Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 17

Okufuusibwa kwa Yesu

17 Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu. N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana. Laba Musa ne Eriya ne balabika, ne boogera ne Yesu.

Peetero n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bw’oba ng’osiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa n’endala ya Eriya.”

(A)Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”

Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo. (B)Yesu n’ajja gye bali n’abakwatako n’abagamba nti, “Mugolokoke temutya.” Bwe babbulula amaaso, baalabawo Yesu yekka!

(C)Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, “Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu.”

10 Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Kale lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti, Eriya kimugwanira okumala okujja?”

11 (D)Yesu n’abaddamu nti, “Weewaawo, Eriya alijja n’azzaawo ebintu byonna. 12 (E)Naye mbagamba nti, Eriya yajja dda, naye tebaamutegeera, era naye ne bamukola buli kye baayagala. Bw’atyo n’Omwana w’Omuntu anaatera okubonyaabonyezebwa.” 13 Awo abayigirizwa be ne bategeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.

Omusimbu Awonyezebwa

14 Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja n’ajja gy’ali n’afukamira we yali, n’amugamba nti, 15 (F)“Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi. 16 Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.”

17 Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.” 18 Yesu n’aboggolera dayimooni, n’ava ku mulenzi, omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.

19 Awo oluvannyuma abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama ne bamubuuza nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kugoba dayimooni oyo?”

20 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa. 21 Naye kyokka dayimooni ow’engeri eno tagobeka awatali kusaba na kusiiba.”

22 (H)Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu anaatera okuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu 23 (I)abalimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa be ne banakuwala nnyo.

Omusolo gwa Yeekaalu

24 (J)Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?”

25 (K)Peetero n’abaddamu nti, “Awa!”

Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?”

26 Peetero n’addamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.”

Yesu n’amugamba nti, “Kale bannansi bo ba ddembe.” 27 (L)“Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri,[a] ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo.”

Makko 9

Okufuusibwa kwa Yesu

(A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi.”

(B)Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana n’abakulembera ne bagenda ku ntikko y’olusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago n’afuusibwa nga balaba, (C)ebyambalo bye ne byeruka nnyo, nga tewali muntu ku nsi asobola kubyoza kubituusa awo! Awo Eriya ne Musa ne babalabikira ne batandika okwogera ne Yesu!

(D)Peetero n’agamba Yesu nti, “Labbi, kirungi tubeere wano, tubazimbire ensiisira ssatu, emu nga yiyo, n’endala nga ya Musa, n’endala nga ya Eriya.” Yayogera atyo olw’okutya okungi okwabajjira.

(E)Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”

Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tewali muntu mulala okuggyako Yesu eyaliwo yekka nabo.

(F)Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira ekyo kye balabye obutakyogerangako okutuusa ng’Omwana w’Omuntu amaze okuzuukira mu bafu. 10 Bwe batyo nabo ne bakikuuma nga kya kyama, naye ne beebuuzaganya ku by’okufa n’okuzuukira kwe.

11 Awo ne bamubuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Eriya asaanira asooke okujja.”

12 (G)Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa? 13 (H)Naye mbagamba nti, Ddala ddala Eriya yajja! Naye yayisibwa bubi nnyo, nga bwe baayagala, nga bwe kyawandiikibwa ku ye.”

Yesu Awonya Omulenzi Eyaliko Dayimooni

14 Yesu n’abayigirizwa bali abasatu bwe bakka eri bannaabwe okuva ku lusozi, ne basanga ekibiina kinene nga kyetoolodde bannaabwe, abannyonnyozi b’amateeka nga bawakana nabo. 15 Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne badduka ne bagenda gy’ali ne bamwaniriza.

16 Yesu n’ababuuza nti, “Kiki kye muwakana nabo?” 17 Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. 18 Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.”

19 Yesu n’agamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.”

20 (I)Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.

21 Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe n’addamu nti, “Okuviira ddala mu buto. 22 Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire.”

23 (J)Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”

24 Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”

25 (K)Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.”

26 Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde. 27 Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.

28 (L)Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?”

29 N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”[a]

30 Bwe baava mu bitundu ebyo ne bayita mu Ggaliraaya. Yesu yali tayagala muntu yenna kumanya. 31 (M)Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.” 32 (N)Wabula tebaategeera bye yayogera ate ne batya okumubuuza.

