Add parallel Print Page Options

45 (A)Naye abantu ne bagamba Sawulo nti, “Lwaki, Yonasaani akoze eby’amagero ebyo byonna mu Isirayiri afa? Ddala Yonasaani attibwe? Oyo aleetedde Isirayiri obununuzi obw’ekitalo? Nedda tekisoboka! Nga Mukama bw’ali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo by’akoze leero Katonda y’amuyambye okubikola.” Abantu ne banunula Yonasaani bwe batyo, n’atattibwa.

Read full chapter

11 (A)Omukazi n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, kabaka, ondayirire eri Mukama Katonda wo, awalana eggwanga olw’omusaayi era aziyiza obubi okweyongera ku bubi, mutabani wange aleme okuzikirizibwa.” N’amuddamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, tewaliba luviiri olwa mutabani wo olulimuva ku mutwe.”

Read full chapter

18 (A)Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira.

Read full chapter

34 (A)Noolwekyo mubeeko ke mulya, kubanga ekyo kye kijja okubalokola so tewaabe n’omu ku mmwe anaavibwako luviiri lwe ku mutwe gwe.”

Read full chapter