Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 24

Amafuta ag’Omuzeeyituuni n’Emigaati egy’Okulaga

24 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’omuzeeyituuni aga zeyituuni amalungi amaka ag’okukozesa mu ttaala ziryoke zaakenga buli kiseera awatali kusalako. Wabweru w’Eggigi ery’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, Alooni w’anaalabiririranga ettabaaza ezo nga zaakira awali Mukama Katonda okuva akawungeezi okutuusa mu makya awatali kusalako. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe egigenda okujja. (A)Alooni anaalabiriranga ettaala ez’oku kikondo ekya zaabu omuka awali Mukama Katonda nga zaaka awatali kusalako.

(B)“Ojja kuddiranga obuwunga bw’eŋŋaano obulungi ofumbe emigaati kkumi n’ebiri ng’okozesa desimoolo bbiri eza efa[a]. (C)Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama. (D)Era ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu n’emigaati nga kye kijjukizo eky’ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro. (E)Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe. (F)Emigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro eky’enkalakkalira.”

Avvoola wa Kuttibwanga

10 Awo mutabani w’omukazi Omuyisirayiri naye nga kitaawe Mumisiri n’afuluma n’abeera mu baana ba Isirayiri, naye ne wasitukawo olutalo wakati w’omusajja oyo n’Omuyisirayiri, nga bali mu lusiisira[b]. 11 (G)Mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola Erinnya lya Mukama, era n’akolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani. 12 (H)Ne bamuggalira mu kkomera okutuusa Mukama Katonda lw’anaabategeeza ekinaakolebwa.

13 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 14 (I)“Eyavvodde mumufulumye ebweru w’olusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ng’avvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja. 15 (J)Tegeeza abaana ba Isirayiri nti omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we anaabanga n’obuvunaanyizibwa olw’ekibi ekyo. 16 (K)Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bw’anaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bw’anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga.

17 (L)“Anattanga omuntu naye anattibwanga. 18 (M)Omuntu yenna anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, ensolo ku nsolo. 19 Omuntu bw’anaaleetanga akamogo ku munne n’amulumya, ekyo ky’akoze ku munne naye kye kinaamukolwangako: 20 (N)obuvune olw’obuvune, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo; nga bw’anaabanga alumizza munne, naye bw’atyo bw’anaalumizibwanga. 21 (O)Omuntu anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, n’oyo anattanga omuntu naye waakuttibwanga. 22 (P)Etteeka lye limu lye linaafuganga omugwira era n’Omuyisirayiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”

23 Bw’atyo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri, ne bafulumya eyavvoola ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja n’afa. Abaana ba Isirayiri baakola nga Mukama bwe yalagira Musa.

Zabbuli 31

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

31 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
    leka nneme kuswazibwa.
    Ndokola mu butuukirivu bwo.
(A)Ontegere okutu kwo
    oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
    era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
(B)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
    olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
(C)Omponye mu mutego gwe banteze;
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
(D)Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
    ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.

(E)Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;
    nze nneesiga Mukama.
(F)Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,
    kubanga olabye okubonaabona kwange
    era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
(G)Tompaddeeyo mu balabe bange,
    naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.

(H)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
    amaaso gange gakooye olw’ennaku;
    omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (I)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
    ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
    n’amagumba ganafuye.
11 (J)Abalabe bange bonna bansekerera,
    banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
    n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (K)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
    nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (L)Buli ludda mpulirayo obwama
    nga bangeya;
bye banteesaako
    nga basala olukwe okunzita.

14 (M)Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
    nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
15 (N)Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
    ondokole mu mikono gy’abalabe bange
    n’abangigganya.
16 (O)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
    ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
17 (P)Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,
    kubanga nkukoowoola;
leka abo ababi baswale,
    era bagalamire emagombe nga basirise.
18 (Q)Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba
    kasirisibwe,
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,
    nga babyogeza amalala n’okunyooma.

19 (R)Obulungi bwo,
    bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,
n’obuwa mu lwatu
    abo abaddukira gy’oli.
20 (S)Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,
    n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,
n’ennyombo z’abantu
    ne zitabatuukako.

21 (T)Mukama atenderezebwenga
    kubanga yandaga okwagala kwe okungi,
    bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.
22 (U)Bwe natya ennyo
    ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.”
Kyokka wampulira nga nkukaabirira
    n’onsaasira.

23 (V)Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna!
    Mukama akuuma abo abamwesiga,
    naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
24 (W)Muddeemu amaanyi mugume omwoyo
    mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.

Omubuulizi 7

Okulondawo Ekisinga Obulungi

(A)Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;
    n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
(B)Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
    okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
    ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
(C)Okunakuwala kusinga okuseka,
    kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
(D)Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;
    naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
(E)Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi
    okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
(F)Okuseka kw’abasirusiru
    kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu[a];
    na kino nakyo butaliimu.

(G)Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,
    n’enguzi efaafaaganya okutegeera.

(H)Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,
    n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
(I)Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka,
    kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.

10 Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?”
    Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.

11 (J)Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,
    era kigasa abo abakyalaba enjuba.
12 Amagezi kiwummulo,
    ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,
naye enkizo y’okumanya y’eno:
    amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.

13 (K)Lowooza ku Katonda ky’akoze:

ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
14 Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka;
    naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko;
Katonda eyakola ekimu
    era ye yakola ne kinnaakyo.
Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako
    mu nnaku ze ez’omu maaso.

15 (L)Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi:

omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe,
    n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
16 Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde
    wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo;
    oleme okwezikiriza.
17 (M)Tobanga mwonoonyi kakuzzi
    wadde okuba omusirusiru;
    oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.
18 (N)Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso,
    kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.

19 (O)Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga,
    aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.

20 (P)Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,
    atakola bibi.

21 (Q)Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera,
    si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,
22 kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo,
    ng’emirundi mingi okolimidde abalala.

23 (R)Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti,

“Mmaliridde okuba omugezi,”
    wabula kino kyandi wala.
24 (S)Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka,
    kale ani ayinza okugavumbula?
25 (T)Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera,
    nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri,
n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi:
    n’eddalu ery’obusirusiru.

26 (U)Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
    ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
    era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
    kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.

27 (V)Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde:

“Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
28     (W)bwe nnali nga nkyanoonyereza
    nabulako kye nzuula,
okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi,
    kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
29 Wabula kino kyokka kye nalaba:
    Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu,
    naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”

2 Timoseewo 3

Ennaku ez’Oluvannyuma

(A)Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu. (B)Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, (C)nga ba nkwe, nga baagala eby’amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.

(D)Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima, (E)nga Yane ne Yambere abaawakanya Musa, ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina kukkiriza kutuufu. (F)Kyokka tebaliiko gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng’obwa abasajja abo bwe bwamanyibwa.

10 (G)Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, n’empisa zange, ne kye nduubirira, n’okukkiriza kwange n’okubonaabona kwange n’okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange, 11 (H)n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna. 12 (I)Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga. 13 (J)Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula. 14 (K)Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n’obikkiririza ddala, ng’omanyi abaabikuyigiriza bwe bali. 15 (L)Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu. 16 (M)Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, 17 (N)omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.