Book of Common Prayer
146 (A)Tendereza Mukama!
Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!
2 (B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
3 (C)Teweesiganga bafuzi,
wadde abantu obuntu omutali buyambi.
4 (D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
5 (E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
6 (F)eyakola eggulu n’ensi
n’ennyanja ne byonna ebirimu,
era omwesigwa emirembe gyonna.
7 (G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
8 (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
Mukama ayagala abatuukirivu.
9 (I)Mukama alabirira bannamawanga,
era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.
10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.
Mutendereze Mukama!
147 (K)Mutendereze Mukama!
Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
2 (L)Mukama azimba Yerusaalemi;
era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
3 Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
4 (M)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
era buli emu n’agituuma erinnya.
5 (N)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
6 (O)Mukama awanirira abawombeefu,
naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
7 (P)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
8 (Q)Mukama abikka eggulu n’ebire,
ensi agitonnyeseza enkuba,
n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
9 (R)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
10 (S)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (T)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
15 (U)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (V)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (W)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (X)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (Y)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.
Mutendereze Mukama!
111 Mutendereze Mukama!
Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
2 (A)Mukama by’akola bikulu;
bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
3 Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
4 (B)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
5 (C)Agabira abamutya emmere;
era ajjukira endagaano ye buli kiseera.
6 Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
7 (D)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
8 (E)manywevu emirembe gyonna;
era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
9 (F)Yanunula abantu be;
n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!
10 (G)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
112 (H)Mutendereze Mukama![a]
Alina omukisa omuntu atya Katonda,
era asanyukira ennyo mu mateeka ge.
2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
4 (I)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
5 (J)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
6 (K)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
era anajjukirwanga ennaku zonna.
7 (L)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
8 (M)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
9 (N)Agabidde abaavu bye beetaaga;
mutuukirivu ebbanga lyonna;
era bonna banaamussangamu ekitiibwa.
10 (O)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
113 (P)Mutendereze Mukama!
Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
mutendereze erinnya lya Mukama.
2 (Q)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (R)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
4 (S)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5 (T)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
6 (U)ne yeetoowaza
okutunuulira eggulu n’ensi?
7 (V)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
8 (W)n’abatuuza wamu n’abalangira,
awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
9 (X)Omukazi omugumba amuwa abaana,
n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.
Mutendereze Mukama!
Dawudi Abala Eggye
24 (A)Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”
2 (B)Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”
10 (A)Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”
11 (B)Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti, 12 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’ ”
13 (C)Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”
14 (D)Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”
15 (E)Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba. 16 (F)Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
17 (G)Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”
Dawudi Azimbira Mukama Ekyoto
18 Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro[a] lya Alawuna Omuyebusi.” 19 Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro. 20 Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.
21 (H)Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”
22 (I)Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku. 23 (J)Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”
24 (K)Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira[b]. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.”
Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga. 25 (L)Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo Mukama Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.
23 (A)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (B)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.
Baana ba Katonda
26 (C)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (D)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (E)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.
4 Naye ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. 2 Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka. 3 (F)Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi. 4 (G)Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we 5 (H)eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. 6 (I)Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.” 7 (J)Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bw’oli omwana oli musika ku bwa Katonda.
Yesu gwe Musana gw’Ensi
12 (A)Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
13 (B)Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye by’oyogera bya bulimba.”
14 (C)Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga. 15 (D)Mmwe musala omusango ng’abantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango. 16 (E)Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma. 17 (F)Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima. 18 (G)Kale Nze nneyogerako era n’oyo eyantuma ategeeza ebyange.”
19 (H)Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”
20 (I)Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng’ayigiriza mu Yeekaalu. Naye ne wataba amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.