Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
31 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,
lwe ndikola endagaano empya
n’ennyumba ya Isirayiri
era n’ennyumba ya Yuda.
32 (B)Teribeera ng’endagaano eri
gye nakola ne bajjajjaabwe
bwe nabakwata ku mukono
okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,
kubanga baamenya endagaano yange nabo
wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”
bw’ayogera Mukama.
33 (C)“Eno y’endagaano gye nnaakola
n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.
“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,
ne ngawandiika ku mitima gyabwe.
Ndibeera Katonda waabwe,
nabo balibeera bantu bange.
34 (D)Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.
51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 (B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 (C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 (D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 (E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 (F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
ב Bessi
9 (A)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (B)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (C)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
ndyoke nneme okwonoona.
12 (D)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
onjigirize amateeka go.
13 (E)Njatula n’akamwa kange
amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (F)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (G)Nnaasanyukiranga amateeka go,
era siigeerabirenga.
5 (A)Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti,
“Ggwe oli Mwana wange,
leero nkuzadde ggwe.”
6 (B)Era n’awalala agamba nti,
“Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe,
ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”
7 (C)Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe. 8 (D)Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona. 9 (E)Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. 10 (F)Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
Abayonaani Baagala Okulaba Yesu
20 (A)Naye waaliwo Abayonaani abamu abaali bazze okusinza ku mbaga ey’Okuyitako 21 (B)ne bajja eri Firipo eyava e Besusayida eky’omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala kulaba Yesu.” 22 Firipo n’ategeeza Andereya, ne bagenda bombi okutegeeza Yesu.
23 (C)Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu agulumizibwe. 24 (D)Ddala ddala mbagamba nti empeke y’eŋŋaano bw’egwa mu ttaka efa, bwe tefa ebeera yokka, naye bw’efa ebala ebibala bingi. 25 (E)Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo. 26 (F)Oyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”
Yesu Ayogera ku Kufa kwe
27 (G)“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino. 28 (H)Kitange gulumiza erinnya lyo.”
Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.” 29 Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika y’ayogedde naye.” 30 (I)Yesu n’abagamba nti, “Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange. 31 (J)Ekiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru. 32 (K)Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.” 33 (L)Ekyo yakyogera ng’ategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.