Beginning
Obubaka Obukwata ku Amoni
49 (A)Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Isirayiri terina baana balenzi?
Terina basika?
Lwaki Malukamu atutte Gaadi?
Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
2 (B)Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo
ku Labba eky’abawala ba Amoni.
Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,
n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.
Isirayiri eryoke egobere ebweru
abo abagigoba,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
3 (C)“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!
Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!
Mwesibe ebibukutu mukungubage.
Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,
kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,
awamu ne bakabona n’abakungu.
4 (D)Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,
ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?
Ggwe omuwala atali mwesigwa,
weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,
‘Ani alinnumba?’
5 Ndikuleetako entiisa,
okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
“Buli omu ku mmwe aligobebwa,
era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.
6 (E)“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Obubaka obukwata ku Edomu
7 (F)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Tewakyali magezi mu Temani?
Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
8 (G)Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala
mmwe abatuuze b’e Dedani,
kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,
mu kiseera bwe ndimubonerereza.
9 Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,
tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?
Singa ababbi bazze ekiro,
tebandibbye byonna bye beetaaga?
10 (H)Naye ndyambula Esawu mwerule;
ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,
aleme kwekweka.
Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,
era wa kuggwaawo.
11 (I)Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.
Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”
12 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. 13 (K)Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”
14 Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda.
Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,
“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!
Mugolokoke mukole olutalo!”
15 “Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
abanyoomebwa mu bantu.
16 (L)Entiisa gy’oleeta
n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,
mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,
mmwe ababeera waggulu mu nsozi.
Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,
ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
17 (M)“Edomu kirifuuka kyerolerwa,
abo bonna abayitawo balyewuunya batye
olw’ebiwundu bye byonna.
18 (N)Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,
wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“tewaliba n’omu abibeeramu;
tewali musajja alikituulamu.
19 (O)“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani
okugenda mu muddo omugimu,
ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.
Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?
Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?
Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
20 (P)Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,
kyategekedde abo abatuula mu Temani.
Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,
alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
21 (Q)Bwe baligwa ensi erikankana,
emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
22 (R)Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,
n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu
giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.
Obubaka ku Damasiko
23 (S)Ebikwata ku Damasiko:
“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,
kubanga biwulidde amawulire amabi.
Bakeŋŋentereddwa,
batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
24 Ddamasiko ayongobedde,
akyuse adduke
era okutya kumukutte;
obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza,
obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.
25 Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse,
ekibuga mwe nsanyukira?
26 (T)Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo,
n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
27 (U)“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro;
gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”
Obubaka ku Kedali ne Kazoli
28 (V)Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Golokoka, olumbe Kedali
ozikirize abantu be bugwanjuba.
29 (W)Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa;
enju zaabwe ziryetikkibwa
n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe.
Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti,
‘Akabi kavudde ku buli ludda!’
30 “Mudduke mwekukume mangu!
Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe;
ategese okubalumba.
31 (X)“Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo,
eriri mu kweyagala,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
“eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma;
abantu baalyo babeera awo bokka.
32 (Y)Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa,
n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe.
Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala,
mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
33 (Z)“Kazoli alifuuka kifo kya bibe,
ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe.
Tewali alikibeeramu;
tewali muntu alikituulamu.”
Obubaka ku Eramu
34 (AA)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.
35 (AB)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba, ndimenya omutego gwa Eramu,
amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.
36 (AC)Era ndireeta ku Eramu empewo ennya,
okuva mu bitundu ebina eby’eggulu;
ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya,
era tewaliba nsi n’emu
abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.
37 (AD)Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be,
mu maaso gaabo abamunoonya okumutta;
ndibatuusaako ekikangabwa,
n’obusungu bwange obungi ennyo,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ndibawondera n’ekitala
okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.
38 Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu
era nzikirize kabaka we n’abakungu be,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
39 (AE)“Wabula ekiseera kijja,
lwe ndiddiramu Eramu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Obubaka ku Babulooni
50 (AF)Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.
2 (AG)“Buulira mu mawanga era olangirire,
yimusa bendera olangirire,
tolekaayo kintu kyonna ogambe nti,
‘Babulooni eriwambibwa;
Beri kiswale,
ne Meroddaaki kijjule entiisa.
Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala
era bitye.’
3 (AH)Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba
lyonoone ensi y’Abakaludaaya.
Tewali muntu alisigalamu;
abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.
4 (AI)“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”
bw’ayogera Mukama,
“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda
balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
5 (AJ)Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni
era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,
Mujje twesibe ku Mukama Katonda
mu ndagaano ey’emirembe gyonna
etegenda kwerabirwa.
6 (AK)“Abantu bange babadde ndiga ezibuze;
abasumba baabwe babawabizza
ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi.
