Add parallel Print Page Options

55 (A)Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata.

Read full chapter

(A)Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa
    naye talina kye yanyega,
yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,
    era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,
    bw’atyo bwe yasirika.
(B)Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.
    Ani amanyi ku bye zadde lye?
Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,
    ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
(C)Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi,
    n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe,
newaakubadde nga teyazza musango
    wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.

10 (D)Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,
    era n’okumuleetera okubonaabona.
Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,
    era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 (E)Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe,
    bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera.
Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu;
    era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 (F)Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,
    era aligabira bangi omunyago
kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,
    n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.
Era yeetikka ebibi by’abangi
    era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.

Read full chapter

22 Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti,

Read full chapter