Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 40:21-31

21 (A)Temunnamanya,
    temunnawulira,
temubuulirwanga
    okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22 (B)Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,
    era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.
Atimba eggulu ng’olutimbe
    era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23 (C)Afuula abafuzi obutaba kintu,
    afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 (D)Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa,
    biba byakasigibwa,
    biba byakaleeta emirandira,
nga abifuuwa nga biwotoka,
    ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25 (E)“Kale mulinfaananya ani,
    ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 (F)Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
    Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
    byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
    tewali na kimu kibulako.

27 (G)Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti,
    Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu,
era tafaayo nga tuggyibwako
    eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 (H)Tonnamanya?
    Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
    Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
    era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 (I)Awa amaanyi abazirika,
    n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 (J)Abavubuka bazirika, bakoowa,
    n’abalenzi bagwira ddala.
31 (K)Naye abo abalindirira Mukama
    baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
    balidduka mbiro ne batakoowa,
    balitambula naye ne batazirika.

Zabbuli 147:1-11

147 (A)Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
    kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

(B)Mukama azimba Yerusaalemi;
    era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
(C)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.
(D)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
    n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
(E)Mukama awanirira abawombeefu,
    naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

(F)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
    mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

(G)Mukama abikka eggulu n’ebire,
    ensi agitonnyeseza enkuba,
    n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
(H)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10 (I)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
    wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
    era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

Zabbuli 147:20

20 (A)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
    amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!

1 Abakkolinso 9:16-23

16 (A)Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira. 17 (B)Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo. 18 (C)Kale empeera yange y’eruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olw’omulimu ogwo nga bwe nsaanidde.

19 (D)Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 20 (E)Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. 21 (F)Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. 22 (G)Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa. 23 Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.

Makko 1:29-39

Yesu Awonya Nnyina wa Muka Simooni

29 (A)Amangwago ne bava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda mu nnyumba ya Simooni ne Andereya nga bali ne Yakobo ne Yokaana. 30 Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu. 31 (B)Bwe yamusemberera, n’amukwata ku mukono n’amuyimusa, omusujja ne gumuwonako, n’abaweereza!

Yesu Awonya Abalwadde Abangi

32 (C)Awo obudde bwe bwali buwungeera, ng’enjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, n’abaaliko dayimooni. 33 Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi. 34 (D)Era Yesu n’awonya abalwadde bangi abaalina endwadde ez’enjawulo era n’abaaliko baddayimooni bangi n’ababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.

Yesu Asaba yekka mu Kifo eteri Bantu

35 (E)Enkeera ng’obudde tebunnalaba yesu n’azuukuka n’agenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba. 36 Awo Simooni ne be yali nabo ne bamunoonya, 37 bwe baamulaba ne bamugamba nti, “Buli muntu akunoonya.” 38 (F)Naye Yesu n’abagamba nti, “Tugende awalala mu byalo ebituliraanye, n’abeeyo mbabuulire, kubanga ekyo kye najjirira.” 39 (G)Awo n’abuulira mu makuŋŋaaniro ag’omu kitundu kyonna eky’e Ggaliraaya, era n’agoba ne baddayimooni.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.