Bible in 90 Days
14 (A)Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,
addemu alonde Isirayiri
abazze ku ttaka lyabwe.
Ne bannamawanga balibeegattako
era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
2 (B)N’amawanga mangi galibayamba
okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
bafuge abo abaabakijjanyanga.
3 (C)Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa, 4 (D)oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:
Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo!
Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
5 (E)Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi,
omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.
6 (F)Ogwakubanga olutata
amawanga n’obusungu,
ogwafugisanga amawanga ekiruyi,
ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.
7 (G)Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe,
era batandise okuyimba.
8 (H)Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni,
nagyo gikuyeeyeereza nti,
“Kasookanga ogwa
tebangayo ajja kututema.”
9 (I)Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo
okukusisinkana ng’ojja,
gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo,
bonna abaali abakulembeze b’ensi;
gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe,
bonna abaali bakabaka baamawanga.
10 (J)Abo bonna balyogera
ne bakugamba nti,
“Naawe oweddemu amaanyi nga ffe!
Naawe ofuuse nga ffe!”
11 (K)Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,
awamu n’amaloboozi g’ennanga zo;
bakwalidde envunyu,
n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko.
12 (L)Ng’ogudde okuva mu ggulu,
ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya!
Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka,
ggwe eyamegganga amawanga!
13 (M)Wayogera mu mutima gwo nti,
“Ndirinnya mu ggulu,
ndigulumiza entebe yange
okusinga emunyeenye za Katonda;
era nditeeka entebe yange waggulu ntuule
ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
14 (N)ndyambuka okusinga ebire we bikoma,
ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
15 (O)Naye ossibbwa wansi emagombe,
ku ntobo y’obunnya.
16 (P)Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga
bakwewuunye nga bagamba nti,
“Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi,
ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!
17 (Q)Eyafuula ensi okuba eddungu
n’asuula ebibuga byayo,
atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”
18 Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa,
buli omu mu ntaana ye,
19 (R)naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go
ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa,
ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala,
abakka eri amayinja g’obunnya;
ng’omulambo ogulinyiriddwa.
20 (S)Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa
kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo;
ezzadde ly’abo abaakola ebibi
teriryongerwako n’akatono.
21 (T)Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa
olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe,
baleme okugolokoka ne balya ensi,
ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.
22 (U)“Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye,
“ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo,
n’omwana n’omuzzukulu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
23 (V)“Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,
n’entobazzi
era mwere n’olweyo oluzikiriza,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli
24 (W)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,
“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo
era nga bwe nateesa,
bwe kirinywera bwe kityo.
25 (X)Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
era ndimulinnyirira ku nsozi zange.
Ekikoligo kye kiribavaako,
n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”
26 (Y)Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 (Z)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?
Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?
Obunnabbi Obukwata ku Bufirisuuti
28 (AA)Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.
29 (AB)Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,
kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,
ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,
n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
30 (AC)Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,
n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo
naye ekikolo kyo ndikittisa enjala
ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.
31 (AD)Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga,
osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna!
Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka,
eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
32 (AE)Kale kiki kye banaddamu
ababaka b’eggwanga eryo?
“Mukama yassaawo Sayuuni,
ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”
Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu
15 (AF)Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa
ne kimalibwawo.
Kiiri[a] ekya Mowaabu nakyo
ne kizikirizibwa mu kiro!
2 (AG)Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi
okukaabira mu ssabo lyabwe.
Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.
Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri
na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
3 (AH)Beesibye ebibukutu mu nguudo;
ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba.
Buli muntu atema emiranga
n’abikaabira amaziga amayitirivu.
4 (AI)Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.
Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.
5 (AJ)Omutima gwange gukaabira Mowaabu;
abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali
ne Yegulasuserisiya.
Bambuka e Lakisi
nga bwe bakaaba;
bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu
nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
6 (AK)Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,
omuddo guwotose,
omuddo omugonvu, guggwaawo,
tewali kintu kimera.
