Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 118:1-2

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”

Zabbuli 118:14-24

14 (A)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (B)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (C)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (D)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (E)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (F)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (G)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (H)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

Olubereberye 1:20-2:4

20 Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.” 21 (A)Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 22 (B)Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.” 23 Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.

24 Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali. 25 (C)Katonda n’atonda ensolo ez’oku nsi eza buli ngeri, n’ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.

26 (D)Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”

27 (E)Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,
    mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;
    n’abatonda omusajja n’omukazi.

28 (F)Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”

29 (G)Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. 30 (H)Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.

31 (I)Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.

Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa.

(J)Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola. (K)Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.

Adamu ne Kaawa

Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi.

1 Abakkolinso 15:50-58

50 (A)Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri guno ogw’oku nsi, ogw’ennyama n’omusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera. 51 (B)Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa 52 (C)mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. 53 (D)Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. 54 (E)Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”

55 (F)“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?
    Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”

56 (G)Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. 57 (H)Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.

58 (I)Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.