Bible in 90 Days
Isirayiri edda obuggya
11 (A)“Mu biro ebyo ndizzaawo
ennyumba ya Dawudi eyagwa
era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa,
ne nzizaawo ebyali amatongo,
ne biba nga bwe byabeeranga,
12 (B)balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo
n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,”
bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.
13 (C)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“akungula lw’alisinga asiga,
n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu.
Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi,
n’akulukuta okuva mu busozi.
14 (D)Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,
ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.
Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,
era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 (E)Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
era tebaliggibwa nate
mu nsi gye nabawa,”
bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.
1 (F)Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya.
Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu.
Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda,
Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti,
“Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”
2 “Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
era olinyoomererwa ddala.
3 (G)Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe,
mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi,
era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi.
Mmwe aboogera nti,
‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
4 (H)Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu
era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye,
ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
bw’ayogera Mukama.
5 (I)“Singa ababbi babajjira,
n’abanyazi ne babalumba ekiro,
akabi nga kaba kabatuuseeko.
Tebandibabbyeko byonna bye baagala?
Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde,
tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?
6 Esawu alinyagulurwa,
eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa.
7 (J)Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo,
Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula;
abo abalya emmere yo balikutega omutego,
balikutega omutego kyokka toliguvumbula.
8 (K)“Ku lunaku olwo,
sirizikiriza bagezi b’e Edomu,
abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.
9 (L)“Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya,
era na buli muntu mu nsozi za Esawu
alittibwa.
10 (M)Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo,
oliswazibwa.
Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.
11 (N)Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo,
nga banyaga obugagga bwa Isirayiri,
ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye,
ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi,
wali omu ku bo.
12 (O)Tosaanye kusekerera muganda wo
mu biseera bye eby’okulaba ennaku,
wadde okusanyuka ku lunaku
olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,
newaakubadde okwewaana ennyo
ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.
13 (P)Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange
ku lunaku kwe baalabira obuyinike,
wadde okubasekerera
ku lunaku kwe baabonaabonera,
newaakubadde okutwala obugagga bwabwe
ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.
14 Temulindira mu masaŋŋanzira
okutta abo abadduka,
wadde okuwaayo abawonyeewo
mu biro eby’okulabiramu ennaku.
15 (Q)“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira
amawanga gonna omusango.
Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa.
Ebikolwa byammwe biribaddira.
16 (R)Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu
n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma;
balikinywa,
babe ng’abataganywangako.
17 (S)Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona,
kubanga lutukuvu,
n’ennyumba ya Yakobo
eritwala omugabo gwabwe.
18 (T)Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro,
n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro.
Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku,
era baligyokya n’eggwaawo.
Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu
n’omu alisigalawo,
kubanga Mukama akyogedde.
19 (U)“Abantu b’e Negebu balitwala
olusozi Esawu,
n’abantu ab’omu biwonvu balitwala
ensi y’Abafirisuuti.
Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya,
ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.
20 (V)Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani,
balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi;
abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi,
balyetwalira ebibuga mu Negebu.
21 (W)Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni,
okufuga ensozi za Esawu.
Obwakabaka buliba bwa Mukama.”
Yona Ajeemera Katonda
1 (X)Awo Mukama n’ayogera ne Yona omwana wa Amittayi ng’agamba 2 (Y)nti, “Situka ogende e Nineeve mu kibuga ekyo ekinene obatuuseeko obubaka buno obubanenya, kubanga ebibi byabwe birinnye eno waggulu ne bintukako.”
3 (Z)Naye Yona n’adduka okuva mu maaso ga Mukama, n’aserengeta okulaga e Talusiisi. N’aserengeta e Yopa gye yasanga ekyombo, n’akirinnya okugenda e Talusiisi. Ng’amaze okusasulira etikiti ye, n’asaabala mu kyombo ekiraga e Talusiisi ng’adduka okuva mu maaso ga Mukama.
