Add parallel Print Page Options

(A)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
    abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
    abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
    banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
    basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.

(B)Lwaki mweyongera okujeema?
    Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
    n’omutima gwonna gunafuye.
(C)Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
    temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
    n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
    wadde okuteekebwako eddagala.

Read full chapter

(A)Kale lwaki abantu bange bano
    banvaako ne bagendera ddala?
(B)Nawuliriza n’obwegendereza
    naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
    ‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
    ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
(C)Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
    bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
    bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
    tebamanyi biragiro bya Mukama.”

(D)Muyinza mutya okwogera nti,
    “Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
    yeebikyusizza.
(E)Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
    era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
    magezi ki ge balina?
10 (F)Noolwekyo bakazi baabwe
    ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
    zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
    nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.

Read full chapter