Add parallel Print Page Options

16 (A)“Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”

Read full chapter

(A)Mukama n’amugamba nti,

“Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo.

Read full chapter

Isaaya Ayogera Ebyobunnabbi ku kugwa kwa Sennakeribu

20 (A)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli.

Read full chapter

12 (A)Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
    owulire okukaaba kwange onnyambe.
    Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
    nga bajjajjange bonna bwe baali.

Read full chapter

(A)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
    amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
    Wagawandiika.

Read full chapter