7 (AL)Abantu basomoka akagga ak’enzingu
nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
8 Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;
amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,
n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.
9 (AM)Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi,
naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni;
empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu,
ne ku abo abalisigalawo ku nsi.
16 (AN)“Muweereze abaana b’endiga
eri oyo afuga ensi,
okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu,
okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
2 (AO)Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu
n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri,
bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu
awasomokerwa Alunooni.[b]
3 (AP)“Tuwe ku magezi,
tubuulire, tukole tutya?
Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze
wakati mu ttuntu,
Abajja bagobebwa mubakweke,
abajja badaaga temubalyamu lukwe.
4 (AQ)Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.
Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.”
Omujoozi bw’aweddewo,
n’okubetentebwa ne kuggwaawo;
omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
5 (AR)Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,
era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi
alamula mu bwesigwa
era anoonya obwenkanya
era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.
6 (AS)Tuwulidde amalala ga Mowaabu,
nga bw’ajjudde okwemanya,
n’amalala ge n’okuvuma;
naye okwemanya kwe tekugasa.
7 (AT)Noolwekyo leka Mowaabu akaabe,
leka buli muntu akaabire ku Mowaabu.
Mukungubage,
musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
8 Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze,
n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo.
Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala
emiti gyabwe egyasinganga obulungi,
egyabunanga ne gituuka e Yazeri
nga giggukira mu ddungu
n’emitunsi nga gibuna
nga gituukira ddala mu nnyanja.
9 (AU)Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba
olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.
Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,
ggwe Kesuboni ne Ereyale:
kubanga essanyu ery’ebibala byo
n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 (AV)Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;
ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;
mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;
okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 (AW)Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
12 (AX)Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu,
alyekooya yekka;
bw’aligenda okusamira,
tekirimuyamba.
13 Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda. 14 (AY)Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”
Obubaka Obukwata ku Ddamasiko
17 (AZ)“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga,
kifuuse matongo.
2 (BA)Ebibuga bya Aloweri babidduseemu:
birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga
nga tewali azikanga.
3 (BB)Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu,
n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo;
naye abalisigalawo mu Busuuli,
baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
4 (BC)“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera;
era akoggere ddala.
5 (BD)Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano,
n’omukono gwe ne gukungula empeke;
weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano
mu Kiwonvu kya Lefayimu.
6 (BE)Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa
ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa,
ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo,
bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,”
bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.
7 (BF)Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe,
n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.
8 (BG)So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe,
emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera,
oba empagi za katonda wa Baasera
oba ebyoto kwe bootereza obubaane.
9 Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.
10 (BH)Weerabidde Katonda Omulokozi wo,
so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go;
kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa
n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.
11 (BI)Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye,
era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa,
tolibaako ky’okungula
wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.
12 (BJ)Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi,
bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse!
Okuwuluguma kw’abantu,
bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 (BK)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
14 (BL)Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi.
Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali.
Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga,
era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.
Obunnabbi Obukwata ku Kuusi
18 (BM)Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya,
eri emitala w’emigga gya Kuusi,[c]
2 (BN)etuma ababaka ne bagendera mu maato
ag’ebitoogo ku nnyanja.
Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi,
eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa,
ensi eyawulwamu emigga.
3 (BO)Mmwe mwenna abantu abali mu nsi,
mmwe ababeera ku nsi,
bendera lweriwanikibwa ku nsozi,
muligiraba,
era ekkondeere bwe lirifuuyibwa,
muliriwulira.
4 (BP)Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti,
“Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange,
ng’olubugumu olutemagana mu musana,
ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
5 (BQ)Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka,
okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde,
aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo,
n’amatabi agalanda aligasalira.
6 (BR)Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu
n’ensolo ez’ensi.
Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya,
n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.
7 (BS)Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo,
ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi,
ensi ey’eryanyi,
eyawulwamu emigga,
ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.
