M’Cheyne Bible Reading Plan
Olugendo lwa Yakobo
29 (A)Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba. 2 Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene, 3 era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gw’oluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako.
4 (B)Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”
5 Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”
6 N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!”
7 N’abagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.”
8 Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ng’ebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga n’ejjinja terinaggyibwa ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tunywesa endiga.”
Yakobo Asisinkana Laakeeri
9 (C)Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda. 10 (D)Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani. 11 (E)Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. 12 (F)Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe.
13 (G)Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo. 14 (H)Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.” 15 Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.”
16 Labbaani yalina bawala be babiri; erinnya ly’omukulu nga ye Leeya ne ly’omuto nga ye Laakeeri. 17 Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga w’amaanyi. 18 (I)Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza[a] emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.”
19 Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.” 20 (J)Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo.
21 (K)Awo Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Kale mpa mukazi wange, mmutwale, kubanga ekiseera kye twalagaana nkimazeeko.”
22 (L)Labbaani kwe kukuŋŋaanya abantu b’ekifo ekyo, n’akola embaga. 23 Naye mu kiro Labbaani n’atwala muwala we Leeya n’amuwa Yakobo okumutwala okuba mukazi we.[b] 24 Labbaani yali awadde Leeya Zirupa amuweerezenga.
25 (M)Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?” 26 Labbaani n’amuddamu nti, “Mu nsi yaffe tekiri mu buwangwa bwaffe, omuto okusooka omukulu okufumbirwa. 27 (N)Sooka omale n’ono wiiki eno emu, n’oli tugenda kumukuwa; kyokka olimukolerera okumala emyaka emirala musanvu.”
28 Ekyo Yakobo n’akikkiriza, n’amalako wiiki emu eyo, Labbaani n’alyoka amuwa Laakeeri muwala we okuba mukazi we. 29 (O)Labbaani n’awa Laakeeri Biira amuweerezenga. 30 (P)Yakobo n’atwala Laakeeri n’aba mukazi we; n’ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n’aweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu.
Abaana ba Yakobo
31 (Q)Mukama bwe yalaba nga Leeya akyayibbwa n’aggula olubuto lwe. Laakeeri ye yali mugumba. 32 (R)Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”
33 (S)N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.” 34 (T)Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.
35 (U)Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.
Yesu Azuukira
28 (A)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.
2 (B)Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako. 3 (C)Amaaso ge gaali gamasamasa ng’okumyansa kw’eraddu, n’ekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku. 4 Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ng’abafudde.
5 (D)Awo malayika n’agamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa, 6 (E)wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa. 7 (F)Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”
8 Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be. 9 (G)Bwe baali bagenda, amangwago Yesu n’ayimirira mu maaso gaabwe! N’abalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza. 10 (H)Awo Yesu n’abagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”
Abakuumi bye Baayogera
11 (I)Abakazi bwe baali bagenda mu kibuga, abamu ku bakuumi abaali bakuuma entaana ne bagenda eri bakabona abakulu ne babategeeza byonna ebibaddewo. 12 Awo abakulembeze b’Abayudaaya bonna ne bakuŋŋaana ne bateesa era ne batoola ffeeza na basalawo bagulirire abakuumi. 13 Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.” 14 (J)Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.” 15 Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
Okutumibwa mu Nsi yonna
16 (K)Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga. 17 Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa! 18 (L)Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 19 (M)Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. 20 (N)Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.”
Eseza Yeegayirira Kabaka
5 (A)Awo ku lunaku olwokusatu, Kabaka yali atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu kisenge ekinene ekyolekera omulyango, Eseza n’ayambala ebyambalo bye ebyobwannabagereka, n’ayimirira mu luggya olw’omunda olwokubiri okwolekera ekisenge ekyo ekinene. 2 (B)Kabaka bwe yalengera Nnabagereka Eseza ng’ayimiridde mu luggya, n’aganja mu maaso ge era n’amugololera omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n’asembera n’akoma ku musa gw’omuggo.
3 (C)Kabaka n’alyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki ky’osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka.”
4 Awo Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, ajje ne Kamani leero ku mbaga gye nfumbidde Kabaka.”
5 Amangwago Kabaka n’agamba nti, “Mwanguwe okuyita Kamani ajje tugende ku mbaga Eseza gyateeseteese.” 6 (D)Awo bwe baali banywa wayini, Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Wegayirira ki era osaba ki? Kinaakuweebwa. Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka kinaakuweebwa.”
7 Eseza n’amugamba nti, “Kye negayirira era kye nsaba kye kino. 8 (E)Obanga ŋŋanze mu maaso ga Kabaka era ng’anaasiima okuddamu okusaba kwange, n’okutuukiriza kye neegayirira, nkusaba kabaka ne Kamani mujje enkya ku mbaga gye nnaabategekera. Olwo nno, nzija kuddamu ekibuuzo kya kabaka.”
