Chronological
Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama
3 (A)Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, 2 (B)“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” 3 (C)Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,
“Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
muluŋŋamye amakubo ge!’ ”
4 (D)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. 5 Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. 6 N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7 (E)Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? 8 (F)Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza. 9 Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu! 10 (G)Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.
11 (H)“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 12 (I)Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”
Okubatizibwa kwa Yesu
13 (J)Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. 14 Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?”
15 Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.
16 (K)Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. 17 (L)Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
Yokaana Omubatiza Alongoosa Ekkubo
1 (A)Entandikwa y’Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
2 (B)Kyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya nti,
“Laba ntuma omubaka wange akukulembere,
ateeketeeke ekkubo lyo;
3 (C)eddoboozi ly’oyo ayogelera waggulu mu ddungu nti,
‘Muteeketeeke ekkubo lya Mukama,
mutereeze amakubo ge.’ ”
4 (D)Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi. 5 Ensi yonna ey’e Buyudaaya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bagendanga gy’ali, n’ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. 6 (E)Yokaana yayambalanga ekyambalo eky’obwoya bw’eŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki. 7 (F)Yabuuliranga ng’agamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze. 8 (G)Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”
Okubatizibwa kwa Yesu n’Okukemebwa kwe
9 (H)Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n’ava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya n’ajja, Yokaana n’amubatiza mu mugga Yoludaani. 10 (I)Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, n’alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ng’ali ng’ejjiba ng’amukkako. 11 (J)Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.” 12 Amangwago Mwoyo n’amutwala mu ddungu. 13 (K)N’amalayo ennaku amakumi ana ng’ali n’ensolo ez’omu nsiko, ng’akemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.
Yesu Ayita Abayigirizwa Abaasooka
14 (L)Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, 15 (M)ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.” 16 Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi. 17 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!” 18 Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera. 19 Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe. 20 Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu.
Yesu Awonya Omusajja eyaliko Dayimooni
21 (N)Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago n’ayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, n’abayigiriza. 22 (O)Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakolanga. 23 Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana, 24 (P)ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” 25 (Q)Awo Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti, “Sirika era muveeko.” 26 (R)Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. 27 (S)Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So n’emyoyo emibi agiragira ne gimugondera.” 28 (T)Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.
Yesu Awonya Nnyina wa Muka Simooni
29 (U)Amangwago ne bava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda mu nnyumba ya Simooni ne Andereya nga bali ne Yakobo ne Yokaana. 30 Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu. 31 (V)Bwe yamusemberera, n’amukwata ku mukono n’amuyimusa, omusujja ne gumuwonako, n’abaweereza!
Yesu Awonya Abalwadde Abangi
32 (W)Awo obudde bwe bwali buwungeera, ng’enjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, n’abaaliko dayimooni. 33 Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi. 34 (X)Era Yesu n’awonya abalwadde bangi abaalina endwadde ez’enjawulo era n’abaaliko baddayimooni bangi n’ababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.
Yesu Asaba yekka mu Kifo eteri Bantu
35 (Y)Enkeera ng’obudde tebunnalaba yesu n’azuukuka n’agenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba. 36 Awo Simooni ne be yali nabo ne bamunoonya, 37 bwe baamulaba ne bamugamba nti, “Buli muntu akunoonya.” 38 (Z)Naye Yesu n’abagamba nti, “Tugende awalala mu byalo ebituliraanye, n’abeeyo mbabuulire, kubanga ekyo kye najjirira.” 39 (AA)Awo n’abuulira mu makuŋŋaaniro ag’omu kitundu kyonna eky’e Ggaliraaya, era n’agoba ne baddayimooni.
Yesu Awonya Omugenge
40 (AB)Awo omugenge[a] n’ajja eri Yesu ne yeegayirira ng’afukamidde mu maaso ge, n’amugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.” 41 Yesu n’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti, “Nsiimye, longooka!” 42 Amangwago ebigenge ne bimuwonako, n’aba mulongoofu. 43 Awo Yesu n’amukuutira nnyo n’amusiibula, 44 (AC)ng’agamba nti, “Kino tokibuulirako muntu n’omu, wabula genda weeyanjule eri kabona, oweeyo n’ekirabo Musa kye yalagira okuweebwangayo, okuba obujulirwa gye bali.” 45 (AD)Naye omusajja n’atandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, n’okubibunyisa. Yesu n’atasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye n’abeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gy’ali okuva mu njuyi zonna.
Yokaana Omubatiza alongoosa ekkubo
3 (A)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’okufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga y’afuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga y’afuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga y’afuga Abireene, 2 (B)Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda. 3 (C)Yokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi, 4 nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,
“Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti,
Mulongoose ekkubo lya Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge;
5 Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,
na buli ekyakyama kirigololwa,
n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
6 (D)Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”
7 (E)Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 8 (F)Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. 9 (G)Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”
10 (H)Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”
11 (I)Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
12 (J)Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”
13 (K)Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”
14 (L)Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”
Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”
15 (M)Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 (N)Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 (O)n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18 Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.
19 (P)Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze, 20 (Q)ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera.
Okubatizibwa kwa Yesu
21 (R)Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka, 22 (S)Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
Olulyo lwa Yesu
23 (T)Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu:
ne Yusufu nga mwana wa Eri, 24 Eri nga mwana wa Mattati,
ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki,
ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu,
25 ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi,
ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli,
ne Esuli nga mwana wa Naggayi, 26 ne Naggayi nga mwana wa Maasi,
ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini,
ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda,
27 (U)ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa,
ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri,
ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri, 28 ne Neeri nga mwana wa Mereki,
ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu,
ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri,
29 ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza,
ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati,
ne Mattati nga mwana wa Leevi,
30 ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda,
ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu,
ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu,
31 (V)ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna,
ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani,
ne Nasani nga mwana wa Dawudi, 32 ne Dawudi nga mwana wa Yese,
ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi,
ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni,
33 (W)ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni,
ne Aluni nga mwana wa Kezulooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi,
ne Pereezi nga mwana wa Yuda, 34 (X)ne Yuda nga mwana wa Yakobo,
ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu,
ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli,
35 ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu,
ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi,
ne Eberi nga mwana wa Seera, 36 (Y)ne Sera nga mwana wa Kayinaani,
ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu,
ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka,
37 ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki,
ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri,
ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani, 38 (Z)ne Kayinaani nga mwana wa Enosi,
ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu,
ne Adamu nga mwana wa Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.