Obunnabbi Obukwata ku Misiri
19 (BT)Obunnabbi obukwata ku Misiri:
Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
ajja mu Misiri.
Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,
n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.
2 (BU)Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,
balwane buli muntu ne muganda we,
na buli muntu ne muliraanwa we;
ekibuga n’ekibuga,
obwakabaka n’obwakabaka.
3 (BV)Abamisiri baliggwaamu omwoyo
era entegeka zaabwe zonna ndizitta;
era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,
n’abaliko emizimu n’abalogo.
4 (BW)Era ndigabula Abamisiri
mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,[d]
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
5 (BX)Omugga gulikalira
n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
6 (BY)N’emikutu giriwunya ekivundu,
n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;
ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
7 (BZ)Ebimera ebiri ku Kiyira,
ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,
ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,
birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
8 (CA)Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga,
n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira
balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
9 (CB)Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,
n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
10 Abakozi balikwatibwa ennaku,
bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
11 (CC)Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
“Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 (CD)Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 (CE)Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,
abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
bakyamizza Misiri.
14 (CF)Mukama abataddemu
omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 (CG)Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
16 (CH)Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 (CI)N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.
18 (CJ)Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 19 (CK)Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 (CL)Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 (CM)Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 22 (CN)Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.
23 (CO)Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 (CP)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”
Obunnabbi Obukwata ku Misiri ne Kuusi
20 (CQ)Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba; 2 (CR)mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.
3 (CS)Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; 4 (CT)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. 5 (CU)Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. 6 (CV)Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”
Obunnabbi Obukwata ku Babulooni
21 (CW)Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja:
Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,
bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu
eririraanye ensi etiisa.
2 (CX)Nfunye okwolesebwa okw’entiisa:
alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.
Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!
Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.
3 (CY)Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa,
n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;
nnyiize olw’ebyo bye mpulira,
bye ndaba bimazeemu amaanyi.
4 Omutima gwange gutya,
Entiisa endetera okukankana;
Akasendabazaana ke nnali njayaanira,
kanfukidde ekikankano.
5 (CZ)Bateekateeka olujjuliro,
bayalirira ebiwempe,
ne balya, ne banywa!
Mugolokoke mmwe abakulembeze,
musiige engabo amafuta.
6 Kino Mukama ky’aŋŋamba nti,
“Genda ofune omukuumi
akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.
7 (DA)Bw’alaba amagaali
n’ebibinja by’embalaasi,
n’abeebagazi ku ndogoyi
oba abeebagazi ku ŋŋamira
yeekuume,
era yeegendereze.”
8 (DB)Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,
“Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,
buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
9 (DC)Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,
ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.
Era ayanukula bw’ati nti,
‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.
Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna
bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”
10 (DD)Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,
mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.
Obunnabbi obukwata ku Edomu
11 (DE)Obunnabbi obukwata ku Duuma:
Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti,
“Omukuumi, bunaakya ddi?
Omukuumi, bunaakya ddi?”
12 Omukuumi ayanukula bw’ati nti,
“Bulikya, era buliziba.
Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze
okomewo nate.”
Obunnabbi obukwata ku Buwalabu
13 (DF)Obunnabbi obukwata ku Buwalabu:
Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja,
abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,
14 (DG)muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.
15 (DH)Badduka ekitala,
badduka ekitala ekisowole,
badduka omutego ogunaanuddwa,
badduka n’akabi k’entalo.
16 (DI)Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. 17 (DJ)Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.
Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi
22 (DK)Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:
Kiki ekikutawanya kaakano,
n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,
2 (DL)ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,
ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu?
Abantu bo abattibwa,
tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
3 Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;
bawambiddwa awatali kulwana.
Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,
kubanga badduka.
4 (DM)Kyenava njogera nti, “Munveeko,
mundeke nkaabire ddala nnyo.