4 (AA)Awo Mukama n’aleeta omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’ekyombo Yona mwe yali ne kyagala okusaanawo. 5 (AB)Entiisa ey’amaanyi n’ekwata abalunnyanja bonna, buli omu n’akaabirira katonda we amuyambe, nga bwe basuula n’emigugu egy’ebyamaguzi mu nnyanja bakendeeze ku buzito obwali mu kyombo.
Mu kiseera ekyo, Yona yali mu tulo wansi mu ntobo y’ekyombo. 6 (AC)Naye omugoba omukulu ow’ekyombo n’aserengeta gye yali n’amugamba nti, “Oyinza otya okuba nga weebase? Situka okaabirire katonda wo, oboolyawo anaatukwatirwa ekisa n’atulokola.”
7 (AD)Awo abalunnyanja ne boogeraganya nti, “Mujje tukube obululu, tuvumbule omuntu yennyini avuddeko omutawaana guno.” Ne bakuba obululu, akalulu ne kagwa ku Yona.
8 Abalunnyanja ne babuuza Yona nti, “Tubuulire, lwaki otuleetedde akabi akafaanana bwe kati, kiki ky’okoze? Okola mulimu ki? Ova wa era oli wa nsi ki, n’abantu bo be b’ani?”
9 (AE)Yona n’agamba nti, “Ndi Mwebbulaniya; era nsinza Mukama, Katonda w’eggulu eyakola eggulu n’ensi.”
10 Awo ne batya nnyo ne babuuza nti, “Kiki kino ky’otukoze?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka mu maaso ga Katonda nga bwe yali amaze okubategeeza.
11 Awo ne bamugamba nti, “Tukukole tutya ennyanja erongooke?” Kubanga ennyanja yali yeeyongera bweyongezi okufuukuuka.
12 (AF)N’abagamba nti, “Munsitule munsuule mu nnyanja ennyanja eneeteeka, kubanga esiikuuse ku lwange.”
13 (AG)Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale, kyokka ne batayinza, kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi. 14 (AH)Kyebaava bakaabirira Mukama ng’abagamba nti, “Tukwegayiridde Ayi Mukama, totuleka kufa olw’obulamu bw’omusajja ono, era totuteekako musango olw’omusaayi gwe n’okufa kwe, kubanga oleese omuyaga olw’esonga.” 15 (AI)Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja eyali eyira. Amangwago omuyaga ne gusirika. 16 (AJ)Abasajja ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ekiweebwayo gy’ali ne beeyama obweyamo.
17 (AK)Mukama yateekateeka ekyennyanja ekinene ennyo ne kimira Yona; Yona n’amala mu kyennyanja ekyo ennaku ssatu emisana n’ekiro.
Okusaba Kwa Yona
2 Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba 2 (AL)nti,
“Mu nnaku yange ennyingi
nakaabirira Mukama n’anziramu;
mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola,
era n’owulira eddoboozi lyange!
3 (AM)Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,
ne nzika, amayengo gonna,
ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta
ne bimbikka
ne binneetooloola.
4 (AN)Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa
mu maaso go;
Ddala ndiddayo nate
okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
5 (AO)Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;
Amazzi nga ganneetoolodde
era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
6 Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,
ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.
Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,
Ayi Mukama Katonda wange.
7 (AP)“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika
ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.
Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka
mu yeekaalu yo entukuvu.
8 (AQ)“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,
beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
9 (AR)Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,
ndikuwa ssaddaaka.
Ddala ndituukiriza obweyamo bwange
kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”
10 Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.
Yona Agondera Mukama
3 (AS)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti, 2 “Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.”
3 Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna. 4 Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.” 5 (AT)Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.
6 (AU)Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu. 7 (AV)Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti,
Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be:
“Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; 8 (AW)naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe. 9 (AX)Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”
10 (AY)Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.
