Book of Common Prayer
97 (A)Mukama afuga; ensi esanyuke,
n’embalama eziri ewala zijaguze.
2 (B)Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;
obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
3 (C)Omuliro gumukulembera
ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
4 (D)Okumyansa kwe kumulisa ensi;
ensi n’ekulaba n’ekankana.
5 (E)Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 (F)Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;
n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.
7 (G)Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
8 (H)Sayuuni akiwulira n’asanyuka,
n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
9 (I)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;
ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 (J)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
akuuma obulamu bw’abamwesiga,
n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 (K)Omusana gwe gwakira abatuukirivu,
n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 (L)Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.
99 (A)Mukama afuga,
amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
ensi ekankane.
2 (B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
agulumizibwa mu mawanga gonna.
3 (C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Mukama mutukuvu.
4 (D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
era bituufu.
5 (E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
Mukama mutukuvu.
6 (F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
n’abaanukula.
7 (G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.
8 (H)Ayi Mukama Katonda waffe,
wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.
Zabbuli ey’okwebaza.
94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
2 (B)Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
3 Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?
4 (C)Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
abakola ebibi bonna beepankapanka.
5 (D)Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
babonyaabonya ezzadde lyo.
6 Batta nnamwandu n’omutambuze;
ne batemula ataliiko kitaawe.
7 (E)Ne boogera nti, “Katonda talaba;
Katonda wa Yakobo tafaayo.”
8 (F)Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
9 (G)Oyo eyatonda okutu tawulira?
Oyo eyakola eriiso talaba?
10 (H)Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 (I)Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
amanyi nga mukka bukka.
12 (J)Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 (K)omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 (L)Kubanga Mukama talireka bantu be;
talyabulira zzadde lye.
15 (M)Aliramula mu butuukirivu,
n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
16 (N)Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 (O)Singa Mukama teyali mubeezi wange,
omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 (P)Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
20 (Q)Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 (R)Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 (S)Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 (T)Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.
95 (U)Mujje tuyimbire Mukama;
tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2 (V)Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
3 (W)Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
n’entikko z’ensozi nazo zize.
5 (X)Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
6 (Y)Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7 (Z)Kubanga ye Katonda waffe,
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
era tuli ndiga ze z’alabirira.
Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8 (AA)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
9 (AB)bajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (AC)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
11 (AD)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Okukuuma Ssabbiiti nga Ntukuvu
19 (A)Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi. 20 (B)Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga. 21 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, 22 (D)era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ 23 (E)Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa. 24 Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna, 25 (F)olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna. 26 (G)Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama. 27 (H)Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”
13 Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.
14 (A)Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi. 15 (B)Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. 16 (C)Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. 17 (D)Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. 18 (E)Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. 19 (F)Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. 20 (G)Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.
21 (H)Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi. 22 (I)Mu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda. 23 (J)Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange. 24 (K)Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa? 25 Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu w’amateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ng’okwegomba kwange okw’omubiri, mpeereza etteeka ly’ekibi.
Yesu Atambulira ku Mazzi
16 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja 17 ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18 Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka. 19 (A)Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. 20 (B)Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!” 21 Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
Abantu Banoonya Yesu
22 (C)Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato. 23 (D)Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza. 24 Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.
25 (E)Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”
26 (F)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27 (G)Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.