Temugezaako kunsaasira
olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”
5 (DN)Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku
olw’akatabanguko,
olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa;
olunaku olw’okumenya bbugwe,
n’okukaabirira ensozi.
6 (DO)Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
Kiri[e] asabuukulula engabo.
7 (DP)Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,
n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.
8 (DQ)Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.
Ku lunaku olwo watunuulira
ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
9 (DR)Walaba amabanga agaali mu kwerinda
kw’Ekibuga kya Dawudi,
wakuŋŋaanya amazzi
mu Kidiba eky’Emmanga.
10 Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi
n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 (DS)Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,
n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,
naye tewatunuulira Oyo eyakisima,
wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.
12 (DT)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
n’okwambala ebibukutu.
13 (DU)Naye laba, ssanyu na kujaguza,
okubaaga ente n’okutta endiga,
okulya ennyama n’okunywa envinnyo.
Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe
kubanga enkya tunaafa.”
14 (DV)Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
15 (DW)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Genda eri omuwanika oyo,
eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
16 (DX)Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa
okwetemera entaana wano,
n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi,
ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?
17 “Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,
akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
18 (DY)Alikuzingazingako,
n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa.
Eyo gy’olifiira,
era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala,
ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.
19 Ndikuggya ku ntebe yo,
era oliggyibwa mu kifo kyo.
20 (DZ)“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya. 21 Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda. 22 (EA)Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo. 23 (EB)Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 24 Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”
25 (EC)Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.
Obunnabbi Obukwata ku Tuulo
23 (ED)Obunnabbi obukwata ku Tuulo:
Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi,
kubanga Tuulo kizikirizibbwa
ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera.
Ekigambo kyababikulirwa
okuva mu nsi ya Kittimu.
2 Musirike mmwe ab’oku kizinga
nammwe abasuubuzi b’e Sidoni
abagaggawalidde ku nnyanja.
3 (EE)Ku nnyanja ennene
kwajjirako ensigo za Sikoli,
n’ebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo,
era yafuuka akatale k’amawanga.
4 (EF)Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja,
kubanga ennyanja eyogedde nti:
“Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako.
Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”
5 Ekigambo bwe kirijja eri Misiri,
balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo.
6 Muwunguke mugende e Talusiisi,
mukube ebiwoobe mmwe abantu ab’oku kizinga.
7 (EG)Kino kye kibuga kyammwe eky’amasanyu,
ekibuga ekikadde,
ekyagenda okusenga
mu nsi eyeewala?
8 Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo,
Tuulo ekitikkira engule,
ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira,
ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?
9 (EH)Mukama Katonda ow’Eggye yakiteekateeka,
amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna,
akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi.
10 Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira,
tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.
11 (EI)Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja,
n’akankanya obwakabaka bwayo.
Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani
nti ebigo byakyo birizikirizibwa.
12 (EJ)Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate,
ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa.
Yambuka osomoke ogende e Kittimu,
naye nayo tolifunirayo kuwummula.”
13 (EK)Laba ensi ey’Abakaludaaya
abantu abo abatakyaliwo.
Omwasuli agifudde
ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu.
Baayimusa eminaala gyabwe,
ne bamenya ebigo byabwe,
era n’abazikiriza.
14 Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi,
ekigo kyo kizikiriziddwa.
15 (EL)Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi.
16 “Kwata ennanga, otambulire mu kibuga,
ggwe omwenzi eyeerabiddwa.
Ennanga gikube bulungi,
oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.”
17 (EM)Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi. 18 (EN)Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.
Mukama Ayogera ku Kuzikiriza Ensi
24 (EO)Laba Mukama alifuula ensi amatongo,
agimalirewo ddala,
era azikirize n’obwenyi bwayo
era asaasaanye n’abagibeeramu.
2 (EP)Bwe kityo bwe kiriba,
ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,
ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,
ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,
ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,
ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,
ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
3 (EQ)Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa,
n’okunyagibwa, erinyagibwa.
