Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 118

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Abo abatya Mukama boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

(C)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
    n’annyanukula, n’agimponya.
(D)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
    Abantu bayinza kunkolako ki?
(E)Mukama ali nange, ye anyamba.
    Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

(F)Kirungi okwesiga Mukama
    okusinga okwesiga omuntu.
(G)Kirungi okuddukira eri Mukama
    okusinga okwesiga abalangira.
10 (H)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
    naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (I)Banneebungulula enjuuyi zonna;
    naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (J)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
    naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
    mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (K)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
    naye Mukama n’annyamba.
14 (L)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (M)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (N)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (O)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (P)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (Q)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (R)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (S)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
    Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 (T)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
    Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (U)Mukama ye Katonda,
    y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
    kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28 (V)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
    ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Zabbuli 145

Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.

145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
    era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
(B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
    era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.

(C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
    n’obukulu bwe tebwogerekeka.
(D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
    era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
(E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
    era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
(F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
    nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
(G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
    era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.

(H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
    alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.

(I)Mukama mulungi eri buli muntu,
    era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
    n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
    era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
    n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
    n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
    n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
    era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
    era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
    ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
    era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
    abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
    era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
    naye abakola ebibi alibazikiriza.

21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
    era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
    emirembe n’emirembe.

Koseya 13:4-14

(A)“Nze Mukama Katonda wo
    eyakuggya mu nsi ya Misiri;
so tolimanya Katonda mulala wabula nze,
    so tewali mulokozi wabula nze.
Nakulabirira mu ddungu,
    mu nsi ey’ekyeya ekingi.
(B)Bwe nabaliisa, bakkuta;
    bwe bakkuta ne beegulumiza,
    bwe batyo ne banneerabira.
Kyendiva mbalumba ng’empologoma,
    era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
(C)Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,
    ndibalumba ne mbataagulataagula.
Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,
    ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
(D)Ndibazikiriza mmwe Isirayiri,
    kubanga munnwanyisa.
10 (E)Kabaka wammwe ali wa, abalokole?
    Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,
be wayogerako nti,
    ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 (F)Nabawa kabaka nga nsunguwadde,
    ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 (G)Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa,
    era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 (H)Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,
    naye omwana olw’obutaba n’amagezi,
ekiseera bwe kituuka,
    tavaayo mu lubuto.

14 (I)“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
    era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
    Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?

“Sirimusaasira,

1 Abakkolinso 2:6-16

Amagezi ga Katonda

(A)Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; (B)tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. (C)Naye nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Eriiso bye litalabangako,
    n’okutu bye kutawulirangako,
n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako
    Katonda bye yategekera abo abamwagala.”

10 (D)Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda. 11 (E)Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda. 12 (F)Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa, 13 (G)era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okw’amagezi g’abantu, naye mu bigambo Omwoyo by’ayigiriza, ebintu eby’Omwoyo nga bikwatagana n’eby’Omwoyo. 14 (H)Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo. 15 Naye omuntu ow’Omwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali n’omu amukebera.

16 (I)“Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama,
    era ani alimulagira?

Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”

Matayo 14:1-12

Yokaana Atemwako Omutwe

14 (A)Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu (B)n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.”

(C)Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana n’amussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we, (D)kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo n’omufuula owuwo.” (E)Kerode yali ayagala kumutta naye n’atya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi.

Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode. Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba. Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.” Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere. 10 (F)Ne bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe 11 ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye n’agutwalira nnyina.

12 (G)Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.