Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Agali ne Isimayiri Bagobwa
8 Isaaka n’akula, n’aggyibwa ku mabeere, Ibulayimu n’afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaggyibwa ku mabeere.[a] 9 (A)Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka. 10 (B)N’alyoka agamba Ibulayimu nti, “Goba omuweereza ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuweereza ono talisikira wamu na mwana wange Isaaka.”
11 (C)Naye ekyo Ibulayimu n’atakisiima. 12 (D)Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. 13 (E)Era n’omwana w’omuweereza wo omukazi ndimufuula eggwanga, kubanga ava mu ggwe.” 14 (F)Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba.
Agali ne Isimayiri mu Ddungu
15 Awo amazzi ag’omu ddiba bwe gaggwaamu, Agali n’ateeka omwana we wansi w’ogumu ku miti. 16 Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.
17 (G)Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. 18 (H)Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”
19 (I)Awo Katonda n’azibula amaaso g’Agali, n’alaba oluzzi, n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi, n’anywesa omulenzi.
20 (J)Awo Katonda n’aba n’omulenzi n’akula n’abeera mu ddungu n’aba mwatiikirivu mu kulasa. 21 (K)Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina n’amufunira omukazi okuva mu nsi y’e Misiri.
Okusaba kwa Dawudi.
86 (A)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
kubanga ndi mwavu atalina kintu.
2 (B)Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
Katonda wange, ondokole
nze omuddu wo akwesiga.
3 (C)Onsaasire, Ayi Mukama,
kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
4 (D)Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
kubanga omwoyo gwange
nguyimusa eyo gy’oli.
16 (A)Onkyukire, onsaasire,
ompe amaanyi go nze omuweereza wo;
nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17 Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,
abalabe bange bakalabe baswale;
kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.
Okuba Abalamu mu Kristo
6 (A)Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? 2 (B)Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? 3 (C)Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? 4 (D)Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
5 (E)Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. 6 (F)Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. 7 Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.
8 Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye 9 (G)Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. 10 (H)Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.
11 (I)Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
24 (A)“Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we. 25 (B)Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.
26 (C)“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa. 27 Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba. 28 (D)Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. 29 Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. 30 (E)Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. 31 (F)Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.
32 (G)“Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33 (H)Na buli muntu alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
34 “Temulowooza nti najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. 35 (I)Kubanga najja okwawukanya
“ ‘omwana owoobulenzi ne kitaawe,
n’omwana owoobuwala ne nnyina
n’okwawukanya muka mwana ne nnyazaala we.
36 (J)Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nju ye.’
37 (K)“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, n’oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira. 38 (L)N’oyo ateetikkenga musaalaba gwe n’angoberera tansaanira. 39 (M)Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.