Obusungu bwa Yona n’Ekisa Kya Katonda
4 (AZ)Naye Yona n’anyiiga nnyo. 2 (BA)N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano. 3 (BB)Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu.”
4 (BC)Awo Mukama n’agamba nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga?”
5 Awo Yona n’afuluma ebweru w’ekibuga n’abeera ku luuyi lwakyo olw’ebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, n’alinda alabe ekinatuuka ku kibuga. 6 Ebikoola by’akasiisira bwe by’awotoka olw’omusana, Mukama Katonda n’ategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo. 7 (BD)Naye ate enkeera Katonda n’aleeta ekiwuka, ne kirya ekiryo ne kikala ne kifa. 8 Ng’enjuba yeewanise, Katonda n’alyoka alagira embuyaga ey’Ebuvanjuba ey’olubugumu okufuuwa Yona, omusana ne gumwokya nnyo mu mutwe okutuusa lwe yazirika. N’ayagala afe. N’ayogera nti, “Okufa kusinga okuba omulamu.”
9 Mukama n’alyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga olw’ekiryo ekikaze ne kifa?”
Yona n’addamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo n’okwegomba okufa.”
10 Mukama n’amugamba nti, “Osaalirwa olw’ekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera. 11 (BE)Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”
1 (BF)Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.
2 (BG)Muwulire mmwe abantu mwenna,
muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu,
Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu,
ng’alina by’abalumiriza.
3 (BH)Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye
ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
4 (BI)N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye
era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka
ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro,
ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
5 (BJ)Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo,
olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.
Ekibi kya Yakobo kye kiruwa?
Si ye Samaliya?
Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda?
Si Yerusaalemi?
6 (BK)“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu,
kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu.
Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu
N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
7 (BL)Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa;
ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro;
ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera.
Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi,
bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”
Okukaaba n’Okukungubaga
8 (BM)Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe,
ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya.
Ndikaaba ng’ekibe,
ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
9 (BN)Ekiwundu kye tekiwonyezeka,
ne Yuda ky’alwadde.
Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange,
ne ku Yerusaalemi yennyini.
Omulabe Asemberera Yerusaalemi
10 Temukibuulira mu Gaasi,
temukaaba maziga n’akatono.
Mwevulungulire mu nfuufu
mu Besuleyafula.
11 (BO)Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde,
mmwe ababeera mu Safiri.
Ababeera mu Zanani
tebalifuluma.
Beswezeeri ekuba ebiwoobe,
kubanga tokyalinayo buddukiro.
12 (BP)Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi
nga balindirira okubeerwa,
kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama,
ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
13 (BQ)Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi
mmwe ababeera mu Lakisi.
Mmwe nsibuko y’ekibi
mu Bawala ba Sayuuni,
kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
14 (BR)Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi
ebirabo ebimusiibula.
Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba
eri bakabaka ba Isirayiri.
15 (BS)Mmwe abantu b’omu Malesa,
ndibasindikira alibawangula n’abafuga.
Oyo ekitiibwa kya Isirayiri
alijja mu Adulamu.
16 (BT)Mukungubage, n’emitwe mugimwe
olw’abaana bammwe be mwesiimisa;
mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega,
kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.
2 (BU)Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu
era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe;
Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe,
kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
2 (BV)Beegomba ebyalo ne babitwala,
ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala.
Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi,
ne bamubbako ebyobusika bwe.
3 (BW)Mukama kyava agamba nti,
“Laba, ndireeta akabi ku bantu abo,
ke mutagenda kweggyamu.
Temuliddayo kubeera n’amalala nate
kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
4 (BX)Olwo abantu balikusekerera;
Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti:
‘Tugwereddewo ddala;
ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu.
Mukama anziggirako ddala ettaka lyange,
n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”
5 (BY)Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama,
aligabanyaamu ettaka ku bululu.
6 (BZ)Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi,
Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo;
tewali kabi kagenda kututuukako.”
