Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 100-102

Zabbuli ey’okwebaza.

100 (A)Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.
    (B)Muweereze Mukama n’essanyu;
    mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.
(C)Mumanye nga Mukama ye Katonda;
    ye yatutonda, tuli babe,
    tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

(D)Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,
    ne mu mpya ze n’okutendereza;
    mumwebaze mutendereze erinnya lye.
(E)Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;
    n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Zabbuli ya Dawudi.

101 (F)Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
    nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
    naye olijja ddi gye ndi?

Nnaabeeranga mu nnyumba yange
    nga siriiko kya kunenyezebwa.
(G)Sijjanga kwereetereza kintu
    kyonna ekibi.

Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
    sijjanga kubyeteekako.
(H)Sijjanga kuba mukuusa;
    ekibi nnaakyewaliranga ddala.

(I)Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
    nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
    sijja kubigumiikirizanga.

(J)Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
    balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
    y’anamperezanga.

Atayogera mazima
    taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
    sirimuganya kwongera kubeera nange.

(K)Buli nkya nnaazikirizanga
    abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
    mu kibuga kya Mukama.

Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.

102 (L)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
    okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
(M)Tonneekweka
    mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
    onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!

(N)Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
    n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
(O)Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
    neerabira n’okulya emmere yange.
Olw’okwaziirana kwange okunene,
    nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
(P)Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
    era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
(Q)Nsula ntunula,
    nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
    abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
(R)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
    n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10 (S)Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
    onneegobyeko n’onsuula eyo.
11 (T)Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
    mpotoka ng’omuddo.

12 (U)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
    erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (V)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
    kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
    ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
    n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (W)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
    ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (X)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
    era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (Y)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
    talinyooma kwegayirira kwabwe.

18 (Z)Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
    abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19 (AA)Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
    Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20 (AB)okuwulira okusinda kw’abasibe,
    n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21 (AC)Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
    bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
    okusinza Mukama.

23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
    akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24 (AD)Ne ndyoka mmukaabira nti,
    “Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
    ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (AE)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
    n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (AF)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
    Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
    Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (AG)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
    n’emyaka gyo tegirikoma.
28 (AH)Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
    ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”

1 Abakkolinso 1

(A)Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw’okwagala kwa Katonda, ne Sossene[a] owooluganda[b], (B)tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso n’eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, n’abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe; (C)ekisa kibe ku mmwe n’emirembe egiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Kristo.

Okwebaza

(D)Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw’ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu, (E)mu ye mwagaggawazibwa mu buli kintu, ne mu kwogera kwonna, era ne mu kutegeera kwonna, (F)era ng’obujulirwa bwa Kristo bwe bwakakasibwa mu mmwe, (G)muleme kubaako kye mwetaaga mu kirabo kyonna, nga mulindirira okubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo. (H)Era oyo y’alibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo. (I)Katonda mwesigwa, oyo eyabayita mu kussekimu okw’Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.

10 Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube n’omutima gumu n’endowooza emu. 11 Abooluganda, ab’ewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti mu mmwe mulimu ennyombo. 12 (J)Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu ku mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, nze ndi wa Apolo, nze ndi wa Keefa, nze ndi wa Kristo.

13 (K)Kale Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo? 14 (L)Neebaza Katonda kubanga nze sibatizanga muntu n’omu ku mmwe okuggyako Kulisupo ne Gaayo. 15 Noolwekyo si kulwa nga wabaawo agamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange. 16 (M)Naye nzijukira nga nabatiza ab’omu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna. 17 (N)Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.

Kristo amagezi n’amaanyi ga Katonda

18 (O)Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19 (P)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Ndizikiriza amagezi g’abagezi,
    ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”

20 (Q)Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? 21 Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza. 22 (R)Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, 23 (S)naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, 24 (T)naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. 25 (U)Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

26 Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa. 27 (V)Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi, 28 (W)era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo, 29 (X)waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30 (Y)Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa, 31 (Z)nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.