Mukama Katonda y’akyogedde.
4 (ER)Ensi ekala n’eggwaamu obulamu,
ensi ekala n’ewuubaala,
abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
5 (ES)Ensi eyonooneddwa abantu baayo,
bajeemedde amateeka,
bamenye ebiragiro,
ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
6 (ET)Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi;
n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga.
Abatuuze b’ensi bayidde,
Era abatono be basigaddewo.
7 (EU)Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala,
ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
8 (EV)Okujaguza kw’ebitaasa kusirise,
n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,
entongooli esanyusa esirise.
9 (EW)Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba,
n’omwenge gukaayira abagunywa.
10 Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo,
na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
11 (EX)Bakaabira envinnyo mu nguudo,
n’essanyu lyonna liweddewo,
n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
12 Ekibuga kizikiridde
wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
13 (EY)Bwe kityo bwe kiriba ku nsi
ne mu mawanga
ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa
oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.
14 (EZ)Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu,
batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
15 (FA)Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama,
mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri,
mu bizinga eby’ennyanja.
16 (FB)Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi,
“Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.”
Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo.
Zinsaze.
Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe,
Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
17 (FC)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
mmwe abantu b’ensi.
18 (FD)Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
alikwatibwa mu mutego.
Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
N’emisingi gy’ensi gikankana.
19 (FE)Ensi emenyeddwamenyeddwa,
ensi eyawuliddwamu,
ensi ekankanira ddala.
20 (FF)Ensi etagala ng’omutamiivu,
eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga,
omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe,
era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.
21 (FG)Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza
ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula,
ne bakabaka abali wansi ku nsi.
22 (FH)Balikuŋŋaanyirizibwa wamu
ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera,
era baliweebwa ekibonerezo
eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
23 (FI)Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;
Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa
ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,
ne mu maaso g’abakadde.
25 (FJ)Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
ebintu bye wateekateeka edda,
mu bwesigwa bwo.
2 (FK)Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
tekirizimbibwa nate.
3 (FL)Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa
n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
4 (FM)Ddala obadde kiddukiro eri abaavu,
ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,
ekiddukiro ng’eriyo embuyaga
n’ekisiikirize awali ebbugumu.
Omukka gw’ab’entiisa
guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
5 (FN)era ng’ebbugumu ery’omu ddungu.
Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga,
era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu,
n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
6 (FO)Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako
abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,
n’embaga eya wayini omuka
n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
7 (FP)Ku lusozi luno alizikiriza
ekibikka ekyetoolodde abantu bonna,
n’eggigi eribikka amawanga gonna,
8 (FQ)era alimalirawo ddala okufa.
Mukama Katonda alisangula amaziga
mu maaso gonna,
era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be
mu nsi yonna.
Mukama ayogedde.
9 (FR)Mu biro ebyo balyogera nti,
“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
10 (FS)Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno,
naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we,
ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
11 (FT)Aligolola emikono gye,
ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga.
Katonda alikkakkanya amalala ge
newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
12 (FU)Alimenya bbugwe omuwanvu,
n’amusuula,
alimusuula ku ttaka,
mu nfuufu.
Oluyimba olw’Okutendereza
26 (FV)Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda.
Tulina ekibuga eky’amaanyi;
Katonda assaawo obulokozi
okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.
2 (FW)Ggulawo wankaaki,
eggwanga ettukuvu liyingire,
eggwanga erikuuma okukkiriza.
3 Mukama alikuuma mirembe
oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
4 (FX)Weesigenga Mukama ennaku zonna,
kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.
5 (FY)Mukama lwe lwazi olutaggwaawo,
akkakkanya ekibuga eky’amalala,
akissa wansi ku ttaka,
n’akisuula mu nfuufu.
6 (FZ)Kirinnyirirwa
ebigere by’abanyigirizibwa,
n’ebisinde by’abaavu.
7 (GA)Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu;
Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.
