Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 41

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

41 (A)Alina omukisa asaasira omunaku;
    Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
(B)Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,
    era anaamuwanga omukisa mu nsi;
    n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;
    n’amuwonya mu bulumi.

(C)Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
(D)Abalabe bange boogeza obukyayi nti,
    “Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
(E)Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;
    naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.
    Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.

(F)Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;
    nga banjogerako ebitali birungi.
Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,
    emukubye wansi tayinza kuwona.”
(G)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
    bwe twalyanga,
    anneefuukidde.

10 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,
    onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11 (I)Mmanyi ng’onsanyukira,
    kubanga omulabe wange tampangudde.
12 (J)Onnywezezza mu bwesimbu bwange,
    ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.

13 (K)Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,
    oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
Amiina era Amiina.

Zabbuli 52

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”

52 (A)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
    Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
(B)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
    Olulimi lwo lwogi nga kkirita
    era buli kiseera lwogera bya bulimba.
(C)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
    n’okulimba okusinga okwogera amazima.
(D)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
    Ggwe olulimi kalimbira!

(E)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
    alikusikula, akuggye mu maka go;
    alikugoba mu nsi y’abalamu.
(F)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
    Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
(G)“Mumulabe omusajja
    ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
    ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

(H)Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
    ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
    emirembe n’emirembe.
(I)Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
    Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
    era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

Zabbuli 44

Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

44 (A)Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
    bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
    mu nnaku ez’edda ezaayita.
(B)Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
    n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
    n’okulaakulanya bajjajjaffe.
(C)Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
    n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
    awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.

(D)Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
    awa Yakobo obuwanguzi.
(E)Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
    ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
(F)Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
    n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
(G)Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
    n’oswaza abo abatuyigganya.
(H)Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
    Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.

(I)Naye kaakano otusudde ne tuswala;
    era tokyatabaala na magye gaffe.
10 (J)Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
    abatuyigganya ne batunyaga.
11 (K)Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
    n’otusaasaanya mu mawanga.
12 (L)Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
    n’otobaako ky’oganyulwa.

13 (M)Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
    ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 (N)Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
    era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba,
    amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 (O)olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
    olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.

17 (P)Ebyo byonna bitutuseeko,
    newaakubadde nga tetukwerabidde,
    wadde obutagondera ndagaano yo.
18 (Q)Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
    so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 (R)Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
    n’otuleka mu kizikiza ekikutte.

20 (S)Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
    ne tusinza katonda omulala,
21 (T)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
    Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 (U)Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
    era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.

23 (V)Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
    Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
24 (W)Lwaki otwekwese?
    Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?

25 (X)Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
    tuli ku ttaka.
26 (Y)Golokoka otuyambe;
    tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.

Ekyamateeka Olwokubiri 11:13-19

13 (A)Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe yonna, 14 (B)kale, anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo: enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo, olyoke okungulenga emmere yo ey’empeke, weefunire ne wayini omusu n’amafuta. 15 (C)Era anaakuzanga omuddo mu malundiro go ente zo gwe zinaalyanga; naawe onoolyanga emmere n’okkuta.

16 (D)Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga. 17 (E)Kale obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirangako, n’aggalangawo eggulu, enkuba ne tetonnyanga, n’ettaka ne litabalangako bibala, ne muzikiriranga ne muggwaawo mangu ku nsi ennungi Mukama gy’abawa.

Abaana Abato Okuyigirizibwanga Amateeka

18 (F)Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe. 19 (G)Mubiyigirizenga abaana bammwe, ng’obinyumyako bw’onoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bw’onoobanga otambula mu nguudo; ne bw’onoogalamirangako, era ne bw’onoositukanga.

2 Abakkolinso 5:11-6:2

Omukwano ne Katonda nga guyita mu Kristo

11 (A)Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe. 12 (B)Tetugezaako kuddamu kubeenyumiririzaako, naye tubawa omukisa okwenyumiriza ku lwaffe, musobole okuba n’eky’okuddamu abo ababeewaanirako kyokka nga mu mitima gyabwe si ba mazima. 13 (C)Bwe tuwulikika ng’abagudde eddalu olw’ebyo bye tweyogerako, tukikoze ku bwammwe. 14 (D)Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ng’omu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. 15 (E)Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira, 16 (F)okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo. 17 (G)Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya. 18 (H)Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya. 19 (I)Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya. 20 (J)Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. 21 (K)Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

(L)Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere. (M)Kubanga agamba nti,

“Nakuwulira mu biro ebituufu,
    era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”

Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.

Lukka 17:1-10

Ekibi, Okukkiriza, Omulimu

17 (A)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta. (B)Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato. (C)Mwekuume.

“Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. (D)Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”

(E)Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”

(F)Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.

“Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’ (G)Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’ Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola? 10 (H)Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.