Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 126-128

Oluyimba nga balinnya amadaala.

126 (A)Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
    twafaanana ng’abaloota.
(B)Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,
    ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.
Amawanga ne gagamba nti,
    Mukama abakoledde ebikulu.”
(C)Mukama atukoledde ebikulu,
    kyetuvudde tusanyuka.

(D)Otuzze obuggya, Ayi Mukama,
    tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
(E)Abo abasiga nga bakaaba amaziga,
    baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
Oyo agenda ng’akaaba
    ng’atwala ensigo okusiga;
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu
    ng’aleeta ebinywa bye.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.

127 (F)Mukama bw’atazimba nnyumba,
    abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
    abakuumi bateganira bwereere.
(G)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
    ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
    kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

(H)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
    era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
    n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
(I)Alina omukisa omuntu oyo
    ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
    balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

128 (J)Balina omukisa abatya Katonda;
    era abatambulira mu makubo ge.
(K)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
    oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
(L)Mu nnyumba yo,
    mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
    nga beetoolodde emmeeza yo.
Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
    omuntu atya Mukama.

(M)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
    era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
    (N)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.

1 Abakkolinso 10:19-33

19 (A)Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? 20 (B)Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni mussekimu nabo. 21 (C)Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.

22 (D)Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi? 23 (E)Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba. 24 (F)Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.

25 (G)Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe. 26 (H)Kubanga ensi ya Mukama n’okujjula kwayo.

27 (I)Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe. 28 (J)Kyokka omuntu yenna bw’abategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olw’oyo abategeezezza n’olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe, 29 (K)bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala? 30 (L)Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olw’ekyo kye ndya nga neebazizza?

31 (M)Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda. 32 (N)Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde ab’ekkanisa ya Katonda. 33 (O)Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.