7 (CA)Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo?
Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo?
Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
8 Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko
ng’omulabe.
Basika ne bambula eminagiro emirungi
ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe,
ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
9 (CB)Bakazi b’abantu bange mubagoba
mu mayumba gaabwe amalungi,
abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa
oguva eri Katonda.
10 (CC)Muyimuke mugende,
kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe;
olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza,
kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
11 (CD)Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti,
“Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,”
oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.
12 (CE)“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo;
ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri.
Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro,
ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo,
ekifo kirijjula abantu.
13 (CF)Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse,
abayise mu mulyango abafulumye.
Era kabaka waabwe alibakulembera,
Mukama alibakulembera.”
Ekibi kya Isirayiri
3 (CG)Ne ndyoka ŋŋamba nti,
“Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo,
mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri.
Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,
2 (CH)mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi;
mmwe ababaagako abantu bange eddiba
ne mubaggyako ennyama ku magumba?
3 (CI)Mulya ennyama yaabwe,
ne mubabaagako eddiba,
amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya,
era ne mubasalaasala ng’ennyama
eneefumbibwa mu nsaka.”
4 (CJ)Balikoowoola Mukama,
naye talibaanukula.
Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge
olw’ebibi bye bakoze.
5 (CK)Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Bannabbi ababuzaabuza abantu
balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa,
naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
6 (CL)Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
n’obudde bubazibirire.
7 (CM)Abalabi baliswazibwa
n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi.
Bonna balibikka amaaso gaabwe
kubanga Katonda tabaanukula.”
8 (CN)Naye nze, nzijjudde amaanyi
n’Omwoyo wa Mukama,
okwekaliriza ensonga n’obuvumu,
njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola,
olw’ekibi kya Isirayiri.
9 (CO)Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo,
Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri,
Mmwe abanyooma obwenkanya
Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
10 (CP)mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi,
Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
11 (CQ)Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira,
bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize,
ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa.
Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti,
“Mukama tali naffe?
Tewali kinaatutuukako.”
12 (CR)Noolwekyo ku lwammwe,
Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro,
ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu,
n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.
Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna
4 (CS)Mu nnaku ez’oluvannyuma
olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
2 (CT)Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.
Alituyigiriza by’ayagala
tulyoke tutambulire mu makubo ge.”
Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,
n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
3 (CU)Aliramula amawanga
atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala.
Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
4 (CV)Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe
ne mu mutiini gwe.
Tewalibaawo abatiisa
kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
5 (CW)Newaakubadde nga amawanga gonna
galigoberera bakatonda baago,
naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama
Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Isirayiri ewona Obusibe
6 (CX)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“Ndikuŋŋaanya abalema,
n’abo abaawaŋŋangusibwa
n’abo abali mu nnaku.
7 (CY)Abalema ndibafuula abalonde,
n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi.
Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni
okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
8 (CZ)Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga,
ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni,
ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira,
n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”
9 (DA)Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo?
Temulina kabaka abakulembera?
Omuwi w’amagezi wammwe yafa,
ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
10 (DB)Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni
ng’omukazi alumwa okuzaala.
Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga
ogende obeere ku ttale.
Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni,
era eyo gye ndibalokolera.
Ndibanunulira eyo
okuva mu mukono gw’omulabe.
11 (DC)Kyokka kaakano amawanga mangi
gakuŋŋaanye okubalwanyisa.
Boogera nti, Ayonoonebwe,
n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
12 (DD)Naye tebamanyi
birowoozo bya Mukama;
tebategeera kuteesa kwe;
oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.
13 (DE)“Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni,
kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma;
ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo
era olibetenta amawanga mangi.”
Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama,
n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.
Omufuzi ava mu Besirekemu
5 (DF)Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye,
kubanga tulumbiddwa.
Omukulembeze wa Isirayiri
balimukuba omuggo ku luba.
