Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 120-127

Oluyimba nga balinnya amadaala.

120 (A)Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
    era n’annyanukula.
(B)Omponye, Ayi Mukama,
    emimwa egy’obulimba,
    n’olulimi olw’obukuusa.

Onooweebwa ki,
    era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
(C)Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
    n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.

(D)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
    nsula mu weema za Kedali!
Ndudde nnyo
    mu bantu abakyawa eddembe.
Nze njagala mirembe,
    naye bwe njogera bo baagala ntalo.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
    okubeerwa kwange kuva wa?
(E)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
    oyo akukuuma taabongootenga.
Laba, oyo akuuma Isirayiri
    taabongootenga so teyeebakenga.

(F)Mukama ye mukuumi wo;
    Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
(G)emisana enjuba teekwokyenga,
    wadde omwezi ekiro.

(H)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
    anaalabiriranga obulamu bwo.
(I)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
    “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
Ebigere byaffe biyimiridde
    mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.

Yerusaalemi yazimbibwa okuba
    ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
Eyo ebika byonna gye biraga,
    ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
    ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
    z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.

(J)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
    “Abo abakwagala bafune ebirungi.
Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
    n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
Olwa baganda bange ne mikwano gyange
    nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
(K)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

123 (L)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
    Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
(M)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
    n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
    okutuusa lw’alitusaasira.

Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
    kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
    n’okunyoomebwa ab’amalala.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

124 (N)Isirayiri agamba nti,
    singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
    abalabe baffe bwe baatulumba,
banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
    obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
    ne mukoka n’atukulukutirako;
amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
    ganditukuluggusizza.

Mukama atenderezebwe
    atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
(O)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
    ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
    naffe tuwonye!
(P)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

125 (Q)Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
    olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
(R)Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
    ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
    okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.

(S)Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
    mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
    okukola ebibi.

(T)Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
    bakolere ebirungi.
(U)Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
    Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.

Emirembe gibe ku Isirayiri.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

126 (V)Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
    twafaanana ng’abaloota.
(W)Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,
    ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.
Amawanga ne gagamba nti,
    Mukama abakoledde ebikulu.”
(X)Mukama atukoledde ebikulu,
    kyetuvudde tusanyuka.

(Y)Otuzze obuggya, Ayi Mukama,
    tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
(Z)Abo abasiga nga bakaaba amaziga,
    baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
Oyo agenda ng’akaaba
    ng’atwala ensigo okusiga;
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu
    ng’aleeta ebinywa bye.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.

127 (AA)Mukama bw’atazimba nnyumba,
    abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
    abakuumi bateganira bwereere.
(AB)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
    ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
    kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

(AC)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
    era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
    n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
(AD)Alina omukisa omuntu oyo
    ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
    balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Mikka 1:1-9

(A)Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.

(B)Muwulire mmwe abantu mwenna,
    muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu,
Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu,
    ng’alina by’abalumiriza.
(C)Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye
    ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
(D)N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye
    era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka
ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro,
    ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
(E)Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo,
    olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.
Ekibi kya Yakobo kye kiruwa?
    Si ye Samaliya?
Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda?
    Si Yerusaalemi?

(F)“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu,
    kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu.
Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu
    N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
(G)Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa;
    ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro;
    ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera.
Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi,
    bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”

Okukaaba n’Okukungubaga

(H)Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe,
    ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya.
Ndikaaba ng’ekibe,
    ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
(I)Ekiwundu kye tekiwonyezeka,
    ne Yuda ky’alwadde.
Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange,
    ne ku Yerusaalemi yennyini.

Ebikolwa by’Abatume 23:12-24

Olukwe Okutta Pawulo

12 (A)Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo! 13 Omuwendo gw’abantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana. 14 (B)Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo. 15 (C)Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”

16 (D)Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo.

17 Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.” 18 (E)Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.”

19 Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?”

20 (F)Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako. 21 (G)Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”

22 Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”

Pawulo Atwalibwa e Kayisaliya

23 (H)Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu. 24 (I)Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”

Lukka 7:1-17

Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi

(A)Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna n’ayingira mu Kaperunawumu. Mu kiseera ekyo, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ng’ali kumpi n’okufa. Omukulu w’ekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, n’atuma abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we. Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bw’akusabye, kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!” Bw’atyo Yesu n’agenda nabo.

Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu w’ekitongole n’atuma mikwano gye eri Yesu ng’agamba nti, “Mukama wange, teweeteganya bw’otyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange. (B)Era kyenavudde nnema okujja gy’oli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi ekigambo, omuweereza wange anaawona! Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo n’abali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”

Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo n’amwewuunya nnyo, n’akyukira ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera n’agamba nti, “Mbagamba nti sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri.” 10 Awo omukulu w’ekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.

Yesu Azuukiza Mutabani wa Nnamwandu

11 Awo ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda n’abayigirizwa be n’ekibiina kinene ne kimugoberera mu kibuga ekiyitibwa Nayini. 12 Bwe yali asemberera omulyango gw’ekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gw’omuvubuka eyali mutabani w’omukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina ky’abantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo. 13 (C)Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu n’amusaasira, n’amugamba nti, “Tokaaba.”

14 (D)N’asemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu n’ayogera nti, “Omuvubuka, nkulagira nti ggolokoka!” 15 Eyali afudde n’atuula era n’atandika okwogera. Yesu n’amuddiza nnyina.

16 (E)Buli omu n’ajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi ow’amaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.” 17 (F)Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna n’okwetooloola emiriraano gyayo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.