Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 95

95 (A)Mujje tuyimbire Mukama;
    tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
(B)Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
    tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.

(C)Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
    era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
    n’entikko z’ensozi nazo zize.
(D)Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
    n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.

(E)Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
    tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
(F)Kubanga ye Katonda waffe,
    naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
    era tuli ndiga ze z’alabirira.

Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
    (G)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
    ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
(H)bajjajjammwe gye bangezesa;
    newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (I)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
    ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
    era tebamanyi makubo gange.’
11 (J)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
    ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

Zabbuli 40

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

40 (A)Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,
    n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
(B)n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,
    n’annyinyulula mu bitosi,
n’anteeka ku lwazi olugumu
    kwe nyimiridde.
(C)Anjigirizza oluyimba oluggya,
    oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.
Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama
    n’okumwesiganga.

(D)Balina omukisa
    abo abeesiga Mukama,
abatagoberera ba malala
    abasinza bakatonda ab’obulimba.
(E)Ayi Mukama Katonda wange,
    otukoledde eby’ewunyisa bingi.
Ebintu by’otuteekeddeteekedde
    tewali ayinza kubikutegeeza.
Singa ngezaako okubittottola,
    sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.

(F)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
    Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
    Naye onzigudde amatu.
Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
    nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
(G)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
    kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.

(H)Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.
    Sisirika busirisi,
    nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
10 (I)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
    naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
    sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.

11 (J)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
    amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12 (K)Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;
    ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;
bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,
    mpweddemu amaanyi.
13 (L)Onsasire ayi Mukama ondokole;
    Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.

14 (M)Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;
    n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15 Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16 (N)Naye abo abakunoonya basanyuke
    era bajaguze;
abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
    Mukama agulumizibwenga.”

17 (O)Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.
    Mukama ondowoozeeko.
Tolwawo, Ayi Katonda wange.
    Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.

Zabbuli 54

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”

54 (A)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
    n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
(B)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
    owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

(C)Abantu be simanyi bannumba;
    abantu abalina ettima abatatya Katonda;
    bannoonya okunzita.

(D)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
    Mukama ye mukuumi wange.

(E)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
    obazikirize olw’obwesigwa bwo.

(F)Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;
    ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,
    kubanga ddungi.
(G)Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;
    era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

Zabbuli 51

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
    ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
    nziggyaako ebyonoono byange byonna.
(B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
    ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

(C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
    era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
(D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
    ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
    era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
(E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
    kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
(F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
    Ompe amagezi munda ddala mu nze.

(G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
    onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
(H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
    amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
(I)Totunuulira bibi byange,
    era osangule ebyonoono byange byonna.

10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
    era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
    era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
    era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
    n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
    ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
    olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
    n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
    n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
    Omutima ogumenyese era oguboneredde,
    Ayi Katonda, toogugayenga.

18 (R)Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.
    Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 (S)Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,
    ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;
    n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.

Ekyamateeka Olwokubiri 10:12-22

Ebikulu Katonda bye Yeetaaga

12 (A)Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna, 13 n’okugonderanga amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo?

14 (B)Laba, Mukama Katonda wo ye nannyini ggulu, era n’eggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, n’ensi ne byonna ebigirimu. 15 (C)Kyokka era Mukama yakwana bajjajjaabo n’abaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko y’amawanga gonna nga bwe kiri leero. 16 (D)Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera n’amawagali. 17 (E)Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi. 18 (F)Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala. 19 (G)Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi ey’e Misiri. 20 (H)Otyanga Mukama Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mw’onoolayiriranga. 21 (I)Oyo, lye ttendo lyo era ye Katonda wo, eyakukolera ebyamagero ebyo byonna ebikulu ggwe kennyini bye weerabirako n’amaaso go. 22 (J)Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano Mukama Katonda wo abafudde bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.

Abaebbulaniya 4:11-16

11 (A)Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abajeemu.

12 (B)Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. 13 (C)Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.

Yesu Kristo Kabona Asinga Obukulu

14 (D)Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. 15 (E)Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna. 16 Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

Yokaana 3:22-36

Yesu ne Yokaana Omubatiza

22 (A)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’abayigirizwa be ne bajja mu nsi y’e Buyudaaya, n’abeera eyo nabo, era n’abatiza. 23 Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ng’abantu bangi bajja okubatizibwa, 24 (B)olwo nga tannateekebwa mu kkomera. 25 (C)Ne wabaawo empaka wakati w’abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ku nsonga ey’okutukuzibwa. 26 (D)Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”

27 Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu. 28 (E)Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera. 29 (F)Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde. 30 Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.

31 (G)“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi. 32 (H)Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza. 33 Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima. 34 (I)Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa. 35 (J)Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe. 36 (K)Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.