Beginning
37 (A)Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,
Mukama nga takiragidde?
38 (B)Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,
si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
39 (C)Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,
bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?
40 (D)Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
tudde eri Mukama.
41 (E)Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
42 (F)“Twayonoona ne tujeema,
tokyerabiranga era tonatusonyiwa.
43 (G)“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
n’otutta awatali kutusaasira.
44 (H)Weebisseeko ekire,
waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
45 (I)Otufudde obusa n’ebisasiro
mu mawanga.
46 (J)“Abalabe baffe bonna batwogerako
ebigambo ebibi.
47 (K)Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
48 (L)Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
olw’okuzikirira kw’abantu bange.
49 (M)Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
awatali kusirika,
50 (N)okutuusa Mukama lw’alisinzira
mu ggulu n’alaba.
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.
52 (O)Abalabe bange banjigganya olutata
ne baba ng’abayigga ennyonyi.
53 (P)Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
ne bankasuukirira amayinja;
54 (Q)amazzi gaabikka omutwe gwange,
ne ndowooza nti, nsanyeewo.
55 (R)“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
56 (S)wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
eri okukaaba kwange.”
57 (T)Bwe nakukoowoola wansemberera
n’oyogera nti, “Totya!”
58 (U)Mukama watunula mu nsonga yange,
era n’onunula obulamu bwange.
59 (V)Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
60 (W)Walaba bwe bampalana,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.
61 Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
62 (X)obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
bye bantesaako obudde okuziba.
63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
bannyooma nga bwe bannyimbirira.
64 (Y)Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,
olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
65 (Z)Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,
n’ekikolimo kyo kibabeereko.
66 Obayigganye mu busungu bwo obazikirize
ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.
4 (AA)Zaabu ng’ettalazze!
Zaabu ennungi ng’efuuse!
Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye
buli luguudo we lutandikira.
2 Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo
abaali beenkana nga zaabu ennungi,
kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,
omulimu gw’emikono gy’omubumbi.
3 (AB)Ebibe biyonsa
abaana baabyo,
naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa,
bafaanana nga bammaaya mu ddungu.
4 (AC)Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
naye tewali n’omu agibawa.
5 (AD)Abaalyanga ebiwoomerera
basabiriza ku nguudo;
n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka
bali ku ntuumu ez’ebisasiro.
6 (AE)Ekibonerezo ky’abantu bange
kisinga ekya Sodomu,
ekyawambibwa mu kaseera akatono,
nga tewali n’omu azze kukibeera.
7 Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira,
nga beeru okusinga amata;
n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu,
era banyirivu nga safiro.
8 (AF)Naye kaakano badduggala okusinga enziro,
era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo.
Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe;
lukaze ng’ekiti ekikalu.
9 (AG)Abafa ekitala bafa bulungi
okusinga abafa enjala,
kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo
olw’obutaba na mmere mu nnimiro.
10 (AH)Abakazi ab’ekisa abaagala abaana
bafumbye abaana baabwe;
abaana abaafuuka emmere
abantu bange bwe baazikirizibwa.
11 (AI)Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,
era abayiyeeko obusungu bwe obungi.
Yakoleeza omuliro mu Sayuuni
ogwayokya emisingi gyakyo.
12 (AJ)Bakabaka b’ensi
n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza,
nti abalabe n’ababakyawa baliyingira
mu wankaaki wa Yerusaalemi.
13 (AK)Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be,
n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be,
abaayiwa omusaayi
gw’abatuukirivu abaababeerangamu.
14 (AL)Badoobera mu nguudo
nga bamuzibe;
bajjudde omusaayi
so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.
15 (AM)Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu!
Muviireewo ddala, so temutukwatako!”
Bwe baafuuka emmombooze,
amawanga gabagobaganya nga boogera nti,
“Tebakyasaana kubeera wano.”
16 (AN)Mukama yennyini abasaasaanyizza,
takyabafaako.
Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa,
newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.
17 (AO)Amaaso gaffe gakooye
olw’okulindirira okubeerwa okutajja;
nga tulindirira
eggwanga eriyinza okutulokola.
18 (AP)Baatucocca
ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe;
enkomerero yaffe n’eba kumpi,
n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.
19 (AQ)Abaatuyiganyanga baatusinga embiro
okusinga n’empungu ez’omu bbanga.
Baatugobera mu nsozi
ne batuteegera mu ddungu.
20 (AR)Oyo Mukama gwe yafukako amafuta
yagwa mu mitego gyabwe.
Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye
ne tubeeranga mu mawanga.
21 (AS)Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,
abeera mu nsi ya Uzi;
naye lumu olinywa ku kikompe
n’otamiira ne weeyambula.
22 (AT)Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo,
talikwongerayo mu busibe.
Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza,
n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.
5 (AU)Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
Tunula olabe ennaku yaffe.
2 (AV)Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
3 (AW)Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
4 (AX)Tusasulira amazzi ge tunywa;
n’enku tuteekwa okuzigula.
5 (AY)Abatucocca batugobaganya;
tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
6 (AZ)Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
okutufuniranga ku mmere.
7 (BA)Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
8 (BB)Abaddu be batufuga,
tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
9 Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
olw’ekitala ekiri mu ddungu.
10 (BC)Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro
olw’enjala ennyingi.
11 (BD)Abakyala ba Sayuuni,
n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
12 (BE)Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13 Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
14 (BF)Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
n’abavubuka tebakyayimba.
15 (BG)Emitima gyaffe tegikyasanyuka,
n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
16 (BH)Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
Zitusanze kubanga twonoonye!
17 (BI)Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,
era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
18 (BJ)Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
ebibe kyebivudde bitambulirako.
19 (BK)Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
20 (BL)Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
21 (BM)Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
otuzze buggya ng’edda;
22 (BN)wabula ng’otusuulidde ddala,
era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.