Kamani Asunguwalira Moluddekaayi
9 (F)Ku lunaku olwo Kamani n’afuluma nga musanyufu era ng’ajaguza mu mwoyo. Naye bwe yalaba Moluddekaayi mu wankaaki wa Kabaka, nga tayimuse wadde okulaga nti amussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwalira nnyo Moluddekaayi. 10 (G)Wakati mu ebyo byonna Kamani n’azibiikiriza era n’addayo eka.
Oluvannyuma n’atumya mukyala we Zeresi ne mikwano gye, 11 (H)era n’abeewaanirako ekitiibwa n’obugagga bwe, bwe byenkana obungi, n’abaana be bwe benkana obungi, n’ebitiibwa byonna Kabaka bye yamuwa, ate ne bwe yakuzibwa okusinga abakungu ba Kabaka n’abaana be. 12 (I)“Ate si ekyo kyokka,” Kamani n’ayongerako na kino nti, “Nnabagereka Eseza teyaganyizza muntu mulala n’omu kuwerekera Kabaka ku mbaga gye yategese, wabula nze; era n’enkya ampise ŋŋende wamu ne Kabaka. 13 (J)Naye ebyo byonna tebimpa mirembe nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka.”
14 (K)Awo mukazi we Zeresi ne mikwano gye gyonna ne bamugamba nti, “Bazimbe akalabba obuwanvu bwako, mita amakumi abiri mu ssatu, enkya bw’onooyogera ne Kabaka, Moluddekaayi anaawanikibwa okwo, kale olyoke ogende ku mbaga ne Kabaka ng’oli musanyufu.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa nnyo Kamani, era akalabba ne kazimbibwa.
Pawulo mu Merita
28 (A)Awo bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera nti tuli ku kizinga Merita. 2 Bannansi b’oku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga n’enkuba etandise okutonnya. 3 Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda k’obuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogw’obutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe. 4 (B)Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ng’ennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!” 5 (C)Naye Pawulo omusota n’agukunkumulira mu muliro n’atabaako kabi konna. 6 (D)Abantu ne balindirira balabe bw’atandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”
7 Waaliwo ennimiro okuliraana n’olubalama lw’ennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu w’ekizinga ekyo. Awo n’atwaniriza mu maka ge n’atusembeza n’atulabirira okumala ennaku ssatu. 8 (E)Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ng’alimu ekiddukano ky’omusaayi. Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira, n’amussaako emikono n’amuwonya! 9 Ekyo bwe kyabaawo, n’abalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gy’ali ne bawonyezebwa. 10 Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe eky’okusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe.
Pawulo Atuuka mu Ruumi
11 (F)Oluvannyuma lw’emyezi esatu ne tulyoka tusitula. Twagendera mu kyombo eky’e Alegezanderiya ekiyitibwa Abooluganda Abalongo. Kyali kyewogomye awo ku kizinga okumala obudde bwonna olw’obutiti. 12 Ne tusooka okugoba mu Sirakusi, ne tumalawo ennaku ssatu. 13 Bwe twava awo ne twetooloola ne tutuuka e Regio. Oluvannyuma lw’olunaku lumu ne tujjirwa empewo eva obukiikaddyo bwa bugwanjuba, olunaku olwaddirira ne tutuuka e Putiyooli. 14 (G)Wano twasangawo abooluganda, ne batusaba tubeere nabo ennaku musanvu. Bwe twava awo ne tutuuka e Ruumi. 15 (H)Abooluganda abaali eyo bwe baawulira ebyatutuukako, ne bajja okutusisinkana mu Katale ka Apiya ne ku Bisulo Ebisatu. Pawulo bwe yabalaba ne yeebaza Katonda era n’aguma omwoyo.
Pawulo Abuulira mu Ruumi nga bw’akuumibwa
16 (I)Bwe twatuuka mu Ruumi Pawulo n’akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng’abeera n’omuserikale amukuuma. 17 (J)Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo. 18 (K)Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa. 19 (L)Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange. 20 (M)Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.”
21 (N)Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi. 22 (O)Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.”
23 (P)Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi. 24 (Q)Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. 25 Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,
26 “ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti,
Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera
n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
27 (R)Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.
N’amatu gaabwe gazibikidde,
n’amaaso gaabwe gazibiridde.
Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe,
ne bawulira n’amatu gaabwe,
ne bategeera n’emitima gyabwe,
ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’
28 (S)“Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”
29 Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.
30 Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba. 31 (T)N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.