Old/New Testament
1 (A)Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.
Koseya Afuna Amaka
2 (B)Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.” 3 Awo n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana wabulenzi.
4 (C)Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu ab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri. 5 (D)Ku lunaku olwo omutego gwa Isirayiri ndigumenyera mu Kiwonvu kya Yezuleeri.”
6 (E)Gomeri n’aba olubuto olulala, n’azaala omwana wabuwala. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa. 7 (F)Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”
8 Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n’aba olubuto olulala n’azaala omwana wabulenzi. 9 Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.
10 (G)“Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu. 11 (H)Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”
2 (I)“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”
Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe
2 (J)Munenye nnyammwe,
mumunenye,
kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.
Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,
n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
3 (K)nneme okumwambulira ddala
ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa;
ne mmufuula ng’eddungu,
ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa,
ne mmussa ennyonta.
4 (L)Sirilaga kwagala kwange eri abaana be,
kubanga baana ba bwenzi.
5 (M)Nnyabwe yakola obwenzi,
n’abazaalira mu buwemu.
Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,
n’ebimbugumya n’ebyokwambala,
n’amafuta n’ekyokunywa.”
6 (N)Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,
ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
7 (O)Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
okusinga bwe ndi kaakano.”
8 (P)Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,
ne wayini n’amafuta,
era eyamuwa effeeza ne zaabu
bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
9 (Q)“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,
ne wayini wange ng’atuuse;
era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,
bye yayambalanga.
10 (R)Era kyenaava nyanika obukaba bwe
mu maaso ga baganzi be,
so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
11 (S)Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12 (T)Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,
gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’
Ndibizisa,
era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
13 (U)Ndimubonereza olw’ennaku
ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
n’agenda eri baganzi be,
naye nze n’aneerabira,”
bw’ayogera Mukama.
14 Kale kyendiva musendasenda,
ne mmutwala mu ddungu,
ne njogera naye n’eggonjebwa.
15 (V)Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli[a] oluggi olw’essuubi.
Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
16 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“olimpita nti, ‘mwami wange;’
toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”
17 (W)Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke,
so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
18 (X)Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
bonna ne batuula mirembe.
19 (Y)Era ndikwogereza ennaku zonna,
ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20 (Z)Ndikwogereza mu bwesigwa,
era olimanya Mukama.
21 (AA)“Ku lunaku olwo,
ndyanukula eggulu,
nalyo ne lyanukula ensi;
22 (AB)ensi erimeramu emmere ey’empeke,
ne wayini n’amafuta,
nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,[b]”
bw’ayogera Mukama.
23 (AC)“Ndimwesimbira mu nsi,
ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,
era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’
era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”
Koseya addiŋŋana ne mukazi we
3 (AD)Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda, mukyala wo oyongere okumwagala, newaakubadde nga mwenzi era yakwaniddwa omusajja omulala. Mwagale nga Mukama bw’ayagala Abayisirayiri newaakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obw’emizabbibu enkalu obuwonge eri bakatonda abalala.”
2 Awo ne mmugula n’effeeza obuzito bwayo gulaamu kikumi mu nsavu ne lita ebikumi bisatu mu amakumi asatu eza sayiri. 3 Bwe ntyo ne mugamba nti, “Oteekwa okubeera nange ebbanga lyonna. Lekeraawo okukuba obwamalaaya, oba okukola obwenzi, nange bwe ntyo naabeeranga naawe.”
4 (AE)Era bwe batyo abaana ba Isirayiri bwe balibeera okumala ennaku ennyingi nga tebalina kabaka newaakubadde omulangira, nga tebakyawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, newaakubadde okusinza amayinja amawonge oba bakatonda abalala, wadde efodi. 5 (AF)N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.
Okulabula eri Isirayiri
4 (AG)Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri,
kubanga Mukama abalinako ensonga
mmwe abatuula mu nsi.
“Obwesigwa n’okwagala Katonda,
n’okumumanya bikendedde mu nsi.
