Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
Okufa kwa Ibulayimu
7 Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano. 8 (A)Ibulayimu yafa ng’akaddiyidde ddala, nga musajja awangaalidde ddala obulungi. 9 (B)Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku ey’e Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule; 10 (C)ennimiro Ibulayimu gye yagula ku Bakiiti. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa awali Saala mukazi we. 11 (D)Ibulayimu bwe yafa, Katonda n’awa mutabani we Isaaka omukisa, Isaaka n’abeera e Beerirakayiroyi.
13 (A)Naye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ng’abatukuza olw’okukola kw’Omwoyo n’okukkiriza amazima, 14 ge yabayitira ng’ayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. 15 (B)Noolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe.
16 (C)Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala n’atuwa essanyu n’essuubi eddungi olw’ekisa kye, 17 (D)abazzeemu amaanyi, era abanywezenga mu buli kye mukola ne mu buli kigambo ekirungi.
Okusabirwanga
3 (E)Abooluganda, eky’enkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bw’agulumizibwa mu mmwe, 2 (F)tulyoke tununulibwe okuva mu bakozi b’ebibi, kubanga si bonna abakkiriza. 3 (G)Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani. 4 (H)Era twesiga nga Mukama waffe, abakozesa ebyo bye twabayigiriza era nga munaabikolanga bulijjo. 5 (I)Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe mu kutegeera okwagala kwa Katonda, n’obugumiikiriza obuva eri Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.