8 (GB)Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira
nga tutambulira mu mateeka go,
era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo
kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.
9 (GC)Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro,
omwoyo gwange gukunoonyeza ddala.
Bw’osalira ensi omusango,
abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.
10 (GD)Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa,
tayiga butuukirivu.
Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde,
yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.
11 (GE)Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu,
naye tebagulaba.
Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe,
omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.
12 Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe,
n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.
13 (GF)Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.
14 (GG)Baafa, tebakyali balamu;
egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka.
Wababonereza n’obazikiriza,
wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.
15 (GH)Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda
ogaziyizza eggwanga.
Weefunidde ekitiibwa,
era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.
16 (GI)Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe,
bwe wabakangavvula,
tebaasobola na kukusaba mu kaama.
17 (GJ)Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala,
bw’alumwa n’akaaba mu bulumi,
bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.
18 (GK)Twali lubuto, twalumwa,
naye twazaala mpewo
Tetwaleeta bulokozi ku nsi,
tetwazaala bantu ba nsi.
19 (GL)Naye abafiira mu ggwe balirama,
emibiri gyabwe girizuukira.
Mugolokoke,
muleekaane olw’essanyu.
Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya,
ensi erizaala abafudde.
20 (GM)Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe
muggalewo enzigi zammwe.
Mwekweke okumala akabanga katono,
okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.
21 (GN)Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera
okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe.
Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako,
era teriddayo nate kukweka abattibwa.
Okununulibwa kwa Isirayiri
27 (GO)Mu biro ebyo,
Mukama Katonda alibonereza n’ekitala kye,
ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene,
alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula,
Lukwata omusota ogwezinga,
atte n’ogusota gw’ennyanja.
2 (GP)Mu biro ebyo
“Yimba oluyimba ku bibala eby’ennimiro ey’emizabbibu ebaze ebibala.
3 (GQ)Nze Mukama Katonda, ennimiro nze ngirabirira
era nze ngifukirira buli kiseera.
Ngikuuma emisana n’ekiro
Waleme kubaawo n’omu agikola akabi.
4 (GR)Siri munyiivu.
Singa katazamiti n’amaggwa binnumba,
nandibitabadde mu lutalo?
Byonna nandibyokezza omuliro.
5 (GS)Oba si weewaawo ajje gye ndi afune obuddukiro, tutabagane,
weewaawo tutabagane.”
6 (GT)Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira,
Isirayiri aliroka n’amulisa
n’ajjuza ensi yonna ebibala.
7 (GU)Mukama amukubye omuggo
ng’akuba abo abaamukuba?
Attiddwa
nga be yatta, bwe battibwa?
8 (GV)Olwanagana naye n’omusobola,
n’omuwaŋŋangusa, omugoba n’okuwuuma okw’amaanyi,
ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’efuuwa ku lunaku lwayo.
9 (GW)Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo,
era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye.
Bw’aliddira amayinja gonna ag’ekyoto okuba amayinja ag’ennoni
agayasiddwayasiddwa,
tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto eby’okwoterezaako obubaane
ebirisigala biyimiridde.
10 (GX)Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo,
ekirekeddwa awo ng’eddungu.
Eyo ennyana gy’eriira era gy’egalamira,
n’erya amalagala gonna ku matabi gaago.
11 (GY)Amatabi gaakyo bwe gakala,
gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro.
Bano bantu abatategeera,
eyamukola tamusaasira,
n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.
12 (GZ)Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu. 13 (HA)Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, n’abo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi y’e Bwasuli, n’abo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.
Zikusanze Efulayimu
28 (HB)Zikusanze engule ey’amalala g’abatamiivu aba Efulayimu,
zikusanze ekimuli ekiwotoka[f] eky’obulungi bw’ekitiibwa kye,
ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu,
Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu.
2 (HC)Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala,
ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza,
ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba,
bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.
