Beginning
Endagaano Eragaanibwa buggya
23 Awo kabaka n’ayita abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. 2 (A)N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama ne bakabona, ne bannabbi, n’abantu bonna okuva ku wa wansi okutuukira ddala ku wa waggulu mu bitiibwa byabwe. N’asoma ebigambo eby’omu Kitabo eky’Endagaano ekyali kizuuliddwa mu yeekaalu ya Mukama, nga bonna bawulira. 3 (B)Awo kabaka n’ayimirira okuliraana empagi n’azza obuggya endagaano ne Mukama, okutambuliranga mu kkubo lya Mukama, n’okukwatanga amateeka ge, n’okutambuliranga mu mpya ze, n’okugonderanga ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, ng’akakasa ebyawandiikibwa ebyali mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne beewaayo okuzza endagaano obuggya.
4 (C)Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona abaamuddiriranga, wamu n’abaggazi okuggya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebya Baali n’ebya Asera, n’eby’eggye lyonna ery’omu ggulu, n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri mu kiwonvu kya Kiduloni, evvu n’alitwala e Beseri[a]. 5 (D)N’agoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda n’okwetooloola Yerusaalemi, n’abo abayoterezanga obubaane eri Baali n’enjuba n’omwezi, n’eri emunyeenye n’eri eggye lyonna ery’omu ggulu. 6 (E)N’aggya empagi ya Asera[b] mu yeekaalu ya Mukama, n’agitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, n’agyokera eyo. N’agisekulasekula n’asaasaanya evvu lyayo ku malaalo ag’abantu abaabulijjo. 7 (F)Ate era yamenyaamenya n’ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.
8 (G)Awo Yosiya n’aleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, n’ayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era n’amenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki ow’oku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze ow’ekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki ow’ekibuga. 9 (H)Newaakubadde nga bakabona bali ab’oku bifo ebigulumivu tebaweerezanga ku kyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, balyanga emigaati egitali mizimbulukuse wamu ne bakabona bannaabwe.
10 (I)Yavvoola era n’amenyaamenya ekyoto kya Tofesi ekyali mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu, obutaganya muntu yenna kuwaayo mwana we owoobulenzi newaakubadde owoobuwala ng’ekiweebwayo eri Moleki. 11 (J)Era yaggyawo n’embalaasi ezaali mu mulyango gwa yeekaalu, bassekabaka ba Yuda ze baali bawonze eri enjuba, era n’ayokya amagaali ze gaasikanga. Zaabeeranga mu luggya okuliraana n’ekisenge ekyali eky’omukungu Nasanumereki. 12 (K)Yamenyaamenya n’ebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi n’ekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era n’ebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, n’abimenyaamenya, enfuufu yaabyo n’agiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni. 13 (L)Era kabaka n’ayonoona n’ebifo ebigulumivu ebyali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi ku luuyi olwa bukiikaddyo ku lusozi olw’okuzikirira, ebyo Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira bakatonda ab’omuzizo: Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Kemosi ow’Abamowaabu, ne Mirukomu ow’Abamoni. 14 (M)N’amenyaamenya empagi, n’atemaatema empagi za Asera era ebifo ebyo n’abijjuza amagumba g’abantu.
Amasabo n’Ebyoto Bimenyebwamenyebwa
15 (N)Era n’ekyoto ekyali e Beseri, n’ekifo ekigulumivu ekyaleetera Isirayiri okwonoona, Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yali azimbye, byonna Yosiya n’abimenyaamenya. N’ayokya era n’asekulasekula ekifo ekigulumivu okutuusa lwe kyafuuka enfuufu era n’ayokya n’empagi eya Asera. 16 (O)Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n’alaba amalaalo agaali ku lusozi, n’agenda n’aggyamu amagumba g’abafu n’agokera ku kyoto n’akyonoona, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali omusajja wa Katonda kye yalangirira.
17 Awo kabaka n’abuuza nti, “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abasajja ab’ekibuga ne bamuddamu nti, “Ago ge malaalo ag’omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n’alangirira ebigambo ebikwata ku kyoto eky’e Beseri, by’okikoze.” 18 (P)N’abagamba nti, “Mugaleke, era temuganya muntu yenna kukwata ku magumba ge.” Awo ne batakwata ku magumba ge, wadde aga nnabbi ow’e Samaliya. 19 N’amasabo gonna agaali mu bifo ebigulumivu bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye mu bibuga bya Samaliya ne baleetera obusungu bwa Mukama okubuubuuka, Yosiya n’agavvoola era n’agaggyawo nga bwe yakola e Beseri. 20 (Q)Yosiya n’atta bakabona bonna abaaweerezanga mu bifo ebigulumivu ku byoto byayo, era amagumba gaabwe n’agokera okwo, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.
