The Daily Audio Bible
Today's audio is from the ESV. Switch to the ESV to read along with the audio.
Okwolesebwa ku by’Omusango
7 (A)Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja by’enzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kw’afuna omusolo. 2 (B)Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”
3 (C)Mukama bwe yawulira okukaaba kuno n’akyusa ekirowoozo kye.
N’agamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”
4 (D)Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu. 5 (E)Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”
6 (F)Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, n’akyusa ekirowoozo kye.
Era n’agamba nti, “Era n’ekyo tekijja kubeerawo.”
7 Ate Mukama n’andaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe. 8 (G)Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”
Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.”
Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.
9 (H)“Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa,
n’ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo.
N’ennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa n’ekitala.”
Amosi Ne Amaziya
10 (I)Awo Amaziya kabona w’e Beseri n’aweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ng’agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.” 11 Bw’ati Amosi bw’ayogera nti,
“ ‘Yerobowaamu alifa kitala,
ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse
bave mu nsi yaboobwe.’ ”
12 (J)Awo Amaziya n’alyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi[a]. Ddayo mu nsi ya Yuda gy’oba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo. 13 (K)Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”
14 (L)Amosi n’amuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli. 15 (M)Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo n’aŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’ ” 16 (N)Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti,
“ ‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri,
era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’
17 (O)“Mukama kyava akuddamu nti,
“ ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga
era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala.
Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala
naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri.
Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’ ”
Ekisero Ky’ebibala
8 Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde. 2 (P)Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”
Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.”
Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.
3 (Q)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”
4 (R)Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,
5 (S)nga mwogera nti,
“Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,
tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,
era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,
tutunde eŋŋaano yaffe?”
Mukozesa minzaani enkyamu
ne mwongera emiwendo
ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
6 (T)mmwe abagula abaavu n’effeeza
n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,
ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.
7 (U)Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.
8 (V)“Ensi terikankana olw’ekyo,
na buli abeeramu n’akungubaga?
Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira
n’ekka ng’amazzi
ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola.”
9 (W)Mukama Katonda agamba nti,
“Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu
era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
10 (X)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.
11 (Y)“Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndisindika enjala mu nsi yonna,
teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi,
naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
12 (Z)Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala,
bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo
nga banoonya ekigambo kya Mukama,
naye tebalikifuna.
13 (AA)“Mu biro ebyo,
“abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi
balizirika olw’ennyonta.
14 (AB)Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya
oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’
oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’
baligwa obutayimuka nate.”
Okuzikirira kwa Isirayiri
9 (AC)Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti,
“Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi,
emifuubeeto gikankane.
Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna,
n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala.
Tewaliba n’omu awona.
2 (AD)Ne bwe balisima ne baddukira emagombe,
omukono gwange gulibaggyayo.
Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu
ndibawanulayo.
3 (AE)Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri,
ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.
Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja
ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
4 (AF)Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse,
era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo.
Ndibasimba amaaso
ne batuukibwako bibi so si birungi.”
5 (AG)Era Mukama, Mukama ow’Eggye,
akwata ku nsi n’esaanuuka,
abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga,
ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira
ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
6 (AH)oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu,
omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi,
ayita amazzi g’ennyanja,
n’agayiwa wansi ku lukalu,
Mukama lye linnya lye.
7 (AI)Mukama ayongera n’agamba nti,
“Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi?
Ssabaggya mu nsi y’e Misiri
nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli,
n’Abasuuli e Kiri?”
Essuubi lya Isirayiri
8 (AJ)“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda,
gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi.
Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya
okuva ku nsi.
Kyokka sirizikiririza ddala
ennyumba ya Yakobo okugimalawo,”
bw’ayogera Mukama.
9 (AK)“Kubanga ndiwa ekiragiro,
ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa
mu mawanga gonna,
ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta
era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
10 (AL)Aboonoonyi bonna mu bantu bange,
balifa kitala,
abo bonna aboogera nti,
‘Akabi tekalitutuukako.’ ”
Isirayiri edda obuggya
11 (AM)“Mu biro ebyo ndizzaawo
ennyumba ya Dawudi eyagwa
era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa,
ne nzizaawo ebyali amatongo,
ne biba nga bwe byabeeranga,
12 (AN)balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo
n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,”
bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.
13 (AO)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“akungula lw’alisinga asiga,
n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu.
Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi,
n’akulukuta okuva mu busozi.
14 (AP)Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,
ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.
Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,
era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 (AQ)Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
era tebaliggibwa nate
mu nsi gye nabawa,”
bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Firaderufiya
7 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo Omutukuvu era ow’amazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, n’okuggalawo ne wataba aggulawo.
8 (B)Mmanyi ebikolwa byo. Laba nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw’atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, okuumye ekigambo kyange n’oteegaana linnya lyange, 9 (C)laba nnyinza okuwaayo abamu ku abo ab’omu kuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya; laba ndibaleeta okuvuunama ku bigere byammwe bategeere nti mbaagala. 10 (D)Olwokubanga wakwata ekigambo kyange eky’okugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera eky’okugezesebwa ekinaatera okujja.
11 (E)Nzija mangu! Nnyweza ky’olina waleme kubaawo akutwalako ngule yo. 12 (F)Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mw’ataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange n’erinnya lyange eriggya. 13 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Lawodikiya
14 (G)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Lawodikiya wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo Amiina, omujulirwa, omwesigwa, ow’amazima, omukulu w’abaliwo, n’abalibaawo emirembe gyonna, era ensibuko y’ebitonde bya Katonda.
15 (H)Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ng’oyokya oba ng’onnyogoga. 16 Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. 17 (I)Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere. 18 (J)Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ez’okuyita obwereere; onguleko n’omuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba.
19 (K)Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya. 20 (L)Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.
21 (M)Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye. 22 (N)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.”
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (A)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 (B)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3 (C)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
23 (A)Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa,
naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.