Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 (B)Mumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 (C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
5 (D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
6 (E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 Ye Mukama Katonda waffe;
ye alamula mu nsi yonna.
8 (F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
9 (G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
okuba omugabo gwo.”
37 (A)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
era bonna baali ba maanyi.
38 (B)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (C)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (D)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (E)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
42 (F)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 (G)Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 (H)Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 (I)balyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.
Mumutendereze Mukama.
12 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka,
Ebisago byo si byakuwona.
13 (B)Tewali n’omu wa kukuwolereza,
tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.
14 (C)Abakuyamba bonna bakwerabidde
tebakufaako.
Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze
ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,
kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo
n’ebibi byo bingi ddala.
15 Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,
obulumi bwo obutaliiko ddagala?
Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo
nkuleeseeko ebintu bino.
16 (D)“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,
abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.
Abo abaakunyaga balinyagibwa,
abo abaakwelula balyelulwa.
17 (E)Naye ndikuzzaawo owone,
ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,
‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,
Sayuuni atalina n’omu amufaako.’
18 (F)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo
era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.
Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,
n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.
19 (G)Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza
era n’eddoboozi ery’okujaguza,
ndibaaza, era tebaliba batono,
ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.
20 (H)Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,
era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.
Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
21 (I)Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;
omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.
Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,
kubanga ani oyo alyewaayo
okunyiikira okubeera okumpi nange?’
bw’ayogera Mukama.
22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,
nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”
36 (A)Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.
37 (B)Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza. 38 (C)Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti,
“Mukama ani akkiriza bye tugamba?
Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?”
39 Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera n’agamba nti,
40 (D)“Katonda yabaziba amaaso,
era n’abakakanyaza emitima,
amaaso gaabwe galeme okulaba,
era n’emitima gyabwe gireme okutegeera,
era gireme okukyuka, mbawonye.”
41 (E)Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era n’amwogerako.
42 (F)Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. 43 (G)Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.