3 (HD)Engule ey’amalala ey’abatamiivu ba Efulayimu
aligibetenta n’ebigere bye.
4 (HE)Ekimuli ekyo ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye
ekiri waggulu w’ekiwonvu ekigimu,
kiriba ng’ettiini erisooka okwengera nga n’amakungula tegannatuuka,
era omuntu bw’aliraba alinoga n’alirya.
5 (HF)Mu biro ebyo Mukama Katonda ow’Eggye
aliba ngule ya kitiibwa,
engule ennungi
ey’abantu be abaasigalawo.
6 (HG)Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya
oyo atuula n’asala emisango,
Aliba nsibuko ya maanyi
eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.
7 (HH)Ne bano nabo batagala olw’omwenge,
era bawabye olw’ekitamiiza;
Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza,
era bawabye olw’omwenge;
bawabye olw’ekitamiiza,
batagala ne bava mu kwolesebwa,
era tebasalawo nsonga.
8 (HI)Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye,
tewakyali kifo kiyonjo.
9 (HJ)“Ani gw’agezaako okuyigiriza?
Ani gw’annyonnyola obubaka bwe?
Abaana abaakalekayo okuyonka
oba abo abaakaggibwa ku mabeere?
10 Kubanga kola okole, kola okole
Ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,
Wano katono na wali katono.”
11 (HK)Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo
n’emimwa emigenyi mu lulimi olugwira,
12 (HL)abo be yagamba nti,
Kino kye kifo eky’okuwummuliramu eri oyo akooye,
era kye kifo eky’okuwerera
naye ne bagaana okuwuliriza.
13 (HM)Noolwekyo ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali
kola okole, kola okole,
ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,
wano katono na wali katono,
balyoke bagende bagwe kya bugazi,
era balitegebwa, era ne batuukako ebisago ne bawambibwa.
14 (HN)Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abantu abanyoomi,
mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma.
15 (HO)Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.”
16 (HP)Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja,
ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda,
ery’omuwendo, okuba omusingi;
oyo alyesiga taliterebuka.
17 (HQ)Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima,
n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza,
era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba,
n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.
18 (HR)N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka,
n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera.
Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja,
kiribagwira.
19 (HS)Weewaawo buli lwe kinaayitanga,
kinaabagwiranga
buli lukya emisana n’ekiro.”
Era okutegeera obubaka buno
kirireeta ntiisa njereere.
20 (HT)Weewaawo ekitanda kimpi okwegololerako,
ne bulangiti nnyimpi okwebikka.
21 (HU)Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu,
era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni,
alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa,
atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.
22 (HV)Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera.
Nawulira okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye
ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.
23 Muwulirize, era muwulire eddoboozi lyange;
Musseeyo omwoyo, muwulire kye ŋŋamba.
24 Omulimi bw’alima nga yeetegekera okusimba, alima lutata?
Alima bw’ayimirira n’atema amavuunike mu ttaka?
25 (HW)Bw’amala okulyanjaala, tasigamu mpinnamuti, n’asaasaanya kumino?
Tasiga ŋŋaano mu kifo kyayo,
ne sayiri mu kibanja kyayo,
n’omukyere mu nnimiro yaagwo?
26 Katonda we amuwa ebiragiro,
n’amuyigiriza ekkubo etuufu.
27 Empinnamuti teziwuulibwa na luso,
newaakubadde okunyiga kumino ne nnamuziga w’eggaali.
Empinnamuti zikubibwa na muggo
ne kumino n’ekubibwa n’oluga.
28 Empeke eteekwa okuseebwa okuvaamu omugaati,
So n’omuntu tagiwuula butamala.
Newaakubadde ng’agitambulizaako nnamuziga w’eggaali lye eriwuula,
Embalaasi ze si zeezigisa.
29 (HX)Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda ow’Eggye,
ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo,
asinga amagezi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.