Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
77 (A)Nnaakaabirira Katonda ambeere,
ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
2 (B)Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
3 (C)Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
4 Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
5 (D)Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
ne nzijukira emyaka egyayita.
6 Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:
7 (E)“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
naataddayo kutulaga kisa kye?
8 (F)Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
9 (G)Katonda yeerabidde ekisa kye?
Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”
10 (H)Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 (I)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (J)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (K)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
16 (L)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (M)Ebire byayiwa amazzi
ne bivaamu n’okubwatuka,
era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (N)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (O)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
wayita mu mazzi amangi,
naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
20 (P)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.
8 (A)Naye nze, nzija kunoonya Katonda
era mmulekere ensonga zange.
9 (B)Akola ebikulu, ebitanoonyezeka,
ebyewuunyisa ebitabalika.
10 (C)Atonnyesa enkuba ku nsi,
n’aweereza amazzi mu byalo.
11 (D)Ayimusa abo abanyigirizibwa
n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
12 (E)Aziyiza enkwe z’ababi,
emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
13 (F)Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe,
n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.
14 (G)Ekizikiza kibabuutikira emisana,
ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.
15 (H)Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi,
n’abawonya ekitala kyabwe.
16 (I)Abaavu ne balyoka baba n’essuubi,
n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa.
17 (J)“Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira;
noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.
18 (K)Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga,
y’alumya era y’awonya.
19 (L)Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga.
Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.
20 (M)Mu njala alikuwonya okufa,
era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala.
21 (N)Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe,
era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.
22 (O)Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze,
era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi.
23 (P)Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro,
era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.
24 (Q)Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe;
era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.
25 (R)Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene,
ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi.
26 (S)Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala,
ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.
27 “Ekyo twakyekenneenya, kituufu.
Kimanye nga kikwata ku ggwe.”
Okubonyaabonyezebwa olw’Okukola Ebituufu
8 (A)Eky’enkomerero, mwenna mubenga n’emmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ng’abooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze. 9 (B)Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa. 10 Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,
“Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe,
aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi,
n’emimwa gye
okwogera ebyobukuusa.
11 Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi.
Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo.
12 (C)Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira n’ekisa,
n’amatu ge gawuliriza bye basaba.
Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”
13 (D)Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi? 14 (E)Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olw’obutuukirivu, mulina omukisa. “Temutya bye batya; temutekemuka.” 15 (F)Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe, 16 (G)era muddengamu n’obuwombeefu, awamu n’eggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olw’empisa zammwe ennungi olw’okuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale. 17 (H)Okubonyaabonyezebwanga olw’okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olw’okukola ekibi. 18 (I)Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.