Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 102:12-28

12 (A)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
    erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (B)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
    kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
    ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
    n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (C)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
    ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (D)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
    era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (E)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
    talinyooma kwegayirira kwabwe.

18 (F)Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
    abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19 (G)Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
    Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20 (H)okuwulira okusinda kw’abasibe,
    n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21 (I)Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
    bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
    okusinza Mukama.

23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
    akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24 (J)Ne ndyoka mmukaabira nti,
    “Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
    ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (K)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
    n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (L)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
    Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
    Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (M)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
    n’emyaka gyo tegirikoma.
28 (N)Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
    ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”

Yobu 6:1-13

Yobu Ayanukula

Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,

(A)“Singa okweraliikirira kwange,
    n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
(B)Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
    ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
(C)Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
    n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
    entiisa ya Katonda erwana nange.
Entulege ekaaba awali omuddo,
    oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
    oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
(D)Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
    biri ng’emmere etangasa.

(E)“Singa Katonda ampa kye nsaba,
    n’ampa kye nsuubira,
(F)yandisiimye okumbetenta
    ne mmalibwawo omukono gwe.
10 (G)Kino kyandikkakkanyizza
    obulumi obutakoma
    kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11 (H)Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
    Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12 Amaanyi gange ga mayinja
    oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 (I)Mu mazima sirina maanyi
    n’obusobozi bwanzigwako.

Makko 3:7-12

Ebibiina Bigoberera Yesu

(A)Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera. (B)N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali. Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza. 10 (C)Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe. 11 (D)Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” 12 (E)Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.