Okukuuma Embaga ey’Okuyitako
21 (R)Awo kabaka n’alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe ng’ekyawandiikibwa bwe kiri mu Kitabo eky’endagaano.” 22 Okuviira ddala ku mirembe gy’abalamuzi, ne ku mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri n’aba Yuda, tewaaliwo kukwata Mbaga ey’Okuyitako. 23 Naye mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, Embaga eyo n’ebaawo mu Yerusaalemi. 24 (S)Ate era n’abafumu, n’aboogeza emizimu, n’ebifaananyi, n’eby’emizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, n’abiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo eby’etteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama. 25 (T)Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira Mukama n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna era n’amaanyi ge gonna, ng’agoberera Amateeka ga Musa.
26 (U)Kyokka Mukama n’atakendeeza ku busungu bwe obungi obwabuubuukira ku Yuda, olw’ebikolwa byonna ebya Manase ebyaleetera Mukama okusunguwala. 27 (V)Awo Mukama n’ayogera nti, “Ndiggyawo Yuda mu maaso gange nga bwe nnaggyawo Isirayiri, era n’ekibuga Yerusaalemi kye nneeroboza, wamu ne yeekaalu eno gye nayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabanga omwo,’ siribisaako nate mwoyo.” 28 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Yosiya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
29 (W)Awo mu biro ebyo, Falaawo Neko nga ye kabaka wa Misiri n’ayambuka okutabaala kabaka w’e Bwasuli ku Mugga Fulaati; kabaka Yosiya n’agenda okumubeera, naye Falaawo Neko olwamulengera ng’ajja, n’amuttira e Megiddo. 30 (X)Abaddu ba Yosiya ne bateeka omulambo gwe mu gaali ne baguggya e Megiddo ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye. Awo abantu ab’omu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe okuba kabaka.
Yekoyakaazi kabaka wa Yuda
31 (Y)Yekoyakaazi we yaliira obwakabaka yalina emyaka amakumi abiri mu esatu, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 32 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama nga bajjajjaabe bwe baakola. 33 (Z)Falaawo Neko n’amuggya ku bwakabaka n’amusibira mu masamba e Libula mu nsi y’e Kamasi obutaddayo kufuga mu Yerusaalemi, era n’asalira Yuda omusolo ogw’effeeza ttani ssatu ne bisatu byakuna ne zaabu kilo amakumi asatu mu nnya. 34 (AA)Awo Falaawo Neko n’afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu. N’aggyayo Yekoyakaazi, n’amutwala e Misiri, era eyo gye yafiira. 35 (AB)Awo Yekoyakimu n’awangayo effeeza ne zaabu nga Falaawo Neko bwe yalagira. Era okusobola okutuukirizanga ekyo, Yekoyakimu yawoozanga abantu, n’abaggyangako effeeza ne zaabu nga buli muntu bwe yagerekebwa.
Yekoyakimu, Kabaka wa Yuda
36 (AC)Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma. 37 Naye n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe be bwe baakola.
24 (AD)Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza. 2 (AE)Awo Mukama n’asindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya, n’Abasuuli, n’Abamowaabu, n’Abamoni, n’abatuma okulumba Yuda, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali. 3 (AF)Era ddala ebyo by’atuukirira ku Yuda ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olw’ebibi bya Manase n’ebirala byonna bye yakola, 4 (AG)ng’okwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango, Mukama kye yali tagenda kusonyiwa.
5 Ebyafaayo ebirala ebyaliwo ku mulembe gwa Yekoyakimu ne byonna bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 6 (AH)Awo Yekoyakimu n’afa, mutabani we Yekoyakini n’amusikira okuba kabaka. 7 (AI)Kabaka w’e Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka w’e Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gw’Omugga ogw’e Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati.
Yekoyakini Kabaka wa Yuda
8 (AJ)Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi. 9 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.
10 (AK)Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne lirumba ekibuga ky’e Yerusaalemi, ne kizingizibwa. 11 Nebukadduneeza yennyini n’ajja mu kibuga, ng’eggye lye likyakizingizza. 12 (AL)Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe. 13 (AM)Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira. 14 (AN)N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.
15 (AO)Nebukadduneeza n’atwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era n’atwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami abaali ab’ekitiibwa mu nsi. 16 (AP)Ate era yawamba abasajja ab’amaanyi kasanvu, ne baffundi n’abaweesi lukumi, bonna n’abatwala e Babulooni nga basibe. 17 (AQ)Nebukadduneeza n’addira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, n’amufuula kabaka, era n’amukyusa n’erinnya n’amutuuma Zeddekiya.
Zeddekiya, Kabaka wa Yuda
18 (AR)Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 19 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakini bwe yakola. 20 (AS)Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olw’obusungu bwa Mukama obwababubuukirako, era n’oluvannyuma n’abagoba mu maaso ge.
Naye oluvannyuma Zeddekiya y’ajeemera kabaka w’e Babulooni.