2 (DG)“Naye ggwe Besirekemu Efulasa,
newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,
mu ggwe mwe muliva alibeera
omufuzi wange mu Isirayiri.
Oyo yaliwo okuva edda n’edda,
ng’ensi tennabaawo.”
3 Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo
okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana,
era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo
eri bannaabwe mu Isirayiri.
4 (DH)Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye
mu maanyi ga Mukama,
mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.
Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu
okutuusa ku nkomerero y’ensi.
5 (DI)Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe.
Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe
n’abuna ebigo byaffe,
tulimuyimbulira abasumba musanvu,
n’abakulembeze munaana.
6 (DJ)Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala
era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone.
Naye alitulokola eri Omwasuli
bw’alitulumba mu nsi yaffe
era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.
7 (DK)Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera
wakati mu mawanga agabeetoolodde,
babe ng’omusulo oguva eri Mukama,
ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo
obutalindirira muntu
oba abaana b’abantu.
8 (DL)Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,
abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;
ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,
bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula
ne wataba n’omu aziwonya.
9 (DM)Omukono gwo guliwangula abalabe bo,
ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.
10 (DN)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“Ndizikiriza embalaasi zo
ne nsanyaawo n’amagaali go.
11 (DO)Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo
era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.
12 (DP)Obulogo bwo ndibumalawo
era toliddayo kukolima nate.
13 (DQ)N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.
Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;
temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda
be mwekoledde n’emikono gyammwe.
14 (DR)Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe,
ebibuga byammwe n’embizikiriza.
15 (DS)Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde
n’obusungu n’ekiruyi.”
6 (DT)Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti,
“Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi,
n’obusozi buwulire bye mugamba.
2 (DU)“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana;
nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire.
Mukama alina ensonga ku bantu be
era agenda kuwawabira Isirayiri.
3 (DV)“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?
Nnali mbazitooweredde? Munziremu.
4 (DW)Nabaggya mu nsi ye Misiri
ne mbanunula mu nsi ey’obuddu,
ne mbawa Musa,
ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.
5 (DX)Mmwe abantu bange mujjukire
ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu
n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.
Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali
mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”
6 (DY)Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama
nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?
Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,
n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
7 (DZ)Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
8 (EA)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
9 Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka.
“Kya magezi ddala okutya erinnya lye,
n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.
10 (EB)Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,
mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,
erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?
11 (EC)Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,
alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?
12 (ED)Abagagga baakyo bakambwe
n’abatuuze baamu balimba
n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.
13 (EE)Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza,
nkumalewo olw’ebibi byo.
14 (EF)Onoolyanga, naye n’otokutta,
era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja.
Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka
kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.
15 (EG)Olisiga naye tolikungula,
oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako,
olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.
16 (EH)Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli
n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu
n’ogoberera n’emizizo gyabwe,
kyendiva nkufuula ekifulukwa,
n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa
era olibaako ekivume ky’amawanga.”
7 Ddala zinsanze nze.
Ndi ng’omuntu akungula ebibala
okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu;
tewali kirimba kya mizabbibu kulyako,
wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
2 (EI)Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi;
tewali n’omu mulongoofu asigaddewo.
Bonna banoonya okuyiwa omusaayi,
buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
3 (EJ)Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
nga basala enkwe.
4 (EK)Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo;
asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi.
Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse,
era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
5 (EL)Tewesiga muntu n’omu,
wadde mukwano gwo,
newaakubadde mukazi wo,
Weegendereze by’oyogera.
6 (EM)Kubanga omulenzi agaya kitaawe,
n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.
7 (EN)Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi,
nnindirira Katonda Omulokozi wange;
Katonda wange anampulira.
8 (EO)Tonjeeyereza ggwe omulabe wange,
kubanga wadde ngudde, nnaayimuka.
Ne bwe naatuula mu kizikiza,
Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
9 (EP)Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza,
kubanga nnyonoonye mu maaso ge,
okutuusa lw’alimpolereza,
n’anziza buggya.
