Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 20-21

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
    Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
(B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
    akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
(C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
    era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
(D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
    era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
(E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
    ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.

Mukama akuwenga byonna by’omusaba.

(F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
    amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
    ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
(G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
(H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
    naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
(I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
    otwanukule bwe tukukoowoola.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

21 (J)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
    Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!

(K)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
    era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
(L)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
    n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
(M)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
    ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
(N)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
    Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
(O)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
    n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
    era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
    kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

(P)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
    omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
(Q)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
    olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
    era alibamalirawo ddala.
10 (R)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
    n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (S)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
    ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (T)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
    ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.

13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
    Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

Zabbuli 110

Zabbuli ya Dawudi.

110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
    okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]

(B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
    olifuga abalabe bo.
(C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
    ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
    nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
    balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

(D)Mukama yalayira,
    era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
    ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”

(E)Mukama anaakulwaniriranga;
    bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
(F)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
    n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
(G)Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
    n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

Zabbuli 116-117

116 (A)Mukama mmwagala,
    kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
(B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
    kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

(C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
    n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
    ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
(D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
    “Ayi Mukama, ndokola.”

(E)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
    Katonda waffe ajjudde okusaasira.
(F)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
    bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

(G)Wummula ggwe emmeeme yange,
    kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
(H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
    n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
    n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
(I)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
    mu nsi ey’abalamu.

10 (J)Nakkiriza kyennava njogera nti,
    “Numizibbwa nnyo.”
11 (K)Ne njogera nga nterebuse nti,
    “Abantu bonna baliraba.”

12 Mukama ndimusasula ntya
    olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (L)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (M)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna.

15 (N)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (O)Ayi Mukama,
    onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
    nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17 (P)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna,
19 (Q)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
    wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.
117 (R)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
    mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
(S)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
    n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.

Mutendereze Mukama.

1 Bassekabaka 7:51-8:21

51 (A)Omulimu gwonna Kabaka Sulemaani gwe yakola ku yeekaalu ya Mukama bwe gwaggwa, n’aleeta ebintu Dawudi kitaawe bye yayawulirako Mukama, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama.

Essanduuko ya Mukama Ereetebwa mu Yeekaalu

(B)Awo Sulemaani n’ayita abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika bonna, n’abaami b’ennyumba za Isirayiri bonna, okuggya essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu Sayuuni ekibuga kya Dawudi, okugireeta e Yerusaalemi. (C)Bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka Sulemaani ku mbaga mu mwezi ogwa Esanimu[a] gwe mwezi ogw’omusanvu.

(D)Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, bakabona ne basitula essanduuko, (E)ne bagireeta, ne baleeterako n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebintu byonna ebitukuvu ebyalimu. (F)Bakabona n’Abaleevi ne babisitula, Kabaka Sulemaani n’abo abaali awamu naye, n’eggwanga lyonna erya Isirayiri eryali liri naye mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ebiweebwayo ebya ssaddaaka eby’endiga, n’ente, ebitaamanyibwa muwendo.

(G)Bakabona ne bayingiza essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, mu kisenge eky’omunda, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi. Ebiwaawaatiro bya bakerubi byali byanjuluze ku kifo essanduuko we yateekebwa, ne bibikka ku ssanduuko ne ku misituliro gyayo. (H)Emisituliro gino gyali miwanvu nnyo nga n’okulabika girabikira mu kifo ekitukuvu mu maaso g’ekisenge ekitukuvu ennyo, naye nga tegirabika okuva ebweru; era gikyaliyo ne leero. (I)Temwali kintu mu ssanduuko okuggyako ebipande ebibiri eby’amayinja Musa bye yateekamu e Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n’abaana ba Isirayiri, nga bavudde mu nsi y’e Misiri.

10 (J)Awo bakabona bwe baava mu kifo ekitukuvu, ekire ne kibuna yeekaalu ya Mukama, 11 bakabona n’okuyinza ne batayinza kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.

12 (K)Awo Sulemaani n’agamba nti, “Mukama yayogera nti anaabeeranga mu kire ekikutte. 13 (L)Nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.”

14 (M)Ekibiina kyonna ekya Isirayiri bwe kyali kiyimiridde awo, kabaka n’abakyukira n’abasabira omukisa. 15 (N)N’ayogera nti,

Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri, atuukirizza n’omukono gwe bye yasuubiza Dawudi kitange ne bye yayogerera mu ye. 16 (O)Yayogera nti, ‘Okuva ku lunaku lwe naggyirako abantu bange Isirayiri mu Misiri, seerobozanga kibuga na kimu mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimbamu yeekaalu, naye neeroboza Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’

17 (P)“Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama, Katonda wa Isirayiri yeekaalu. 18 Naye Mukama n’agamba Dawudi kitange nti, ‘Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange eyeekaalu, walowooza bulungi. 19 (Q)Naye si ggwe olinzimbira yeekaalu, mutabani wo alikuzaalirwa, ow’omusaayi gwo yennyini, y’alizimbira erinnya lyange eyeekaalu.’

20 (R)Mukama atuukirizza kye yasuubiza, ne nsikira Dawudi kitange, n’okutuula ne ntuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 21 Ntaddewo ekifo ky’essanduuko, omuli endagaano ya Mukama gye yakola ne bajjajjaffe, ng’abaggya mu nsi y’e Misiri.”

Ebikolwa by’Abatume 28:17-31

17 (A)Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo. 18 (B)Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa. 19 (C)Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange. 20 (D)Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.”

21 (E)Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi. 22 (F)Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.”

23 (G)Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi. 24 (H)Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. 25 Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,

26 “ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti,
Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera
    n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
27 (I)Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.
    N’amatu gaabwe gazibikidde,
    n’amaaso gaabwe gazibiridde.
Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe,
    ne bawulira n’amatu gaabwe,
    ne bategeera n’emitima gyabwe,
ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’

28 (J)“Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”

29 Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.

30 Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba. 31 (K)N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.

Makko 14:43-52

43 (A)Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.

44 Yuda yali abagambye nti, “Gwe nnanywegera, ye wuuyo mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.” 45 (B)Awo baali baakatuuka Yuda n’alaga eri Yesu, bwe yamutuukako n’agamba nti, “Omuyigiriza!” N’amugwa mu kifuba. 46 Ne bavumbagira Yesu ne bamukwata, ne bamunyweza. 47 Naye omu ku baali bayimiridde awo n’asowolayo ekitala n’asalako okutu kw’omuddu wa Kabona Asinga Obukulu.

48 Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki munzijjidde ng’omumenyi w’amateeka, n’ebitala n’emiggo okunkwata? 49 (C)Mbadde nammwe ennaku nnyingi mu yeekaalu nga njigiriza, naye temwankwata. Naye kino kikoleddwa ebyawandiikibwa bituukirire.” 50 (D)Bonna ne bamwabulira ne badduka.

51 Naye waaliwo omulenzi omuvubuka eyali agoberera ng’avaako ennyuma, nga yeebikkiridde olugoye, lumu lwokka, ne baagezaako okumukwata, 52 n’abeesumattulako, ne basigaza olugoye n’adduka bwereere.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.