25 (AT)Awo Zeddekiya nga yakafugira emyaka mwenda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna ne balumba Yerusaalemi ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi; ne basiisira ebweru waakyo, ne bakizimbako ebigo okukyetooloola. 2 Awo ekibuga ne kizingizibwa okumala emyaka ebiri nga Zeddekiya y’akyali kabaka. 3 (AU)Ku lunaku olw’omwenda mu mwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga, abantu ab’omu nsi ne babulwako n’emmere ey’okulya. 4 (AV)Awo kabaka n’eggye lye lyonna abaali mu kibuga ne bawagula mu bbugwe ekituli, ekiro, ne badduka nga bayita mu mulyango ogwaliraananga ennimiro ya kabaka ne bayita ne ku Bakaludaaya abaali bazingizza ekibuga enjuuyi zonna. 5 (AW)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne bagoberera kabaka, okutuusa lwe bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko n’eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira. 6 (AX)Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango. 7 (AY)Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.
Yerusaalemi ne Yeekaalu bisaanyizibwawo
8 Awo ku lunaku olw’omusanvu mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obwakabaka bwa Nebukadduneeza, kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye lya kabaka ery’oku ntikko, ate nga mwami wa kabaka w’e Babulooni n’ajja mu Yerusaalemi. 9 (AZ)N’ayokya yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna na buli kizimbe ekikulu era nga kya muwendo mu Yerusaalemi. 10 (BA)Awo eggye lyonna ery’Abakaludaaya nga bakulemberwa omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko, ne bamenya bbugwe wa Yerusaalemi. 11 (BB)Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala abantu bonna abaali basigaddewo mu kibuga, mu buwaŋŋanguse nga basibe, n’abaali baasenga kabaka w’e Babulooni, n’abalala bonna abaali mu kibuga. 12 (BC)Wabula yalekamu abaali basemberayo ddala obwavu mu nsi eyo, okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.
13 Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez’ebikomo n’ebyuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, n’ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’ebikomo byamu ne babitwala e Babulooni. 14 (BD)Era baatwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebijiiko n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu. 15 Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala n’ebyoterezo wamu n’ebibya ebyali ebya zaabu n’ebyali ebya ffeeza.
16 Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, ne mu nnyanja, ne mu byuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, Sulemaani bye yakolera yeekaalu ya Mukama, obuzito bwakyo nga tebumanyiddwa. 17 (BE)Buli mpagi obugulumivu yali mita munaana ne desimoolo emu ne ku mutwe gwayo nga kuliko ekikomo ng’obugulumivu bwakyo mita emu ne desimoolo ssatu, nga kitoneddwatoneddwa n’ebifaananyi n’amakomamawanga ag’ekikomo okukyetooloola. N’empagi eyookubiri yali ekoleddwa mu ngeri y’emu.
18 (BF)Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala nga basibe: Seraya kabona Asinga obukulu, n’omumyuka we Zeffaniya, n’abaggazi abasatu. 19 Era yatwala n’omukungu eyaduumiranga abasajja abalwanyi, n’abakungu abalala bataano abatuulanga ku lukiiko lwa kabaka; era n’atwala n’omuwandiisi omukulu eyavunaanyizibwanga okuyingizanga abantu mu magye mu nsi ya Yuda, n’abasajja abannansi nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 20 Abo bonna Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’abatwalira kabaka w’e Babulooni e Libula. 21 (BG)Kabaka w’e Babulooni n’abattira eyo e Libula, mu nsi y’e Kamasi.
Bw’atyo Yuda n’atwalibwa mu buwaŋŋanguse nga musibe, okuva mu nsi ye.
22 (BH)Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alonda Gedaliya mutabani wa Akikamu, muzzukulu wa Safani okuba omukulembeze w’abo abaali basigaddewo mu Yuda. 23 Awo abakungu ab’eggye n’abasajja abalala bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya okuba omukulembeze, ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abasajja abakungu abo baali Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani mutabani wa Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, ne Yaazaniya mutabani w’Omumaakasi. 24 Gedaliya n’abalayirira bo n’abasajja baabwe n’abagamba nti, “Temutya bakungu Bakaludaaya, naye mutereere mu nsi muweereze kabaka w’e Babulooni kale ebintu byonna binaabagendera bulungi.”
25 Naye mu mwezi ogw’omusanvu, Isimayiri mutabani wa Nesaniya, muzzukulu wa Erisaama ow’olulyo olulangira n’ajja n’abasajja kkumi, n’alumba Gedaliya era n’amutta, awamu n’Abayudaaya; n’Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa nabo n’abatta. 26 (BI)Awo abantu bonna okuviira ddala ku wawansi okutuukira ddala ku w’eddaala erya waggulu, n’abamaggye abakulu bonna, ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.
Yekoyakini Ateebwa
27 Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda nga yakamala emyaka amakumi asatu mu musanvu mu buwaŋŋanguse mu busibe, nga Evirumerodaki kyajje afuuke kabaka w’e Babulooni, Evirumerodaki n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda okuva mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 28 (BJ)N’ayogera naye ebigambo ebyekisa, n’amuwa n’ekitiibwa ekya waggulu okusinga ne bakabaka abalala abaali awamu naye mu buwaŋŋanguse mu busibe e Babulooni. 29 (BK)Awo Yekoyakini n’aggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera n’aliiranga wamu ne kabaka w’e Babulooni ku mmeeza ya kabaka ennaku zonna ez’obulamu bwe. 30 (BL)Kabaka n’awanga Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku ennaku zonna ez’obulamu bwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.