Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 87-88

Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.

87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
    (A)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
    okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

(B)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
    ggwe ekibuga kya Katonda.
(C)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
    ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
    ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
    “Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
    n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
(D)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
    omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

(E)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
    “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

88 (F)Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange,
    nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli;
    otege okutu kwo nga nkukoowoola.

(G)Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu,
    era nsemberedde okufa.
(H)Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe;
    nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.
(I)Bandese wano ng’afudde,
    nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana,
nga tokyaddayo kubajjukira,
    era nga tewakyali kya kubakolera.

(J)Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu,
    era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.
(K)Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo,
    ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.
(L)Ab’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko,
    n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali.
Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.
    (M)Amaaso gange gayimbadde olw’ennaku.

Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama,
    ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.
10 (N)Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu?
    Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
11 (O)Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe
    n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
12 Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza?
    Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?

13 (P)Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba;
    buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.
14 (Q)Ayi Mukama, onsuulidde ki?
    Onkwekedde ki amaaso go?

15 (R)Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;
    ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
16 Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza.
    Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
17 (S)Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna;
    binsaanikiridde ddala.
18 (T)Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo;
    nsigazza nzikiza yokka.

Abaruumi 13

13 (A)Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era n’abafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda. Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango. (B)Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wa buyinza, kola bulungi osiimibwe, (C)kubanga muweereza wa Katonda ku lw’obulungi bwo. Naye bw’onookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala ky’alina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi. Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye n’olw’okumanya nga kye kituufu.

Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe. (D)Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.

(E)Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka. (F)Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” 10 (G)Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.

11 (H)Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza. 12 (I)Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa eby’ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby’omusana. 13 (J)Tutambulenga ng’ab’omu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi n’obukaba, ne mu kuyombagana n’obuggya, 14 (K)naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.