M’Cheyne Bible Reading Plan
Okubala Abantu
1 (A)Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri[a]. N’amugamba nti: 2 (B)“Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala. 3 (C)Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe. 4 (D)Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.
5 (E)“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:
“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;
6 mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;
7 (F)mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;
8 (G)mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;
9 (H)mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
10 (I)Okuva mu baana ba Yusufu:
mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;
mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
11 Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;
12 (J)mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;
13 (K)mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;
14 (L)mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;
15 (M)mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”
16 (N)Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.
Ebika n’obunene bwabyo
17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe, 18 (O)ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala, 19 nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:
20 (P)Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 21 Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).
22 (Q)Ab’omu bazzukulu ba Simyoni:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 23 Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
24 (R)Ab’omu bazzukulu ba Gaadi:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali. 25 Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).
26 (S)Ab’omu bazzukulu ba Yuda:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 27 Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
28 (T)Ab’omu bazzukulu ba Isakaali:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 29 Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).
30 (U)Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 31 Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).
32 (V)Okuva mu batabani ba Yusufu:
Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 33 Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
34 (W)Ab’omu bazzukulu ba Manase:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 35 Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
36 (X)Ab’omu bazzukulu ba Benyamini:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 37 Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
38 (Y)Ab’omu bazzukulu ba Ddaani:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 39 Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
40 (Z)Ab’omu bazzukulu ba Aseri:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 41 Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
42 (AA)Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 43 Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
44 (AB)Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye. 45 Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe. 46 (AC)Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
Abaleevi bo Tebaabalibwa
47 (AD)Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa. 48 Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti, 49 “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” 50 (AE)Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola. 51 (AF)Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga. 52 (AG)Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe. 53 (AH)Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Obujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa.”
54 Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Zabbuli ya Dawudi.
35 (A)Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya,
lwanyisa abo abannwanyisa.
2 (B)Golokoka okwate engabo,
n’akagabo onziruukirire.
3 Galula effumu,
abangigganya obazibire ekkubo;
otegeeze omwoyo gwange nti,
“Nze bulokozi bwo.”
4 (C)Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe
era baswazibwe;
abo abateesa okunsanyaawo
bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
5 (D)Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,
malayika wa Mukama ng’abagoba.
6 Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.
7 Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,
ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
8 (E)bazikirizibwe nga tebategedde,
n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
9 (F)Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,
ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
10 (G)Amagumba gange galyogera nti,
“Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama?
Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi,
n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”
11 (H)Abajulizi abakambwe bagolokoka
ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 (I)Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 (J)So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14 ne mbeera mu nnaku
ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
ng’akaabira nnyina.
15 (K)Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
ne bannumba nga simanyi,
ne bampayiriza obutata.
16 (L)Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
ne bannumira obujiji.
17 (M)Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 (N)Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 (O)Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
tobakkiriza kunziimuula.
20 Teboogera bya mirembe,
wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 (P)Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
“Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”
22 (Q)Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 (R)Golokoka ojje onnyambe;
nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
tobaganya kunneeyagalirako.
25 (S)Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”
26 (T)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
baswazibwe era banyoomebwe.
27 (U)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”
28 (V)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.
Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo
11 (A)Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,
kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
2 Gabiranga musanvu weewaawo munaana,
kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.
3 Ebire bwe bijjula amazzi,
bitonnyesa enkuba ku nsi;
n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,
mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
4 Oyo alabirira embuyaga talisiga;
n’oyo atunuulira ebire talikungula.
5 (B)Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,
oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;
bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda
Omutonzi wa byonna by’akola.
6 (C)Ku makya siga ensigo zo,
n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;
kubanga tomanyi eziryala,
zino oba ziri,
oba zombi ziriba nnungi.
7 (D)Ekitangaala kirungi,
era okulaba ku musana kisanyusa.
8 (E)Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,
agisanyukirengamu gyonna,
naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza
nnyingi ezijja.
Ebyo byonna ebijja butaliimu.
9 (F)Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,
n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;
tambulira mu makubo g’omutima gwo
ne mu kulaba kw’amaaso go.
Naye manya nga mu byonna,
Katonda agenda kukusalira omusango.
10 (G)Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima
era weggyeko emitawaana mu ggwe,
kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.
Okuwabula abakkiriza
3 (A)Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. 2 (B)Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.
3 Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n’amasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era ab’obuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana. 4 (C)Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe n’okwagala kwe bwe byalabika, 5 (D)n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu, 6 (E)gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. 7 (F)Bwe tulimala okutukuzibwa olw’ekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. 8 (G)Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu.
9 (H)Naye weewalenga empaka ez’obusirusiru, n’okukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bw’abantu, n’ennyombo, n’entalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa. 10 (I)Omuntu ayawulayawula mu bantu bw’omalanga okumulabula omulundi ogusooka, era n’ogwokubiri, omwewalanga, 11 kubanga omuntu ng’oyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango.
12 (J)Bwe nkutumiranga Atema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby’obutiti. 13 (K)Fuba okusibirira Zeena munnamateeka ne Apolo obatume babe nga tebaliiko kye beetaaga.
14 (L)Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.
15 (M)Bonna abali nange bakulamusizza.
Olamuse abo bonna abatwagala mu kukkiriza.
Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.