33 (O)Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe baali mu nnyumba, n’ababuuza nti, “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?” 34 (P)Naye ne basirika kubanga mu kkubo baawakanira asinga ekitiibwa mu bo!

35 (Q)Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.” 36 (R)N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti, 37 (S)“Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma.”

38 (T)Yokaana n’amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo, ne tumuziyiza kubanga tayita naffe.”

39 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga, kubanga tewali muntu n’omu akola ebikolwa eby’amaanyi mu linnya lyange ate amangwago n’anjogerako bibi. 40 (U)Kubanga buli atatuvuganya aba akolera wamu naffe. 41 (V)Buli abawa eggiraasi y’amazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera.”

Okwesittaza Abato

42 (W)“Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja ery’olubengo olunene, n’asuulibwa mu nnyanja. 43 (X)Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde okusinga okuba n’emikono ebiri n’olaga mu ggeyeena, 44 mu muliro ogutazikira. 45 (Y)Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema n’oyingira mu bulamu kisinga okuba n’ebigere ebibiri n’osuulibwa mu ggeyeena 46 envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. 47 (Z)Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi, 48 (AA)n’osuulibwa mu ggeyeena,

“envunyu gye zitafa
    n’omuliro gye gutazikira.

49 (AB)Buli muntu aliyisibwa mu muliro, ng’emmere bwerungibwamu omunnyo.”

50 (AC)“Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne.”

Lukka 9:28-62

Okufuusibwa

28 (A)Awo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba. 29 Bwe yali ng’asaba endabika y’amaaso ge n’ekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana. 30 Awo abantu babiri ne balabika nga banyumya ne Yesu, omu yali Musa n’omulala Eriya, 31 (B)abaali bamasamasa mu kitiibwa kyabwe nga boogera ku kufa kwa Yesu, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi. 32 (C)Peetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu n’abantu ababiri abaali bayimiridde naye. 33 (D)Awo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, n’agamba nti, “Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa n’endala ya Eriya!”

34 Naye yali akyayogera ebyo ekire ne kibabikka, abayigirizwa ne bajjula okutya nga kibasaanikidde. 35 (E)Eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange, gwe nneeroboza, mumuwulirize!” 36 (F)Eddoboozi bwe lyasiriikirira, Yesu n’asigalawo yekka. Abayigirizwa abo bye baalaba ne bye baawulira ne babikuuma mu mitima gyabwe, ne batabibuulirako muntu yenna mu kiseera ekyo.

Yesu Awonya Omwana Eyaliko Dayimooni

37 Awo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu. 38 Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. 39 Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. 40 Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.”

41 (G)Awo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”

42 Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe. 43 Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti, 44 (H)“Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana w’Omuntu, agenda kuliibwamu olukwe.” 45 (I)Naye abayigirizwa tebaategeera ky’agambye n’amakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza.

46 (J)Awo empaka ne zisituka mu bayigirizwa ba Yesu, nga bawakanira aliba omukulu mu bo. 47 (K)Naye Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’addira omwana omuto n’amuyimiriza w’ali. 48 (L)N’abagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ng’asembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.”

49 (M)Awo Yokaana n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumuziyiza kubanga tayita naffe.”

50 (N)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga kubanga oyo atalwana nammwe abeera ku ludda lwammwe.”

51 (O)Awo ekiseera eky’okulinnya kwe mu ggulu bwe kyali kisembedde, n’amalirira okugenda e Yerusaalemi. 52 (P)N’atuma ababaka mu maaso ne balaga mu kibuga ky’Abasamaliya okumutegekera. 53 Naye abantu b’eyo ne batamwaniriza, kubanga yali amaliridde okulaga mu Yerusaalemi. 54 (Q)Abayigirizwa Yakobo ne Yokaana bwe baakiraba ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tuyite omuliro okuva mu ggulu gubazikirize?” 55 Naye Yesu n’akyuka n’abanenya. 56 Ne bagenda mu kabuga akalala.

57 (R)Awo bwe baali bali mu kkubo omu ku bo n’amugamba nti, “Nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga.”

58 (S)Yesu n’amugamba nti, “Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, n’ennyonyi zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu, talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”

59 (T)N’agamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.”

Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.”

60 (U)Yesu n’amugamba nti, “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.”

61 (V)N’omulala n’agamba Yesu nti, “Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula ab’omu maka gange.”

62 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.