Beginning
Okulwala kwa Keezeekiya
20 Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”
2 Keezeekiya ne yeekyusa n’atunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ng’agamba nti, 3 (A)“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya n’akaaba nnyo.
4 Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, 5 (B)“Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya Mukama. 6 (C)Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”
7 (D)Awo Isaaya n’alagira baleete ekitole ky’ettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya n’awona.
8 Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti Mukama amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya Mukama nga wayiseewo ennaku ssatu?”
9 (E)Isaaya n’addamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gy’oli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?”
10 Keezeekiya n’addamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.”
11 (F)Awo Isaaya n’akoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama n’azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.
Obusirusiru bwa Keezeekiya
12 Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde. 13 Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
14 Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?”
Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.”
15 Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?”
N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.”
16 Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ky’agamba: 17 (G)Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama. 18 (H)“Era abamu ku bazzukulu bo, ab’omubiri gwo n’omusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.”
19 Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”
20 (I)Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda? 21 Keezeekiya n’afa, mutabani we Manase n’amusikira okuba kabaka.
Manase Kabaka wa Yuda
21 (J)Manase yatandika okufuga ng’alina emyaka kkumi n’ebiri, era n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Kefuziba. 2 (K)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu makubo amabi ag’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri. 3 (L)Yaddamu n’azimba ebifo ebigulumivu eby’okusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba n’ebyoto ebya Baali, n’asimba n’empagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, n’okusinza n’asinza eggye ery’omu ggulu. 4 (M)Yazimba n’ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yali ayogeddeko nti, “Mu Yerusaalemi mwe mulibeera Erinnya lyange.” 5 (N)Era yazimbira eggye lyonna ery’omu ggulu ebyoto mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. 6 (O)N’awaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ng’akola eby’obufumu n’eby’obulogo, ate ng’alagulwa n’abaliko emizimu, n’abalogo. N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.
7 (P)Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera n’akiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ng’agamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna. 8 (Q)Siriddayo nate kujja bigere eby’Abayisirayiri mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe baneekuumanga okukola bye nabalagira byonna wamu n’amateeka omuddu wange Musa ge yabawa.” 9 (R)Naye abantu tebaawuliriza, era Manase n’abasendasenda okukola ebibi okusinga n’ebyo amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri bye gaakola.
10 Awo Mukama n’ayogerera mu baddu be bannabbi 11 (S)nti, “Olw’emizizo gino Manase kabaka wa Yuda gy’akoze, ng’ayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, n’ayonoonyesa Yuda n’ebifaananyi bye, 12 (T)bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira, alisasamala. 13 (U)Ndigolola omuguwa ogwakozesebwa ku Samaliya n’ejjinja erigera eryakozesebwa ku nnyumba ya Akabu eri Yerusaalemi, era ne mmalirawo ddala Yerusaalemi ng’omuntu bw’akomba esowaani okumalirako ddala emmere, n’okugifuula n’agifuula. 14 (V)Era ndyabulira ekitundu ekyafikkawo eky’obusika bwange, ne nkigabula mu mukono gw’abalabe baabwe, ne bababbako buli kantu, 15 (W)kubanga baakola ebibi mu maaso gange, ne bansunguwaza nnyo okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviirako mu Misiri n’okutuusa ku lunaku lwa leero.’ ”
16 (X)Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gw’abo abataaliko musango, n’agujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama. 17 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ne byonna bye yakola, okwo nga kwe kuli n’ebibi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 18 (Y)Awo Manase n’afa, n’aziikibwa mu nnimiro ey’olubiri lwe, ye nnimiro ya Uzza, ne mutabani we Amoni n’amusikira okuba kabaka.
Amoni Kabaka wa Yuda
19 Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba. 20 (Z)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola. 21 N’atambulira mu ngeri za kitaawe, n’asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga. 22 (AA)Yava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n’atatambulira mu kkubo lya Mukama.
