Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:89-176

ל Lamedi

89 (A)Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,
    kya mirembe gyonna.
90 (B)Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
    watonda ensi era enyweredde ddala.
91 (C)Amateeka go na buli kati manywevu;
    kubanga ebintu byonna bikuweereza.
92 Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,
    nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
93 Siyinza kwerabira biragiro byo;
    kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
94 Ndi wuwo, ndokola,
    kubanga neekuumye bye walagira.
95 Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;
    naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
96 Ebintu byonna biriko we bikoma
    naye amateeka go tegakugirwa.

מ Meemu

97 (D)Amateeka go nga ngagala nnyo!
    Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 (E)Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
    kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
    kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 (F)Ntegeera okusinga abakadde;
    kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 (G)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
    nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
    kubanga ggwe waganjigiriza.
103 (H)Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
    Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 (I)Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
    kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.

נ Nuuni

105 (J)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
    era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (K)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
    nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
    nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (L)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
    era onjigirize amateeka go.
109 (M)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
    naye seerabira mateeka go.
110 (N)Abakola ebibi banteze omutego,
    naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
    weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (O)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
    ennaku zonna ez’obulamu bwange.

ס Sameki

113 (P)Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
    naye nze njagala amateeka go.
114 (Q)Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 (R)Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
    mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 (S)Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
    nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
    era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
    weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 (T)Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
    nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 (U)Nkankana nzenna nga nkutya,
    era ntya amateeka go.

ע Ayini

121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
    tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (V)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
    oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (W)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
    n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (X)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
    era onjigirize amateeka go.
125 (Y)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
    ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
    kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (Z)Naye nze njagala amateeka go
    okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (AA)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
    nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.

פ Pe

129 Ebiragiro byo bya kitalo;
    kyenva mbigondera.
130 (AB)Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
    n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 (AC)Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja
    nga njaayaanira amateeka go.
132 (AD)Nkyukira, onkwatirwe ekisa,
    nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 (AE)Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
    era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 (AF)Mponya okujooga kw’abantu,
    bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 (AG)Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
    era onjigirizenga amateeka go.
136 (AH)Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
    olw’abo abatakwata mateeka go.

צ Tisade

137 (AI)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
    era amateeka go matuufu.
138 (AJ)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
    era byesigibwa.
139 (AK)Nnyiikadde nnyo munda yange,
    olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (AL)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
    kyenva mbyagala.
141 (AM)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (AN)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
    n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
    amateeka go ge gansanyusa.
144 (AO)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
    onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.

ק Koofu

145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
    Nnaagonderanga amateeka go.
146 Nkukaabirira, ondokole,
    nkwate ebiragiro byo.
147 (AP)Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 (AQ)Seebaka ekiro kyonna
    nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
    ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
    kyokka bali wala n’amateeka go.
151 (AR)Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
    era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 (AS)Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
    nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

ר Leesi

153 (AT)Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
    kubanga seerabira mateeka go.
154 (AU)Ompolereze, onnunule,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 (AV)Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
    kubanga tebanoonya mateeka go.
156 (AW)Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 (AX)Abalabe abanjigganya bangi,
    naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 (AY)Nnakuwalira abo abatakwesiga,
    kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
    Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
    n’amateeka go ga lubeerera.

ש Sini ne Sikini

161 (AZ)Abafuzi banjigganyiza bwereere,
    naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 (BA)Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
    ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
    naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
    olw’amateeka go amatuukirivu.
165 (BB)Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
    tewali kisobola kubeesittaza.
166 (BC)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
    mbyagala nnyo nnyini.
168 (BD)Buli kye nkola okimanyi,
    era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.

ת Taawu

169 (BE)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
    ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (BF)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
    onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (BG)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
    kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
    kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (BH)Omukono gwo gumbeerenga,
    kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (BI)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (BJ)Ompe obulamu nkutenderezenga,
    era amateeka go gampanirirenga.
176 (BK)Ndi ng’endiga ebuze.
    Onoonye omuddu wo,
    kubanga seerabidde mateeka go.

1 Abakkolinso 8

Ebiweereddwayo eri bakatonda abalala

(A)Kale ku nsonga ey’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala: tumanyi nti byonna tubitegeera. Naye okwerowooza nti tumanyi kuleeta okwekuluntaza naye okwagala kuzimba. (B)Omuntu alowooza nti amanyi, aba alaga nga bw’atannamanya era nga bwe kimugwanira okumanya. (C)Naye oyo ayagala Katonda amanyibwa Katonda.

(D)Kale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala. (E)Waliwo abayitibwa bakatonda abali mu ggulu ne ku nsi newaakubadde nga waliwo bakatonda bangi n’abaami bangi. (F)Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.

(G)Kyokka kino abamu tebakimanyi. Obulamu bwabwe bwonna bwamanyiira okulowooza nti bakatonda abalala balamu ddala, era nga n’ebiweebwayo ebyo biweebwayo eri bakatonda ddala. Kaakano bwe balya emmere eyo eyonoona emyoyo gyabwe, kuba minafu, beeyonoona bokka. (H)Naye emmere si yeetuleetera okusiimibwa Katonda. Bwe tutagirya tewaba kye tusubwa, era ne bwe tugirya terina kye twongerako.

(I)Kyokka mwegendereze bwe muba mukozesa eddembe lyabwe eryo, si kulwa nga mwesittaza abo abanafu mu kukkiriza. 10 Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ng’olya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala. 11 (J)Kale owooluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, azikirizibwe olw’okumanya kwo! 12 (K)Noolwekyo bwe mukola ekibi ku booluganda muba muleeta ekiwundu ku mwoyo gwabwe kubanga banafu, era muba mukola kibi eri Kristo. 13 (L)Kale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.