Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 5

Ebikolwa Ebyetaagisa Ebiweebwayo olw’Ekibi

(A)“ ‘Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.

(B)“ ‘Omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gw’ensolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gw’ente etali nnongoofu, oba ku mirambo gy’ebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bw’anaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango. (C)Oba bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango. (D)Omuntu bw’anaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ng’amaze galayira nga tafuddeeyo, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gy’anaabanga alayiddemu. (E)Omuntu bw’anazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, (F)era n’aleeta ekiweebwayo kye olw’omusango eri Mukama olw’ekibi ekyo. Anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi enkazi ng’abiggya mu kisibo kye, nga kye kiweebwayo olw’ekibi; era kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye.

Ebiweebwayo olw’Ebibi eby’Abaavu

(G)“ ‘Omuntu bw’anaabanga omwavu, nga tasobola kuleeta ndiga nto olw’obwavu bwe, anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri eri Mukama, olw’ekibi omuntu oyo ky’akoze, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi, ekimu nga kye ky’ekiweebwayo olw’ekibi ekirala nga kye ky’ekiweebwayo ekyokebwa. (H)Anaabireeteranga kabona, n’asooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaanyoolanga ensingo y’ekiweebwayo, naye nga tagikutuddeeko; (I)anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi. 10 (J)Kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokubiri nga kye kiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera ebiragiro nga bwe bigamba. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye ky’anaabanga akoze, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.

11 (K)“ ‘Omuntu oyo omwavu bw’anaabanga tasobola kuleeta bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri, anaaleetanga ekiweebwayo olw’ekibi kye, kimu kya kkumi ekya efa[a] eky’obuwunga obulungi okuba ekiweebwayo kye olw’okwonoona. Taabuteekengamu mafuta wadde obubaane, kubanga kiweebwayo olw’ekibi. 12 Anaakireeteranga kabona, era kabona anaatoolangako olubatu, nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokera ku kyoto, ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Kino nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 13 (L)Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi ky’anaabanga akoze mu bintu ebyo byonna, era anaasonyiyibwanga. Ebyo byonna ebinaasigalangawo ku kiweebwayo kino binaabanga bya kabona, nga bwe kiri mu biragiro by’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke.’ ”

Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Omusango

14 Mukama n’agamba Musa nti, 15 (M)“Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri[b]. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango. 16 (N)Era anaaliwanga olw’ekyo kye yazzaako omusango mu bitukuvu bya Mukama, era anaayongerangako ekitundu kimu ekyokutaano eky’omuwendo gw’ekyo ky’anabanga asobezza; engassi eyo anaagiwanga kabona. Kabona anaatangiririranga omuntu oyo n’endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, bw’atyo anaasonyiyibwanga.

17 (O)“Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango. 18 (P)Anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. Kabona anaamutangiririranga olw’ekisobyo ky’anaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga. 19 Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango, kubanga anaabanga ayonoonye mu maaso ga Mukama.”

Zabbuli 3-4

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
    Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
(A)Bangi abanjogerako nti,
    “Katonda tagenda kumununula.”

(B)Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
    ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
(C)Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
    n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

(D)Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
    kubanga Mukama ye ampanirira.
(E)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
    abanneetoolodde, okunnumba.

(F)Golokoka, Ayi Mukama,
    ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
    omenye oluba lw’abakola ebibi.

(G)Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
    Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(H)Bwe nkukoowoola onnyanukule,
    Ayi Katonda wange omutuukirivu.
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.
    Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.

(I)Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?
    Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
(J)Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.
    Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.

(K)Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,
    mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
(L)Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;
    era mwesigenga Mukama.

(M)Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,
    otumulisize omusana gw’amaaso go.”
(N)Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
    erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.

(O)Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;
    kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,
    ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Engero 20

20 (A)Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi,
    era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.

(B)Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
    n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.

(C)Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo,
    naye buli musirusiru ayagala okuyomba.

Omugayaavu talima mu budde butuufu,
    kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.

Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba,
    naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.

(D)Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo,
    naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?

(E)Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa;
    ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.

(F)Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango,
    amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.

(G)Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange,
    ndi mulongoofu era sirina kibi?”

10 (H)Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu,
    byombi bya muzizo eri Mukama.

11 (I)Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye,
    obanga birongoofu era nga birungi.

12 (J)Okutu okuwulira n’eriiso eriraba
    byombi Mukama ye y’abikola.

13 (K)Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala,
    tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.

14 “Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula;
    naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.

15 Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri,
    naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.

16 (L)Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi,
    kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.

17 (M)Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya,
    naye emufuukira amayinja mu kamwa.

18 (N)Kola entegeka nga weebuuza ku magezi,
    bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.

19 (O)Oyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama,
    noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.

20 (P)Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina,
    ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.

21 Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka,
    ku nkomerero tebiba na mukisa.

22 (Q)Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!”
    Lindirira Mukama alikuyamba.

23 (R)Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama,
    ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.

24 (S)Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama,
    omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?

25 (T)Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,
    naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.

26 (U)Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi,
    n’ababonereza awatali kusaasira.

27 Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu,
    n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.

28 (V)Okwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu,
    era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.

29 (W)Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka,
    envi kye kitiibwa ky’abakadde.

30 (X)Emiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi,
    n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.

Abakkolosaayi 3

Ebiragiro ku Butukuvu

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. (A)Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, (B)kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. (C)Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya

(D)Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. (E)Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, (F)ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. (G)Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. (H)Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10 (I)ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11 Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.

12 Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 (J)Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 (K)Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

15 (L)N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo

16 (M)Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 (N)Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

18 (O)Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 (P)nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 (Q)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.