Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 146-147

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!
147 (K)Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
    kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

(L)Mukama azimba Yerusaalemi;
    era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
(M)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.
(N)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
    n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
(O)Mukama awanirira abawombeefu,
    naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

(P)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
    mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

(Q)Mukama abikka eggulu n’ebire,
    ensi agitonnyeseza enkuba,
    n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
(R)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10 (S)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
    wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
    era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
    tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
    n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (T)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
    n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.

15 (U)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
    ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (V)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
    n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
    bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (W)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
    n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (X)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
    Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (Y)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
    amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!

Zabbuli 111-113

111 Mutendereze Mukama!

Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
    mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.

(A)Mukama by’akola bikulu;
    bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
    n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
(B)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
    Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
(C)Agabira abamutya emmere;
    era ajjukira endagaano ye buli kiseera.

Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
    n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
(D)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
    n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
(E)manywevu emirembe gyonna;
    era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
(F)Yanunula abantu be;
    n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
    Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!

10 (G)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
    era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
    Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
112 (H)Mutendereze Mukama![a]

Alina omukisa omuntu atya Katonda,
    era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
    omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
    era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
(I)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
    alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
(J)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
    era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
(K)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
    era anajjukirwanga ennaku zonna.
(L)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
    kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
(M)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
    era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
(N)Agabidde abaavu bye beetaaga;
    mutuukirivu ebbanga lyonna;
    era bonna banaamussangamu ekitiibwa.

10 (O)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
    n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
    Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
113 (P)Mutendereze Mukama!

Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
    mutendereze erinnya lya Mukama.
(Q)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
(R)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
    erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

(S)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
    era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
(T)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
    atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
(U)ne yeetoowaza
    okutunuulira eggulu n’ensi?

(V)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
    n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
(W)n’abatuuza wamu n’abalangira,
    awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
(X)Omukazi omugumba amuwa abaana,
    n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!

Mikka 6:1-8

(A)Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti,

“Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi,
    n’obusozi buwulire bye mugamba.

(B)“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana;
    nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire.
Mukama alina ensonga ku bantu be
    era agenda kuwawabira Isirayiri.

(C)“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?
    Nnali mbazitooweredde? Munziremu.
(D)Nabaggya mu nsi ye Misiri
    ne mbanunula mu nsi ey’obuddu,
ne mbawa Musa,
    ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.
(E)Mmwe abantu bange mujjukire
    ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu
    n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.
Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali
    mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”

(F)Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama
    nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?
Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,
    n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
(G)Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
    oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
    nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
(H)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
    Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
    era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

1 Abakkolinso 4:9-16

(A)Kubanga ndowooza nga ffe abatume, Katonda yatuteeka ku nkomerero ng’abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuulibwa ekyerolerwa eri ensi, eri bamalayika n’eri abantu. 10 (B)Tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezi mu Kristo; Ffe tuli banafu naye mmwe muli ba maanyi! Mmwe muli ba kitiibwa naye ffe tunyoomebwa. 11 (C)Era ne mu kiseera kino tulumwa enjala n’ennyonta nga tetulina na kyakwambala, tukubibwa era tubungeeta bubungeesi. 12 (D)Tutegana nga tukola emirimu n’emikono gyaffe; tusabira emikisa abo abatukolimira; bwe tuyigganyizibwa tugumiikiriza; 13 (E)abo abatuvuma tubaddamu ne gonjebwa. Era n’okutuusa kaakano tuli ng’ebisooto mu bigere era tuli ng’ebisaaniiko.

14 (F)Siwandiika bintu bino lwa kubaswaza naye lwa kubabuulirira ng’abaana bange abaagalwa. 15 (G)Kubanga newaakubadde mulina abalala nkumi na nkumi ababayigiriza ebya Kristo, naye mujjukirenga nga mulina bakitammwe batono. Kubanga nze mbazaala mu Kristo olw’enjiri. 16 (H)Noolwekyo mbongeramu amaanyi mulabire ku nze.

Matayo 15:21-28

Okukkiriza kw’Omukanani

21 (A)Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni. 22 (B)Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”

23 Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”

24 (C)Naye Yesu n’addamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.”

25 (D)Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”

26 Yesu n’amuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”

27 Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”

28 (E)Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.