Alindeeta mu kitangaala,
era ndiraba obutuukirivu bwe.
10 (EQ)Olwo omulabe wange alikiraba,
n’aswala,
oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti,
“Ali ludda wa Mukama Katonda wo?”
Ndisanyuka ng’agudde,
era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
11 (ER)Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka,
olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
12 (ES)Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli
nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,
n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati,
n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,
n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
13 (ET)Ensi erifuuka matongo,
olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.
Okusaba N’okutendereza
14 (EU)Lunda abantu bo n’omuggo gwo,
ekisibo kye weeroboza,
ababeera bokka mu kibira
mu malundiro amagimu.
Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.
15 (EV)Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri,
nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.
16 (EW)Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi,
ne gamalibwamu amaanyi.
Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe
n’amatu gaabwe ne gaziba.
17 (EX)Balirya enfuufu ng’omusota,
ng’ebisolo ebyewalula.
Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana
ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
18 (EY)Katonda ki omulala ali nga ggwe,
asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
naye asanyukira okusaasira.
19 (EZ)Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe,
n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
20 (FA)Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo,
n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu,
nga bwe weeyama eri bajjajjaffe
okuva mu nnaku ez’edda.
1 (FB)Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.
Obusungu bwa Mukama ku Nineeve
2 (FC)Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga.
Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi.
Mukama yeesasuza ku balabe be
era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.
3 (FD)Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi
era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze.
Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga,
n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.
4 (FE)Akangavvula ennyanja n’agikaza
era akaza emigga gyonna,
ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse,
n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.
5 (FF)Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda,
obusozi ne busaanuuka,
ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge,
ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.
6 (FG)Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?
Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?
Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,
n’enjazi n’eziyatikayatika.
7 (FH)Mukama mulungi,
kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,
era alabirira abo bonna abamwesiga.
8 Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu,
ekizikiza kiribawondera.
9 Buli kye mwekobaana okukola Mukama,
alikikomya.
Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.
10 (FI)Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye,
era nga batamidde,
balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.
11 Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu
alowooza akabi
era ateesa ebibi ku Mukama.
12 (FJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi,
balizikirizibwa ne baggwaawo.
Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange,
siriddayo kukikola nate.
13 (FK)Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko
era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”
14 (FL)Kino Mukama ky’alagidde ekikwata ku Nineeve:
“Erinnya lyo terikyayala nate.
Ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse
ebiri mu masabo g’abakatonda bo;
ndisima entaana yo
kubanga oyinze obugwagwa.”
15 (FM)Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba,
ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi,
alangirira emirembe.
Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu,
era otuukirize obweyamo bwo;
omubi kaakano takyakulumba,
azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.
Okugwa kwa Nineeve
2 (FN)Nineeve, olumbiddwa omulabe;
kuuma ekigo,
Kuuma ekkubo,
weesibire ddala onywere mu kiwato,
kuŋŋaanya amaanyi go gonna.
2 (FO)Kubanga Mukama alizzaawo ekitiibwa kya Yakobo,
kibe ng’ekitiibwa kya Isirayiri,
newaakubadde ng’abazikiriza baabasaanyawo,
ne boonoona emizabbibu gyabwe.
3 (FP)Engabo z’eggye erikutabadde zonna myufu
n’engoye ze bambadde nazo bwe zityo.
Amagaali g’ebyuuma gamasamasa
ku lunaku lwe gategekebwa,
era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!
4 (FQ)Amagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo,
gadda eno n’eri,
galabika ng’emimuli egyaka,
gamyansa ng’eggulu.
5 (FR)Omuduumizi bw’ayita abalwanyi be
bajja bagwirana.
Badduka mbiro ku bbugwe w’ekibuga
we beetegekera okwerwanako.
