Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 25

Zabbuli ya Dawudi.

25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
    gye ndeeta okusaba kwange.

(B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
(C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
    naye ab’enkwe baliswazibwa.

(D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
    ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
    kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
    era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
(E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
    kubanga byava dda.
(F)Tojjukira bibi byange
    n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
    ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

(G)Mukama mulungi, era wa mazima,
    noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
(H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
    n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
    eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
    onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.

12 (K)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
    Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (L)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
    era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (M)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
    anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (N)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
    kubanga yekka y’anzigya mu kabi.

16 (O)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
    kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (P)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
    mponya okweraliikirira kwange.
18 (Q)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
    onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (R)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
    n’okunkyawa kwe bankyawamu!

20 (S)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
    tondekanga mu buswavu,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 (T)Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
    essubi lyange liri mu ggwe.

22 (U)Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,
    omuwonye emitawaana gye gyonna.

Zabbuli 9

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
    nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
(B)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
    Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Abalabe bange bazzeeyo emabega,
    beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
(C)Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
    era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
(D)Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
    erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
(E)Abalabe obamaliddewo ddala,
    n’ebibuga byabwe obizikirizza,
    era tewali aliddayo kubijjukira.

(F)Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
    era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
(G)Aliramula ensi mu butuukirivu,
    era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
(H)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
    era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (I)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
    kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

11 (J)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
    mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (K)Ajjukira n’awoolera eggwanga
    era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.

13 (L)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
    onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (M)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
    mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
    era njagulizenga mu bulokozi bwo.

15 (N)Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
    era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
    Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 (O)Ababi balisuulibwa emagombe;
    ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 (P)Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
    era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.

19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
    leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 (Q)Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
    amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

Zabbuli 15

Zabbuli ya Dawudi.

15 (A)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
    Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

(B)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
    akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
    (C)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
    so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
(D)Anyooma ababi,
    naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
    ne bwe kiba nga kimulumya.
(E)Bw’awola tasaba magoba;
    so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
    aliba munywevu emirembe gyonna.

Ekyamateeka Olwokubiri 4:9-14

(A)“Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe. 10 (B)Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe. 11 (C)Mwasembera ne muyimirira wansi w’olusozi, ne mulaba nga lwaka omuliro ogwatuukira ddala waggulu ku ggulu, nga gwetooloddwa ebire n’ekizikiza ekikutte.’ 12 (D)Bw’atyo Mukama Katonda n’ayogera nammwe ng’asinziira wakati mu muliro. Mwawulira envuga y’ebigambo bye, naye ekikula kye temwakiraba; mwakoma ku ddoboozi lyokka. 13 (E)Yabategeeza endagaano ye eyali mu Mateeka Ekkumi, ge yawandiika ku bipande by’amayinja ebibiri, n’abalagira okugagobereranga. 14 Era mu kaseera ako Mukama Katonda n’andagira mbayigirize amateeka n’ebiragiro bye musaana okugonderanga, nga muli mu nsi gye mugenda okwefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, nga mumaze okusomoka Yoludaani.

2 Abakkolinso 1:1-11

Okulamusa n’Okwebaza

(A)Pawulo omutume wa Kristo Yesu, olw’okusiima kwa Katonda, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso awamu n’abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna, (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

(C)Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, (D)atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. (E)Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi. (F)Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. (G)Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.

(H)Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu. (I)Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, 10 (J)eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga. 11 (K)Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.

Lukka 14:25-35

25 Awo ebibiina by’abantu bangi nnyo bwe baali bagoberera Yesu, n’akyuka n’abagamba nti, 26 (A)“Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange. 27 (B)Era oyo ateetikka musaalaba gwe n’angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.

28 “Singa omu ku mmwe ayagala okuzimba omulungooti, tamala kutuula n’abalirira omuwendo omulimu ogwo gwe gunaatwala, n’alaba obanga ensimbi ezeetaagibwa azirina okugumaliriza? 29 Kubanga singa tagumaliriza n’akoma ku musingi gwokka, buli agulaba atandika okumusekerera, 30 nga bw’agamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye n’alemwa okumaliriza!’

31 “Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula n’abalirira obanga n’abaserikale omutwalo ogumu b’alina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba n’abaserikale emitwalo ebiri? 32 Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe. 33 (C)Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.

34 (D)“Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo? 35 (E)Guba tegukyalina mugaso n’akamu mu ttaka wadde ne mu bigimusa, noolwekyo gusuulibwa bweru. Alina amatu agawulira awulire.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.