Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
14 (A)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
afuuse obulokozi bwange.
15 (B)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (C)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (D)Mukama ambonerezza nnyo,
naye tandese kufa.
19 (E)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
nnyingire, neebaze Mukama.
20 (F)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (G)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
n’ofuuka obulokozi bwange.
22 (H)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.
3 (A)Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange,
nalindirira emmeeme yange gw’eyagala,
ne munoonya naye saamulaba.
2 Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga,
mu nguudo ne mu bifo ebigazi;
nanoonya emmeeme yange gw’eyagala,
ne nnindirira naye saamulaba.
3 (B)Abakuumi b’ekibuga
abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti,
“Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?”
4 (C)Twali twakayisiŋŋanya,
ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala.
Ne munnywegera ne simuganya kugenda,
okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange,
ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala.
5 (D)Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi,
ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa nga kwesiimidde.
6 (E)Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu,
afaanana ng’empagi ey’omukka,
asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu,
okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
7 (F)Laba, kye kigaali kya Sulemaani,
ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga,
abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,
8 (G)bonna balina ebitala,
era bamanyirivu mu kulwana;
buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye,
nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.
9 Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali
eky’emiti egy’omu Lebanooni.
10 Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza,
ne wansi waakyo nga wa zaabu,
n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu;
ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala,
okw’abawala ba Yerusaalemi.
11 (H)Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni,
mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule,
engule nnyina gye yamutikkira
ku lunaku olw’embaga ye,
ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.
16 (A)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu. 2 Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana. 3 (B)Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana.
4 Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo. 5 (C)Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!
6 (D)Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa. 7 (E)Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”
8 Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.