Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 22:23-31

23 (A)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
    Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
    era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (B)Kubanga tanyooma kwaziirana
    kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
    wabula abaanukula bwe bamukoowoola.

25 (C)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
    Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (D)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
    abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
    Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.

27 (E)Ensi zonna zirijjukira
    ne zikyukira Mukama,
ebika byonna eby’amawanga gonna
    birimuvuunamira.
28 (F)Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama,
    era y’afuga amawanga gonna.

29 (G)Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza.
    Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira,
    abatakyali balamu.
30 (H)Ezadde lyabwe lirimuweereza;
    abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
31 (I)N’abo abatannazaalibwa
    balibuulirwa obutuukirivu bwe nti,
    “Ekyo yakikoze.”

Olubereberye 15:1-6

Endagaano ya Mukama ne Ibulaamu

15 (A)Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,

“Totya Ibulaamu,
    Nze ngabo yo
    era empeera yo ennene ennyo.”

(B)Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” (C)Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”

(D)Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” (E)N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”

(F)Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu.

Olubereberye 15:12-18

12 (A)Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira. 13 (B)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina. 14 (C)Naye ndibonereza eggwanga lye balikolera n’oluvannyuma balivaayo n’obugagga bungi. 15 (D)Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo. 16 (E)Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.”

17 (F)Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino. 18 (G)Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati:

Abaruumi 3:21-31

Obutuukirivu buva mu Kukkiriza

21 (A)Kale kaakano tutegeere ng’obutuukirivu bwa Katonda tebutuweebwa lwa kugondera Mateeka. Ekyo kikakasibwa Amateeka ne bannabbi. 22 (B)Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola. 23 Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. 24 (C)Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo; 25 (D)Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olw’omusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri eby’edda. 26 Kino kiraga Katonda bw’alaga okwaniriza kw’alina eri abantu mu biro bino, bwe baba n’okukkiriza mu Yesu.

27 (E)Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza. 28 (F)Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka. 29 (G)Oba Katonda wa Bayudaaya bokka? Si ye Katonda w’amawanga amalala gonna? Weewaawo nabo Katonda waabwe. 30 (H)Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, n’abo abataakomolebwa olw’okukkiriza kwabwe. 31 Kale amateeka tugaggyewo olw’okukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.