi 13

13 (A)Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era n’abafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda. Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango. (B)Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wa buyinza, kola bulungi osiimibwe, (C)kubanga muweereza wa Katonda ku lw’obulungi bwo. Naye bw’onookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala ky’alina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi. Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye n’olw’okumanya nga kye kituufu.

Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe. (D)Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.

(E)Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka. (F)Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” 10 (G)Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.

11 (H)Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza. 12 (I)Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa eby’ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby’omusana. 13 (J)Tutambulenga ng’ab’omu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi n’obukaba, ne mu kuyombagana n’obuggya, 14 (K)naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.

Lukka 8:16-25

16 (A)“Tewali muntu akoleeza ttaala ate nagisaanikirako akalobo oba n’agissa wansi w’ekitanda. Agiwanika waggulu ku kikondo, olwo lw’esobola okumulisiza abantu abayingira. 17 (B)Kubanga tewali kintu na kimu ekyakwekebwa ekitalikwekulwa, era tewali na kimu ekitalimanyibwa mu lwatu. 18 (C)Noolwekyo mwegendereze nga muwuliriza, kubanga oyo alina alyongerwako; naye oyo atalina, n’ekyo ky’alowooza nti alina kigenda kumuggyibwako.”

Nnyina ne Baganda ba Yesu

19 Awo nnyina ne baganda ba Yesu ne bajja okumulaba, naye ne batasobola kumutuukako olw’ekibiina ky’abantu ekinene. 20 (D)Ne wabaawo amubuulira nti, “Nnyoko ne baganda bo obwedda bayimiridde wabweru, baagala kukulabako.”

21 (E)Yesu n’addamu nti, “Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”

Yesu Akkakkanya Omuyaga

22 Lwali lumu Yesu n’alinnya mu lyato n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Tuwunguke tulage emitala w’ennyanja.” Ne basimbula okugenda. 23 Bwe baali baseeyeeya Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’eryato ne liyuuga nnyo, ne baba mu kabi kanene.

24 (F)Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, “Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!” N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’amazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja n’etteeka! 25 N’alyoka abagamba nti, “Okukkiriza kwammwe kuluwa?”

Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, “Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga n’amazzi ne bimugondera!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.