Book of Common Prayer
Endagaano ya Katonda ne Dawudi.
89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
2 (B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
3 Nakola endagaano n’omulonde wange;
nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
4 (C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
5 (D)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
6 (E)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
7 (F)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
8 (G)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
9 (H)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (I)Lakabu wamubetentera ddala;
abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (J)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (K)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.
14 (L)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (M)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (N)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (O)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (P)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.
19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo
omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;
ngulumizizza omuvubuka
okuva mu bantu abaabulijjo.
20 (Q)Nalaba Dawudi, omuweereza wange;
ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
21 (R)Nnaamukulemberanga,
n’omukono gwange gunaamunywezanga.
22 (S)Tewaliba mulabe we alimuwangula,
so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
23 (T)Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,
n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
24 (U)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
25 (V)Alifuga okuva ku migga
okutuuka ku nnyanja ennene.[a]
26 (W)Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,
ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
27 (X)Ndimufuula omwana wange omubereberye,
era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
28 (Y)Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;
n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
29 (Z)Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,
n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.
30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,
ne batagoberera biragiro byange;
31 bwe banaamenyanga ebiragiro byange,
ne batagondera mateeka gange,
32 (AA)ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,
ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
33 (AB)Naye ssirirekayo kumwagala,
wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
34 (AC)Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,
wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
35 Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;
n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
37 Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,
ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.
38 (AD)Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde,
omukyaye era omunyiigidde.
39 (AE)Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo,
n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
40 (AF)Wamenyaamenya bbugwe we yenna,
n’oggyawo n’ebigo bye.
41 (AG)Abatambuze baanyaga ebintu bye;
n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
42 (AH)Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo,
n’osanyusa abalabe be bonna.
43 (AI)Wakyusa ekitala kye
n’otomuyamba mu lutalo.
44 Ekitiibwa kye wakikomya;
entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.
45 (AJ)Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako,
n’omuswaza.
46 (AK)Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna?
Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
47 (AL)Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi.
Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
48 (AM)Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa
n’awangula amaanyi g’emagombe?
49 Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo,
kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
50 (AN)Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa,
engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
51 (AO)abalabe bo banvuma, Ayi Mukama;
ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.
52 (AP)Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!
Amiina era Amiina!
Ekifaananyi Ekiraga Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi
4 “Kaakano omwana w’omuntu, ddira ekipande eky’ebbumba okiteeke mu maaso go, okikubeko ekifaananyi ky’ekibuga Yerusaalemi, 2 (A)okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola n’ebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna.
3 (B)“Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.
4 “N’oluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono n’oddira ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku z’olimala ng’ogalamidde ku lubiriizi lwo. 5 Ennaku z’olimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri.
6 (C)“Ekyo bw’olikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi ky’ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka. 7 Olikyusa amaaso go n’otunula eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, okyogerereko ebigambo n’omukono gwo ogutali mubikkeko, 8 (D)Ndikusiba emiguwa n’otosobola kwekyusa okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala, okutuusa ennaku ez’obusibe bwo lwe ziriggwaako.
9 (E)“Ddira eŋŋaano ne sayiri, n’obulo, n’omukyere, n’ebijanjalo, n’enva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda z’oliba ogalamidde ku luuyi olw’omubiri gwo. 10 Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ez’emmere gy’olirya buli lunaku, era gy’oliriira mu biseera ebigere. 11 Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere. 12 (F)Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe n’obusa bw’omuntu, ng’abantu balaba.” 13 (G)Mukama n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.”
14 (H)Ne njogera nti, “Nedda Ayi Mukama Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange n’okutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.”
15 N’ayogera nti, “Weewaawo, nnaakukkiriza okukozesa obusa bw’ente okufumba omugaati mu kifo ky’obusa bw’abantu.”
16 (I)N’oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya, 17 (J)kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.”
6 (A)Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda. 2 (B)Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obw’okubatizibwa, n’obw’okussibwako emikono, n’enjigiriza ey’okuzuukira kw’abafu, n’okusalirwa omusango ogw’olubeerera. 3 (C)Katonda nga bw’asiima, tukule mu mwoyo.
4 (D)Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi eby’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, 5 ne bamanya obulungi bw’ekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja, 6 (E)naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.
7 Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa. 8 (F)Naye bwe libaza amatovu, n’amaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi n’okukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa.
9 (G)Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo ery’obulokozi. 10 (H)Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza. 11 (I)Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira. 12 (J)Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng’abo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa.
51 (A)Awo ekiseera eky’okulinnya kwe mu ggulu bwe kyali kisembedde, n’amalirira okugenda e Yerusaalemi. 52 (B)N’atuma ababaka mu maaso ne balaga mu kibuga ky’Abasamaliya okumutegekera. 53 Naye abantu b’eyo ne batamwaniriza, kubanga yali amaliridde okulaga mu Yerusaalemi. 54 (C)Abayigirizwa Yakobo ne Yokaana bwe baakiraba ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tuyite omuliro okuva mu ggulu gubazikirize?” 55 Naye Yesu n’akyuka n’abanenya. 56 Ne bagenda mu kabuga akalala.
57 (D)Awo bwe baali bali mu kkubo omu ku bo n’amugamba nti, “Nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga.”
58 (E)Yesu n’amugamba nti, “Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, n’ennyonyi zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu, talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”
59 (F)N’agamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.”
Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.”
60 (G)Yesu n’amugamba nti, “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.”
61 (H)N’omulala n’agamba Yesu nti, “Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula ab’omu maka gange.”
62 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.