2 (AH)Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta,
n’okubba, n’okukola eby’obwenzi;
bawaguza,
era bayiwa omusaayi obutakoma.
3 (AI)Ensi kyeneeva ekaaba,
ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa;
n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa,
n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.
4 (AJ)“Naye temuloopagana,
so tewabaawo muntu avunaana munne,
kubanga ensonga
ngivunaana gwe kabona.
5 (AK)Wakola ebibi emisana n’ekiro,
ne bannabbi ne babikolera wamu naawe;
kyendiva nzikiriza maama[c] wo.
6 (AL)Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya.
“Kyemunaava mulema
okubeera bakabona bange;
era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo,
nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.
7 (AM)Gye beeyongera okuba abangi,
gye baakoma n’okukola ebibi;
baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
8 (AN)Bagaggawalira ku bibi by’abantu bange,
era basemba okwonoona kwabwe.
9 (AO)Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona:
ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe,
era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.
10 (AP)“Balirya naye tebalikkuta,
balikola ebibi eby’obwenzi kyokka tebalyeyongera bungi,
kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo 11 (AQ)eri obwenzi,
wayini omukadde n’omusu,
ne bibamalamu okutegeera. 12 (AR)Abantu bange
beebuuza ku kikonge ky’omuti,
ne baddibwamu omuti.
Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda
ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
13 (AS)Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.
14 (AT)“Siribonereza bawala bammwe
olw’okubeera bamalaaya,
newaakubadde baka baana bammwe
okukola eby’obwenzi,
kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya,
ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo;
abantu abatategeera balizikirira.
15 (AU)“Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda,
omusango guleme okuba ku Yuda.
Togenda Girugaali,
newaakubadde okwambuka e Besaveni.[d]
Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
16 (AV)Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima
ng’ennyana endalu.
Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira
ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
17 Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi,
mumuleke abeere yekka.
18 Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako,
beeyongera mu bwamalaaya;
n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:
19 (AW)Embuyaga kyeziriva zibatwala,
ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”
Ennyanjula
1 (A)Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ng’atuma malayika we eri omuweereza we Yokaana 2 (B)eyategeeza ekigambo kya Katonda n’obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba. 3 (C)Alina omukisa oyo asoma n’abo abawulira ebigamb MAT - Mathayo o by’obunnabbi buno, ne beekuuma ebiwandiikiddwa, kubanga ekiseera kiri kiweddeyo.
Okulamusa n’Okutendereza Mukama
4 (D)Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.
Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,[a] 5 (E)era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe, 6 (F)n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina.
7 (G)Laba, ajja n’ebire,
na buli liiso lirimulaba,
n’abaamufumita balimulaba,
era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.
Weewaawo. Amiina!
8 (H)“Nze Alufa ne Omega,”[b] bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”
Oyo eyali ng’Omwana w’Omuntu
9 (I)Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu. 10 (J)Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe,[c] ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe, 11 (K)nga ligamba nti, “By’olaba, biwandiike mu kitabo, okiweereze eri Ekkanisa omusanvu: Ekkanisa ey’omu Efeso, n’ey’omu Sumuna, n’ey’omu Perugamo, n’ey’omu Suwatira, n’ey’omu Saadi, n’ey’omu Firaderufiya n’ey’omu Lawodikiya.”
12 (L)Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zaabu musanvu. 13 (M)Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ng’Omwana w’Omuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. 14 (N)Omutwe gwe n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era nga bifaanana ng’omuzira, n’amaaso ge nga gali ng’ennimi z’omuliro. 15 (O)Ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro n’eddoboozi lye nga liyira ng’amazzi amangi. 16 (P)Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri[d] mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.
17 (Q)Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero, 18 (R)era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’amagombe.
19 “Kale wandiika ebyo by’olabye ebiriwo n’ebyo ebinaatera okubaawo oluvannyuma lw’ebyo ebiriwo. 20 (S)Ka nkubuulire amakulu g’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era n’ebikondo eby’ettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’Ekkanisa omusanvu, ate ebikondo by’ettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.