23 (AB)Awo abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe. 24 (AC)Awo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olw’okumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.
25 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amoni, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 26 (AD)Kabaka n’aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya n’amusikira okuba kabaka.
Ekitabo ky’Amateeka Kizuulibwa
22 (AE)Yosiya n’atandika okufuga nga wa myaka munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu gumu, ng’erinnya lya nnyina ye Yedida, muwala wa Adaya ow’e Bozukasi. 2 (AF)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za jjajjaawe Dawudi, awatali kutaaganaaga.
3 (AG)Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n’atuma omuwandiisi Safani mutabani wa Azaliya ate muzzukulu wa Mesullamu okulaga mu yeekaalu ya Mukama. N’amugamba nti, 4 (AH)“Yambuka eri Kirukiya kabona Asinga obukulu, akutegeeze omuwendo gw’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama abaggazi ze basoloozezza ku bantu. 5 (AI)Ensimbi ezo zikwasibwe abasajja abaalondebwa okulabirira omulimu ogwa yeekaalu basasule abakozi abaddaabiriza yeekaalu ya Mukama, 6 (AJ)ababazzi, n’abazimbi, n’abaasa b’amayinja. Ate era baguleko n’embaawo n’amayinja amateme nga byonna bya kuddaabiriza yeekaalu. 7 (AK)Naye tebabuuzibwa engeri gye bakozesezaamu ensimbi ezo, kubanga basajja abakola n’obwesigwa.”
8 (AL)Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’ategeeza Safani omuwandiisi nti, “Ekitabo eky’Amateeka nkizudde we kibadde mu yeekaalu[a].” N’akiwa Safani n’akisoma. 9 Safani omuwandiisi n’addayo eri kabaka n’amugamba nti, “Abakungu bawaddeyo ensimbi ezibadde mu yeekaalu ya Mukama era bazikwasizza abakozi n’abalabirizi ab’omulimu okuzikozesa n’okulabirira enkozesa yaazo.” 10 (AM)Ate era Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona, ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka.
11 Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyasomebwa okuva mu Kitabo eky’Amateeka n’ayuza ebyambalo bye. 12 (AN)N’alagira Kirukiya kabona, Akikamu mutabani wa Safani, ne Akubooli mutabani wa Mikaaya, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti, 13 (AO)“Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, n’abantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo eby’omu kitabo kino, era tebaakola ng’ebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”
14 Awo Kirukiya kabona, ne Akikamu, ne Akubooli, ne Safani, ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukyala muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kalukasi omuwanika w’ebyambalo, okumwebuuzaako. Yabeeranga mu kitundu ekyokubiri mu Yerusaalemi. 15 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, 16 (AP)‘Mutegeeze oyo abatumye nti ŋŋenda kuleeta ku kifo kino n’abantu bano akabi, ng’ebyawandiikibwa mu kitabo bwe bigamba, kabaka wa Yuda by’asomye. 17 (AQ)Olw’okunvaako n’olw’okwotereza obubaane eri bakatonda, nga baleetera obusungu bwange okubuubuuka olwa bakatonda be bakoze, ndibaleetako obusungu bwange era tewaliba n’omu alibukkakkanya.’ 18 (AR)Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ebikwata ku bigambo bye wawulidde: 19 (AS)kubanga obadde mumenyefu mu mutima ne weetoowaza mu maaso ga Mukama bwe wawulidde ebigambo ebyo bye nayogedde ku kifo kino ne ku bantu bano, nti baakuzikirira era baggweewo, ate n’oyuza n’ebyambalo byo nga wennyamidde mu maaso gange, mpulidde okukaaba kwo, bw’ayogera Mukama. 20 (AT)Kyendiva nkutwala eri bajjajjaabo, n’oziikibwa mu mirembe, era amaaso go tegaliraba kabi kendireeta ku kifo kino.’ ”
Awo ne bazaayo obubaka obwo eri kabaka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.