Add parallel Print Page Options

13 (A)Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
    ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
    awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
    ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.

Read full chapter

(A)Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[a] e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 17:6 Guno mulundi gwakubiri ng’Abayisirayiri mu bukiikakkono batwalibwa mu buwaŋŋanguse (laba 15:29)

13 (A)Mukama n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.”

Read full chapter

(A)Tebalisigala mu nsi ya Mukama;
    Efulayimu aliddayo e Misiri
    n’alya emmere etali nnongoofu mu Bwasuli.

Read full chapter