Baava ku lusozi ne badda ku kasozi
ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
7 (AL)Buli eyabasanganga nga abatulugunya;
abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,
kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,
ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’
8 (AM)“Mudduke okuva e Babulooni;
muleke ensi y’Abakaludaaya,
mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.
9 Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene
okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni.
Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe,
bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono.
Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu,
abataddira awo ngalo nsa.
10 Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa;
abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
11 (AN)“Kubanga musanyuka ne mujaguza,
mmwe abaanyaga omugabo gwabwe,
kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke,
ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,
12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi;
oyo eyakuzaala aliswazibwa.
Aliba ensi esemberayo ddala,
ensiko, ensi enkalu, eddungu.
13 (AO)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu,
naye alisigala matongo.
Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze
olw’ebiwundu bye byonna.
14 (AP)“Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni,
mwenna abanaanuula omutego.
Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu,
kubanga yajeemera Mukama Katonda.
15 (AQ)Mumukube olube ku buli ludda.
Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,
n’ebisenge bye bimenyeddwa.
Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda,
mumwesasuzeeko;
mumukole nga bw’akoze abalala.
16 (AR)Asiga mumuggye mu Babulooni,
n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula.
Olw’ekitala ky’omujoozi,
leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe,
buli muntu adde eri abantu be.
17 (AS)“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,
empologoma kye zigobye.
Eyasooka okumulya
yali kabaka wa Bwasuli;
eyasembayo okumenya amagumba ge
yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”
18 (AT)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye
nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
19 (AU)Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye
era aliriira ku Kalumeeri ne Basani;
alikuttira
ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20 (AV)Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.
21 (AW)“Mulumbe ensi ye Merasayimu
n’abo abali mu Pekodi.
Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Mukole byonna bye mbalagidde.
22 (AX)Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga,
eddoboozi ery’okuzikiriza okunene!
23 (AY)Ennyondo y’ensi yonna
ng’ekubiddwa n’emenyeka!
Babulooni kifuuse matongo
mu mawanga!
24 (AZ)Nakutegera omutego, ggwe Babulooni,
babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde,
baakukwata ne bakuwamba
kubanga wawakanya Mukama.
25 (BA)Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye
naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye,
kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola
mu nsi y’Abakaludaaya.
26 (BB)Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda,
mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke,
mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke.
Mumuzikiririze ddala;
waleme kusigalawo n’omu ku bo.
27 Mutte ennume zaabwe zonna,
muzitwale zittibwe.
Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse,
kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa.
28 (BC)Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni
nga balangirira mu Sayuuni
engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza,
gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.
29 (BD)“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,
ne bonna abanaanuula omutego.
Mumwetooloole yenna;
tewaba n’omu awona.
Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;
mumukole nga bwe yakola banne.
Kubanga yanyooma Mukama,
Omutukuvu wa Isirayiri.
30 (BE)Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo;
abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
31 (BF)“Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,”
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
“Kubanga olunaku lwo lutuuse,
ekiseera ky’on’obonerezebwamu.
32 (BG)Oyo ow’amalala alyesittala agwe
era teri n’omu alimuyamba kuyimuka;
Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye
oguliyokya bonna abamwetoolodde.”
33 (BH)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa
awamu n’abantu ba Yuda;
Bonna ababawambye babanywezezza,
bagaanye okubata.
34 (BI)Omununuzi waabwe w’amaanyi,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa,
alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe;
wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.
35 (BJ)“Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,”
bw’ayogera Mukama,
“n’eri abo ababeera mu Babulooni,
n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!
36 (BK)Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba!
Balifuuka balisiriwala,
ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe.
Balijjula entiisa.
37 (BL)Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali
n’abagwira bonna abamubeeramu!
Balifuuka banafu ng’abakazi.
Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe!
Birinyagibwa!
38 (BM)Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu!
Galikalira.
Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi,
ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.
39 (BN)“Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi,
era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera.
Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu
wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.
40 (BO)Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola
n’ebibuga ebiriraanyeewo,”
bw’ayogera Mukama,
“bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu;
tewaliba n’omu alikisigalamu.
41 (BP)“Laba, eggye liva mu bukiikakkono;
ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi,
bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.
42 (BQ)Balina obusaale n’amafumu,
bakambwe si ba kisa.
Beebagadde embalaasi zaabwe
ne baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja;
bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalo
okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.
43 Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako,
n’emikono gye girebedde.
Entiisa emugwiridde,
ng’omukazi alumwa okuzaala.
44 (BR)Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani
okugenda mu ddundiro eggimu,
Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe.
Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino?
Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza?
Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”
45 (BS)Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni,
ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya.
Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa,
alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.
46 (BT)Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana;
okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.