6 (FS)Enzigi ez’omugga zigguddwawo,
amazzi ne gasaanyaawo olubiri.
7 (FT)Etteeka lyayisibwa ku kibuga
nti kiriwaŋŋangusibwa,
abaddu abakazi bakungubaga ng’amayiba,
nga bwe beekuba mu bifuba.
8 Ab’omu Nineeve bafaanana ng’ekidiba
eky’amazzi agakalira.
Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!”
bo beeyongerayo bweyongezi.
9 Ffeeza yaakyo temugirekaawo,
ne zaabu nayo mugitwalire ddala,
omunyago teguggwaayo,
eby’obugagga byakyo ebitabalika ebirungi ddala.
10 (FU)Ekibuga kisigadde kyangaala!
Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana,
amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.
11 (FV)Eri ludda wa empuku y’empologoma,
ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento,
empologoma ensajja, n’enkazi,
n’ento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?
12 (FW)Empologoma ensajja yayigganga ennyama y’abaana ebamala,
n’enkazi n’ezittira eyaazo,
n’ejjuza empuku n’omuyiggo,
ne mu bisulo ne mujjula ennyama.
13 (FX)“Laba nze Mukama ow’Eggye
nkwolekedde,
era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka,
n’ekitala kirizikiriza empologoma zo ento.
Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi,
n’eddoboozi ly’ababaka bo
teririddayo kuwulirwa.”
Ebibi bya Nineeve
3 (FY)Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi!
Kyonna ekijjudde eby’obulimba
n’obunyazi,
ekitaggwaamu banyagiddwa.
2 Muwulire okuvuga kw’embooko,
n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali
n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga
n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!
3 (FZ)Laba eggye ery’embalaasi erirumba,
n’ebitala ebitemagana,
n’amafumu agamyansa.
Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu,
ne ntuumu ennene ez’emirambo
egitamanyiddwa muwendo;
abantu bagirinnyirira.
4 (GA)Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu,
kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu,
ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo,
n’olw’obulogo bwakyo.
5 (GB)“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye,
“era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.
Ensi zonna ziriraba obwereere bwo
n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
6 (GC)Ndikukanyugira kazambi,
era ndikufuula ekyenyinyalwa
ne nkufuula eky’okwelolera.
7 (GD)Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,
‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’
Abalikikubagiza baliva wa?”
8 (GE)Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi
ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira
ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?
Olukomera lwakyo gwali mugga
era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
9 (GF)Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.
Ate nga Abapuuti[a] n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
10 (GG)Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.
Abakungu baakyo baakubirwa obululu,
n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
11 (GH)Nineeve naawe olitamiira,
olyekweka
ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.
12 (GI)Ebigo byo byonna biri ng’emitiini
egiriko ebibala ebisooka okwengera;
bwe ginyeenyezebwa
ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.
13 (GJ)Laba abalwanyi bammwe balinafuwa
ne batiitiira ng’abakazi.
Enzigi z’ensi yo
nzigule eri abalabe bo.
Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.
14 (GK)Weenyweze bajja kukulumba!
Weeterekere ku mazzi g’onoonywako.
Nyweza ebisenge byo.
Noonya ettaka olisambe
oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.
15 (GL)Omuliro gulikulya,
ekitala kirikuzikiriza.
Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.
Mweyongere obungi ng’enseenene,
mwale ng’enzige.
16 Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe
okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu.
Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi
ne ziryoka zibuuka.
17 (GM)Abakuumi bammwe bali ng’enzige,
n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige
ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti.
Enjuba bw’evaayo zibuuka
ne ziraga etamanyiddwa.
18 (GN)Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli,
n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko.
Abantu bo basaasaanira ku nsozi
nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.
19 (GO)Tewali kisobola kuwonya
kiwundu kyo ekinene bwe kityo.
Bonna abawulira ebikuguddeko
bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo.
Ani ataakosebwa
olw’ettima lyo eringi?
Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.