Book of Common Prayer
ק Koofu
145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
Nnaagonderanga amateeka go.
146 Nkukaabirira, ondokole,
nkwate ebiragiro byo.
147 (A)Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 (B)Seebaka ekiro kyonna
nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
kyokka bali wala n’amateeka go.
151 (C)Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 (D)Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.
ר Leesi
153 (E)Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
kubanga seerabira mateeka go.
154 (F)Ompolereze, onnunule,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 (G)Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
kubanga tebanoonya mateeka go.
156 (H)Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 (I)Abalabe abanjigganya bangi,
naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 (J)Nnakuwalira abo abatakwesiga,
kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
n’amateeka go ga lubeerera.
ש Sini ne Sikini
161 (K)Abafuzi banjigganyiza bwereere,
naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 (L)Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
olw’amateeka go amatuukirivu.
165 (M)Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
tewali kisobola kubeesittaza.
166 (N)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
mbyagala nnyo nnyini.
168 (O)Buli kye nkola okimanyi,
era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.
ת Taawu
169 (P)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (Q)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (R)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (S)Omukono gwo gumbeerenga,
kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (T)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (U)Ompe obulamu nkutenderezenga,
era amateeka go gampanirirenga.
176 (V)Ndi ng’endiga ebuze.
Onoonye omuddu wo,
kubanga seerabidde mateeka go.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
128 (A)Balina omukisa abatya Katonda;
era abatambulira mu makubo ge.
2 (B)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
3 (C)Mu nnyumba yo,
mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
nga beetoolodde emmeeza yo.
4 Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
omuntu atya Mukama.
5 (D)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
6 (E)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!
Emirembe gibeere mu Isirayiri.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
129 (F)Isirayiri ayogere nti,
“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2 (G)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
naye tebampangudde.
3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4 (H)kyokka Mukama mutuukirivu;
amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
5 (I)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6 (J)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
oguwotoka nga tegunnakula.
7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8 (K)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”
Oluyimba nga balinnya amadaala.
130 (L)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 (M)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3 (N)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 (O)Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
30 (A)“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti,
“ ‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu,
era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu
awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi.
Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu,
ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
31 (B)Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma.
Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana,
alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ”
bw’ayogera Mukama.
32 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi;
enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”
33 (D)Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka.
34 (E)Mukaabe mulaajane mmwe abasumba,
mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo.
Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse
mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.
35 (F)Abasumba tebaabeeko na buddukiro,
n’abakulu b’ebisibo tebaabeeko na wa kwekweka.
36 Muwulire okukaaba kw’abasumba,
okwaziirana kw’abanannyini b’ebisibo,
kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.
37 Amalundiro amalungi galifuuka matongo
olw’obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
38 (G)Ajja kuleka ekisulo kye
ng’empologoma bw’eva w’esula,
n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyi
era n’olw’obusungu bwa Mukama obw’entiisa.
14 Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 15 (A)Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.” 16 (B)Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?” 17 (C)Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo. 18 (D)Naye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti,
“Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna,
n’ebigambo byabwe byatuuka ku nkomerero z’ensi.”
19 (E)Abayisirayiri baabitegeera oba tebaabitegeera? Bw’ati Musa bw’addamu ekibuuzo ekyo:
“Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abatali ggwanga,
ne mbasunguwaza olw’eggwanga eritalina kutegeera.”
20 (F)Ne Isaaya yali muvumu bwe yagamba nti,
“Nazuulibwa abo abatannoonya,
ne ndabika eri abo abatambuulirizaako.”
21 (G)Naye eri Isirayiri agamba nti,
“Olunaku lwonna nalumala nga ngolodde emikono gyange
eri eggwanga ekkakanyavu era abantu abeewaggula.”
Omusumba Omulungi
10 “Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. 2 (A)Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga. 3 (B)Era oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru. 4 Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. 5 Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.” 6 (C)Yesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.
7 Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga. 8 (D)Abalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza. 9 Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro. 10 Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.
11 (E)“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 12 (F)Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. 13 Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.
14 (G)“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 15 (H)Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 (I)Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 17 (J)Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 18 (K)Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.