Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 19

Okugattululwa

19 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n’ava e Ggaliraaya n’ajja mu bitundu bya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. (B)Ekibiina kinene ne bamugoberera era n’awonya abalwadde baabwe.

(C)Abafalisaayo ne bajja gy’ali bamugezese nga bagamba nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we olw’ensonga n’emu?”

(D)Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja n’omukazi,’ (E)era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”

(F)Ne bamubuuza nti, “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja bw’abanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa ey’okumugoba?”

Yesu n’abaddamu nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo. (G)Era mbagamba nti omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olw’obwenzi, n’amala awasa omulala, anaabanga ayenze, n’oyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze.”

10 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Obanga bwe biri bwe bityo, ekisingako obulungi bwe butawasiza ddala!”

11 (H)Yesu n’abaddamu nti, “Abantu bonna tebayinza kutegeera kigambo kino okuggyako abo Katonda b’akiwa. 12 Kubanga abamu bazaalibwa nga tebasobola kuwasa abalala balaayibwa bantu bannaabwe ate abalala bagaana okuwasa ne beewaayo okukola omulimu ogw’obwakabaka obw’omu ggulu. Buli asobola okutegeera kino akitegeere.”

Yesu n’Abaana

13 (I)Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe n’omukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta.

14 (J)Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu.” 15 N’abassaako emikono n’abawa omukisa n’alyoka avaayo.

Omuvubuka Omugagga

16 (K)Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?”

17 (L)Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bw’obanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.”

18 (M)N’amuddamu nti, “Ge galuwa?”

Yesu n’amugamba nti, “ ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, 19 (N)ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ ”

20 Omuvubuka oyo n’amuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?”

21 (O)Yesu n’amugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

22 Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yali mugagga.

23 (P)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 24 Era mbategeeza nti kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”

25 Ebigambo ebyo abayigirizwa be ne bibeewuunyisa nnyo, n’okugamba ne bagamba nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”

26 (Q)Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”

27 (R)Awo Peetero n’abuuza Yesu nti, “Ffe twaleka byonna ne tukugoberera. Kale ffe tulifuna ki?”

28 (S)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana w’Omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri. 29 (T)Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olw’erinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo. 30 (U)Bangi aboolubereberye, abaliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma ne baba aboolubereberye.”

Makko 10

Enteekateeka ya Katonda ku Bufumbo

10 (A)Awo n’agolokoka n’ava eyo n’alaga mu kitundu kya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. Ebibiina ne bimuguberera era naye n’abayigiriza nga bwe yakolanga bulijjo.

(B)Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we?”

Yesu n’addamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?” (C)Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.”

(D)Yesu n’abagamba nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino. (E)Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. (F)Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”

10 Bwe baali mu nnyumba, abayigirizwa be, ne bongera okumubuuza ku nsonga eyo. 11 (G)Yesu n’abagamba nti, “Omusajja bw’agobanga mukazi we n’awasa omukazi omulala, aba ayenze. 12 (H)N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze.”

Yesu Awa Abaana Omukisa

13 Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. 14 (I)Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. 15 (J)Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono.” 16 (K)Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.

17 (L)Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”

18 Yesu n’amuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 19 (M)Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ” 20 N’amuddamu nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna simenyangako na kimu okuva mu buvubuka bwange.”

21 (N)Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

22 Bwe yawulira ebigambo ebyo n’anyiikaala, n’agenda ng’anakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.

23 (O)Yesu n’amutunuulira ng’agenda, n’alyoka akyukira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”

24 (P)Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 (Q)Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

26 Ne beewuunya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Olwo kale ani ayinza okulokolebwa!”

27 (R)Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”

28 (S)Awo Peetero n’agamba Yesu nti, “Tweresa byonna ne tukugoberera.”

29 Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri, 30 (T)ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo. 31 (U)Naye bangi aboolubereberye baliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba aboolubereberye.”

Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe

32 (V)Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ng’akulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya n’okweraliikirira. Yesu n’abazza wa bbali, n’abannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi. 33 (W)N’ababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Omwana w’Omuntu aliweebwayo, atwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka. Bajja kumusalira omusango ogw’okufa era balimuwaayo eri Abamawanga bamusalire ekibonerezo eky’okufa. 34 (X)Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.”

Okusaba kwa Yakobo ne Yokaana

35 Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.”

36 N’ababuuza nti, “Kiki ekyo?”

37 (Y)Ne bamuddamu nti, “Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono?”

38 (Z)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe eky’okubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?”

39 (AA)Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange. 40 Naye sirina buyinza kubatuuza ku ntebe eziriraanye eyange. Enteekateeka eyo yamala dda okukolebwa.”

41 Abayigirizwa bali ekkumi bwe baategeera Yakobo ne Yokaana kye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 42 Yesu n’abayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga, n’abakulu baabwe bakuluusanya abantu, 43 (AB)naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne. 44 Ne buli ayagala okuba omwami mu mmwe, asaana abeere muddu wa banne bonna. 45 (AC)N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”

Yesu Azibula Battimaayo Amaaso

46 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo. 47 (AD)Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

48 Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

49 Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!” 50 Battimaayo n’asuula eri ekikooti kye, n’asituka mangu n’ajja eri Yesu.

51 (AE)Yesu n’amubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!”

52 (AF)Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.