Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.
2 (B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 (C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 (D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 (E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 (F)Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
Okusaba kwa Danyeri
9 (A)Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo mutabani wa Akaswero Omumeedi, gwe yaliiramu obwakabaka bwa Bakaludaaya, 2 (B)mu mwaka ogwo ogw’olubereberye, nze Danyeri ne ntegeera amakulu ag’ebyawandiikibwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri kye yawa Yeremiya nnabbi, ng’okubonaabona kwa Yerusaalemi kulitwala emyaka nsanvu. 3 (C)Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu.
4 (D)Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti,
“Ayi Mukama omukulu era ow’entiisa, akuuma endagaano ye so n’okwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo, 5 (E)twonoonye era tusobezza, tukoze eby’ekyejo n’eby’obujeemu, era 6 (F)tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, n’eri abalangira baffe, n’eri bajjajjaffe, n’eri abantu bonna ab’omu nsi.
7 (G)“Mukama oli mutukuvu, naye olunaku lwa leero tuswadde, abantu ba Yuda, n’abatuuze ba Yerusaalemi, ne Isirayiri yenna, abali okumpi n’abali ewala mu nsi zonna gye wabawaŋŋangusiriza olw’obutaba beesigwa gy’oli. 8 Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n’abalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye. 9 (H)Mukama Katonda waffe ajjudde okusaasira n’okusonyiwa, newaakubadde nga tumujeemedde, 10 (I)ne tutawuliriza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, newaakubadde okukuuma amateeka ge, ge yatuwa ng’ayita mu baddu be bannabbi. 11 (J)Isirayiri yenna bamenye amateeka go ne bakuvaako, era bakujeemedde.
“Noolwekyo ebikolimo n’ebirayiro ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Mukama kyebivudde bitutuukako kubanga twayonoona mu maaso go. 12 (K)Otuukirizza ebigambo bye watwogerako, n’eri abakulembeze baffe, bw’otuleeseeko akabi akanene; era wansi w’eggulu tewabangawo kintu kinene bwe kityo ekyakolebwa, ng’ekyo ekituuse ku Yerusaalemi. 13 (L)Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe bityo ebisobyo byonna bwe byatutuukako, naye ate nga tetunneegayirira kisa kya Mukama Katonda waffe, okulekayo ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu tusseeyo omwoyo okugoberera amazima. 14 (M)Mukama kyeyava talwa kutuleetako buzibu obwo, kubanga Mukama Katonda waffe mutuukirivu mu buli ky’akola, naye tetugondedde ddoboozi lye.
3 (A)Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo. 4 (B)Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
Okutambulira mu Musana
5 (C)Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono. 6 (D)Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. 7 (E)Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. 8 (F)Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. 9 (G)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 10 (H)Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.