Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 69

Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.

69 (A)Ondokole, Ayi Katonda,
    kubanga amazzi gandi mu bulago.
(B)Ntubira mu bitosi
    nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
    n’amataba gansaanikira.
(C)Ndajanye ne nkoowa,
    n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
    olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
(D)Abo abankyayira obwereere
    bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
    abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
    ekyo kye sibbanga.

(E)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
    n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.

Sisaana kuswaza
    abo abakwesiga,
    Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
    baleme kuswazibwa ku lwange,
    Ayi Katonda wa Isirayiri.
(F)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
    n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
(G)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
    munnaggwanga eri abaana ba mmange.
(H)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
    n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (I)Bwe nkaaba ne nsiiba,
    ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (J)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (K)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
    era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.

13 (L)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
    mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
    ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (M)Onnyinyulule mu ttosi
    nneme okutubira;
omponye abankyawa,
    onzigye mu mazzi amangi;
15 (N)amataba galeme okumbuutikira
    n’obuziba okunsanyaawo,
    n’ennyanja ereme okummira.

16 (O)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
    onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (P)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
    kubanga ndi mu kabi.
18 (Q)Onsemberere onziruukirire,
    onnunule mu balabe bange.

19 (R)Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
    era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 (S)Okusekererwa kunkutudde omutima
    era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
    n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 (T)Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
    era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.

22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
    n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 (U)Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
    n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
24 (V)Bayiweeko ekiruyi kyo,
    obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
25 (W)Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa,
    waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
26 (X)Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
    ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
27 (Y)Bavunaane omusango kina gumu,
    era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
28 (Z)Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
    baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.

29 (AA)Ndi mu bulumi era mu nnaku;
    obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
30 (AB)Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
    nnaamugulumizanga n’okwebaza.
31 (AC)Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,
    oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
32 (AD)Abaavu banaakirabanga ne basanyuka;
    mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
33 (AE)Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,
    era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.

34 (AF)Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga
    awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
35 (AG)Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,
    n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,
abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
36     (AH)Abaana b’abaweereza be balikisikira;
    n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.

Zabbuli 73

EKITABO III

Zabbuli 73–89

Zabbuli ya Asafu.

73 (A)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
    n’eri abo abalina omutima omulongoofu.

Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
    era n’ebigere byange okuseerera.
(B)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
    bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.

Kubanga tebalina kibaluma;
    emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
(C)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
    So tebalina kibabonyaabonya.
(D)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
    n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
(E)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
    balina bingi okusinga bye beetaaga.
(F)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
    Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
    n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
    ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
    Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”

12 (G)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
    bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.

13 (H)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
    n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
    era buli nkya mbonerezebwa.

15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
    nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 (I)Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
    nakisanga nga kizibu nnyo,
17 (J)okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
    ne ntegeera enkomerero y’ababi.

18 (K)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
    obasudde n’obafaafaaganya.
19 (L)Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
    Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 (M)Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
    era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
    bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.

21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
    n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (N)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
    ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.

23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
    gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (O)Mu kuteesa kwo onkulembera,
    era olintuusa mu kitiibwa.
25 (P)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
    Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (Q)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
    naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
    era ye wange ennaku zonna.

27 (R)Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira;
    kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
28 (S)Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
    Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
    ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.

2 Samwiri 5:1-12

Dawudi Afuuka Kabaka wa Isirayiri

(A)Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo. (B)Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ” (C)Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri[a].

(D)Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; n’afugira emyaka amakumi ana. (E)Mu Kebbulooni n’afugirayo Yuda emyaka musanvu n’ekitundu, ate mu Yerusaalemi n’afugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.

Dawudi Awamba Yerusaalemi

(F)Kabaka n’abasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana n’Abayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe b’amaaso n’abalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira. (G)Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.

Ku lunaku olwo Dawudi n’alagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe b’amaaso n’abalema, emmeeme ya Dawudi b’ekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe b’amaaso n’abalema tebaliyingira mu lubiri.” (H)Dawudi n’abeera mu kigo, n’akituuma Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, n’akiteekako ne bbugwe. 10 (I)Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi kubanga Mukama Katonda ow’Eggye yali wamu naye.

11 (J)Awo kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda, n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. 12 Dawudi n’ategeera nga Mukama yali amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era ng’agulumizizza obwakabaka bwe olw’abantu ba Mukama Isirayiri.

Ebikolwa by’Abatume 17:1-15

Pawulo mu Sessaloniika

17 (A)Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. (B)Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. (C)N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.” (D)Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.

(E)Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu. (F)Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe, (G)era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.” Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala. (H)Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.

Pawulo mu Beroya

10 (I)Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe. 11 (J)Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima. 12 Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, n’abakazi ab’ekitiibwa Abayonaani bangi n’abasajja, nabo ne bakkiriza.

13 Naye Abayudaaya ab’omu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina. 14 (K)Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya. 15 (L)Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ng’abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy’ali.

Makko 7:24-37

Okukkiriza kw’Omukazi Omusulofoyiniiki

24 (A)Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka. 25 (B)Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye. 26 Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, n’amwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.

27 Yesu n’agamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”

28 Naye omukazi n’amuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era n’embwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani z’abaana.”

29 Yesu n’amugamba nti, “Olw’ekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.”

30 Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.

31 (C)Yesu bwe yava mu Ttuulo n’agenda e Sidoni, eyo gye yava n’addayo ku nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayitira mu “Bibuga Ekkumi” (Dekapoli). 32 (D)Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.

33 (E)Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja. 34 (F)Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.” 35 (G)Amangwago amatu g’omusajja ne gagguka n’awulira buli kintu era n’ayogera bulungi!

36 (H)Yesu n’akuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza. 37 Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.